< שמות 8 >
ויאמר יהוה אל משה בא אל פרעה ואמרת אליו כה אמר יהוה שלח את עמי ויעבדני׃ | 1 |
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze.
ואם מאן אתה לשלח הנה אנכי נגף את כל גבולך בצפרדעים׃ | 2 |
Naye bw’onoogaana n’otabakkiriza kugenda, laba, nnaasindika ebikere ne bijjula ensi yo yonna.
ושרץ היאר צפרדעים ועלו ובאו בביתך ובחדר משכבך ועל מטתך ובבית עבדיך ובעמך ובתנוריך ובמשארותיך׃ | 3 |
Omugga gulivaamu ebikere enkumu ennyo ebirituuka ne mu lubiri lwo. Biriyingira mu kisenge kyo mw’osula, ne ku kitanda kyo. Biriyingira mu nnyumba z’abaweereza bo ne mu z’abantu bo. Biriyingira ne mu byoto omufumbirwa.
ובכה ובעמך ובכל עבדיך יעלו הצפרדעים׃ | 4 |
Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.”’”
ויאמר יהוה אל משה אמר אל אהרן נטה את ידך במטך על הנהרת על היארים ועל האגמים והעל את הצפרדעים על ארץ מצרים׃ | 5 |
Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, n’eri emikutu gy’amazzi, n’eri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna ey’e Misiri.’”
ויט אהרן את ידו על מימי מצרים ותעל הצפרדע ותכס את ארץ מצרים׃ | 6 |
Bw’atyo Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi gonna ag’omu Misiri; ebikere ne bivaayo ne bijjula ensi yonna ey’e Misiri.
ויעשו כן החרטמים בלטיהם ויעלו את הצפרדעים על ארץ מצרים׃ | 7 |
Abalogo nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama, nabo ne baleeta ebikere mu nsi ey’e Misiri.
ויקרא פרעה למשה ולאהרן ויאמר העתירו אל יהוה ויסר הצפרדעים ממני ומעמי ואשלחה את העם ויזבחו ליהוה׃ | 8 |
Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Mwegayirire Mukama anziggyeeko ebikere bino era ne ku bantu bange, ndyoke nange ndeke abantu bammwe bagende baweeyo ssaddaaka eri Mukama.”
ויאמר משה לפרעה התפאר עלי למתי אעתיר לך ולעבדיך ולעמך להכרית הצפרדעים ממך ומבתיך רק ביאר תשארנה׃ | 9 |
Musa n’addamu Falaawo nti, “Weerondere ekiseera nga bw’osiima, w’oyagalira neegayirire Mukama ku lulwo ne ku lw’abaweereza bo, ne ku lw’abantu bo, ebikere ebikuliko n’ebiri mu nnyumba zo bizikirizibwe, bisigale mu mugga Kiyira mwokka.”
ויאמר למחר ויאמר כדברך למען תדע כי אין כיהוה אלהינו׃ | 10 |
Falaawo n’agamba nti, “Enkya.” Musa n’agamba nti, “Kijja kubeera nga bw’ogambye, olyoke otegeere nga bwe watali n’omu afaanana nga Mukama Katonda waffe.
וסרו הצפרדעים ממך ומבתיך ומעבדיך ומעמך רק ביאר תשארנה׃ | 11 |
Ebikere bijja kukuviira, bive ne mu mayumba go, biviire n’abaweereza bo n’abantu bo; bijja kusigala mu mugga mwokka.”
ויצא משה ואהרן מעם פרעה ויצעק משה אל יהוה על דבר הצפרדעים אשר שם לפרעה׃ | 12 |
Awo Musa ne Alooni ne bava ewa Falaawo. Musa ne yeegayirira Mukama olw’ebikere Mukama bye yali aleetedde Falaawo.
ויעש יהוה כדבר משה וימתו הצפרדעים מן הבתים מן החצרת ומן השדת׃ | 13 |
Mukama n’akolera Musa kye yamusaba. Ebikere ne bifiira mu mayumba, ne mu mpya mu byalo, ne mu nnimiro.
ויצברו אתם חמרם חמרם ותבאש הארץ׃ | 14 |
Ne bikuŋŋaanyizibwa entuumo n’entuumo; ensi n’ejjula ekivundu.
וירא פרעה כי היתה הרוחה והכבד את לבו ולא שמע אלהם כאשר דבר יהוה׃ | 15 |
Naye Falaawo bwe yalaba nga waliwo wassiza ku mukka, n’akakanyaza omutima gwe, ebya Musa ne Alooni n’alekera awo okubiwuliriza, era nga Mukama bwe yali agambye.
ויאמר יהוה אל משה אמר אל אהרן נטה את מטך והך את עפר הארץ והיה לכנם בכל ארץ מצרים׃ | 16 |
Awo Mukama n’ayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bw’oti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.’”
ויעשו כן ויט אהרן את ידו במטהו ויך את עפר הארץ ותהי הכנם באדם ובבהמה כל עפר הארץ היה כנים בכל ארץ מצרים׃ | 17 |
Ne bakola nga Mukama bw’abagambye; Alooni n’agolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, n’akuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi y’e Misiri n’efuuka nsekere.
ויעשו כן החרטמים בלטיהם להוציא את הכנים ולא יכלו ותהי הכנם באדם ובבהמה׃ | 18 |
Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe ag’ekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo.
ויאמרו החרטמים אל פרעה אצבע אלהים הוא ויחזק לב פרעה ולא שמע אלהם כאשר דבר יהוה׃ | 19 |
Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino y’ebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n’atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.
ויאמר יהוה אל משה השכם בבקר והתיצב לפני פרעה הנה יוצא המימה ואמרת אליו כה אמר יהוה שלח עמי ויעבדני׃ | 20 |
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ng’aserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze.
כי אם אינך משלח את עמי הנני משליח בך ובעבדיך ובעמך ובבתיך את הערב ומלאו בתי מצרים את הערב וגם האדמה אשר הם עליה׃ | 21 |
Naye abantu bange bw’otoobakkirize kugenda, laba, ndireeta ebikuukuulu by’ensowera, ku ggwe ne ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zammwe. Ensowera zirijjula mu mayumba ga Bamisiri ne ku ttaka kwe gaazimbibwa.
והפליתי ביום ההוא את ארץ גשן אשר עמי עמד עליה לבלתי היות שם ערב למען תדע כי אני יהוה בקרב הארץ׃ | 22 |
“‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera n’akatono, olyoke otegeere nga nze, Mukama, ndi wano wakati mu nsi.
ושמתי פדת בין עמי ובין עמך למחר יהיה האת הזה׃ | 23 |
Nzija kussaawo enjawulo wakati w’abantu bange n’abantu bo. Ekyamagero kino kijja kubaawo enkeera.’”
ויעש יהוה כן ויבא ערב כבד ביתה פרעה ובית עבדיו ובכל ארץ מצרים תשחת הארץ מפני הערב׃ | 24 |
Mukama n’akola bw’atyo. Ebikuukuulu by’ensowera ne byeyiwa mu lubiri lwa Falaawo, mu nnyumba ye, ne mu mayumba g’abaweereza be, ne mu nsi yonna ey’e Misiri: ensi n’eyonooneka olw’ebikuukuulu by’ensowera.
ויקרא פרעה אל משה ולאהרן ויאמר לכו זבחו לאלהיכם בארץ׃ | 25 |
Awo Falaawo n’atumira Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Kale, muweereeyo wano mu nsi eno ssaddaaka eri Katonda wammwe.”
ויאמר משה לא נכון לעשות כן כי תועבת מצרים נזבח ליהוה אלהינו הן נזבח את תועבת מצרים לעיניהם ולא יסקלנו׃ | 26 |
Naye Musa n’addamu nti, “Ekyo bwe tukikola, tekijja kuba kituufu. Kubanga ssaddaaka ze tuwaayo eri Mukama Katonda waffe, Abamisiri tebajja kuzaagala. Kale singa tuddira ssaddaaka Abamisiri ze bakyawa ennyo bwe batyo, ne tuziwaayo nga balaba, tebajja kutukuba amayinja?
דרך שלשת ימים נלך במדבר וזבחנו ליהוה אלהינו כאשר יאמר אלינו׃ | 27 |
Kitugwanira tutambule olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe nga bw’anaatulagira.”
ויאמר פרעה אנכי אשלח אתכם וזבחתם ליהוה אלהיכם במדבר רק הרחק לא תרחיקו ללכת העתירו בעדי׃ | 28 |
Falaawo n’agamba nti, “Nzija kubaleka mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, kyokka temugenda ewala ennyo. Kale munsabire.”
ויאמר משה הנה אנכי יוצא מעמך והעתרתי אל יהוה וסר הערב מפרעה מעבדיו ומעמו מחר רק אל יסף פרעה התל לבלתי שלח את העם לזבח ליהוה׃ | 29 |
Musa n’addamu nti, “Bwe nnaaba nakava wano w’oli nzija kusaba Mukama, enkya ensowera ziviire Falaawo n’abakungu be awamu n’abantu be. Naye kirungi Falaawo aleme nate kulimbalimba, n’atakkiriza bantu kugenda kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”
ויצא משה מעם פרעה ויעתר אל יהוה׃ | 30 |
Musa n’avaayo ewa Falaawo, n’asaba Mukama.
ויעש יהוה כדבר משה ויסר הערב מפרעה מעבדיו ומעמו לא נשאר אחד׃ | 31 |
Mukama n’akola nga Musa bwe yamusaba, n’aggyawo ebikuukuulu by’ensowera ewa Falaawo ne mu baweereza be, ne mu bantu be; ne watasigala nsowera n’emu.
ויכבד פרעה את לבו גם בפעם הזאת ולא שלח את העם׃ | 32 |
Kyokka ne ku mulundi guno, Falaawo yakakanyaza omutima gwe, abantu n’atabakkiriza kugenda.