< קֹהֶלֶת 3 >

לכל זמן ועת לכל חפץ תחת השמים׃ 1
Buli kintu kirina ekiseera kyakyo, na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.
עת ללדת ועת למות עת לטעת ועת לעקור נטוע׃ 2
Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa; ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
עת להרוג ועת לרפוא עת לפרוץ ועת לבנות׃ 3
ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya; ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
עת לבכות ועת לשחוק עת ספוד ועת רקוד׃ 4
ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu; ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
עת להשליך אבנים ועת כנוס אבנים עת לחבוק ועת לרחק מחבק׃ 5
ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu; ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
עת לבקש ועת לאבד עת לשמור ועת להשליך׃ 6
waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya; ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
עת לקרוע ועת לתפור עת לחשות ועת לדבר׃ 7
n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu; ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
עת לאהב ועת לשנא עת מלחמה ועת שלום׃ 8
waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu; ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.
מה יתרון העושה באשר הוא עמל׃ 9
Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe?
ראיתי את הענין אשר נתן אלהים לבני האדם לענות בו׃ 10
Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu.
את הכל עשה יפה בעתו גם את העלם נתן בלבם מבלי אשר לא ימצא האדם את המעשה אשר עשה האלהים מראש ועד סוף׃ 11
Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma.
ידעתי כי אין טוב בם כי אם לשמוח ולעשות טוב בחייו׃ 12
Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu.
וגם כל האדם שיאכל ושתה וראה טוב בכל עמלו מתת אלהים היא׃ 13
Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda.
ידעתי כי כל אשר יעשה האלהים הוא יהיה לעולם עליו אין להוסיף וממנו אין לגרע והאלהים עשה שיראו מלפניו׃ 14
Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.
מה שהיה כבר הוא ואשר להיות כבר היה והאלהים יבקש את נרדף׃ 15
Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo; n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda; era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.
ועוד ראיתי תחת השמש מקום המשפט שמה הרשע ומקום הצדק שמה הרשע׃ 16
Ate era nalaba nga wansi w’enjuba, mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza; ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.
אמרתי אני בלבי את הצדיק ואת הרשע ישפט האלהים כי עת לכל חפץ ועל כל המעשה שם׃ 17
Ne njogera munda yange nti, “Katonda aliramula abatuukirivu n’aboonoonyi; kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu; era na buli mulimu.”
אמרתי אני בלבי על דברת בני האדם לברם האלהים ולראות שהם בהמה המה להם׃ 18
Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo.
כי מקרה בני האדם ומקרה הבהמה ומקרה אחד להם כמות זה כן מות זה ורוח אחד לכל ומותר האדם מן הבהמה אין כי הכל הבל׃ 19
Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu.
הכל הולך אל מקום אחד הכל היה מן העפר והכל שב אל העפר׃ 20
Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda.
מי יודע רוח בני האדם העלה היא למעלה ורוח הבהמה הירדת היא למטה לארץ׃ 21
Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”
וראיתי כי אין טוב מאשר ישמח האדם במעשיו כי הוא חלקו כי מי יביאנו לראות במה שיהיה אחריו׃ 22
Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.

< קֹהֶלֶת 3 >