< דברים 6 >
וזאת המצוה החקים והמשפטים אשר צוה יהוה אלהיכם ללמד אתכם לעשות בארץ אשר אתם עברים שמה לרשתה׃ | 1 |
“Kale nno, bino bye biragiro, n’amateeka, Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.
למען תירא את יהוה אלהיך לשמר את כל חקתיו ומצותיו אשר אנכי מצוך אתה ובנך ובן בנך כל ימי חייך ולמען יארכן ימיך׃ | 2 |
Bw’otyo ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga Mukama Katonda wo ennaku zonna ez’obulamu bwo, ng’ogondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga.
ושמעת ישראל ושמרת לעשות אשר ייטב לך ואשר תרבון מאד כאשר דבר יהוה אלהי אבתיך לך ארץ זבת חלב ודבש׃ | 3 |
Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
שמע ישראל יהוה אלהינו יהוה אחד׃ | 4 |
“Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu.
ואהבת את יהוה אלהיך בכל לבבך ובכל נפשך ובכל מאדך׃ | 5 |
Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna.
והיו הדברים האלה אשר אנכי מצוך היום על לבבך׃ | 6 |
Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo.
ושננתם לבניך ודברת בם בשבתך בביתך ובלכתך בדרך ובשכבך ובקומך׃ | 7 |
Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.
וקשרתם לאות על ידך והיו לטטפת בין עיניך׃ | 8 |
Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo.
וכתבתם על מזוזת ביתך ובשעריך׃ | 9 |
Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.
והיה כי יביאך יהוה אלהיך אל הארץ אשר נשבע לאבתיך לאברהם ליצחק וליעקב לתת לך ערים גדלת וטבת אשר לא בנית׃ | 10 |
“Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba,
ובתים מלאים כל טוב אשר לא מלאת וברת חצובים אשר לא חצבת כרמים וזיתים אשר לא נטעת ואכלת ושבעת׃ | 11 |
n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta,
השמר לך פן תשכח את יהוה אשר הוציאך מארץ מצרים מבית עבדים׃ | 12 |
weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.
את יהוה אלהיך תירא ואתו תעבד ובשמו תשבע׃ | 13 |
“Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga.
לא תלכון אחרי אלהים אחרים מאלהי העמים אשר סביבותיכם׃ | 14 |
Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde;
כי אל קנא יהוה אלהיך בקרבך פן יחרה אף יהוה אלהיך בך והשמידך מעל פני האדמה׃ | 15 |
kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi.
לא תנסו את יהוה אלהיכם כאשר נסיתם במסה׃ | 16 |
Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa.
שמור תשמרון את מצות יהוה אלהיכם ועדתיו וחקיו אשר צוך׃ | 17 |
Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro Mukama Katonda wammwe by’akuwadde.
ועשית הישר והטוב בעיני יהוה למען ייטב לך ובאת וירשת את הארץ הטבה אשר נשבע יהוה לאבתיך׃ | 18 |
Okolanga ebyo Mukama by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa,
להדף את כל איביך מפניך כאשר דבר יהוה׃ | 19 |
ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.
כי ישאלך בנך מחר לאמר מה העדת והחקים והמשפטים אשר צוה יהוה אלהינו אתכם׃ | 20 |
“Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki?
ואמרת לבנך עבדים היינו לפרעה במצרים ויוציאנו יהוה ממצרים ביד חזקה׃ | 21 |
Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.
ויתן יהוה אותת ומפתים גדלים ורעים במצרים בפרעה ובכל ביתו לעינינו׃ | 22 |
Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba.
ואותנו הוציא משם למען הביא אתנו לתת לנו את הארץ אשר נשבע לאבתינו׃ | 23 |
N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa.
ויצונו יהוה לעשות את כל החקים האלה ליראה את יהוה אלהינו לטוב לנו כל הימים לחיתנו כהיום הזה׃ | 24 |
Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero.
וצדקה תהיה לנו כי נשמר לעשות את כל המצוה הזאת לפני יהוה אלהינו כאשר צונו׃ | 25 |
Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’”