< דברים 20 >
כי תצא למלחמה על איביך וראית סוס ורכב עם רב ממך לא תירא מהם כי יהוה אלהיך עמך המעלך מארץ מצרים׃ | 1 |
Bw’onoobanga ogenze okutabaala abalabe bo, n’olaba embalaasi n’amagaali n’eggye eddene okukira eriryo, tobatyanga; kubanga Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri, anaabanga naawe.
והיה כקרבכם אל המלחמה ונגש הכהן ודבר אל העם׃ | 2 |
Bwe munaabanga muli kumpi okutandika okulwana, kabona anajjanga n’ayogera eri eggye ly’abaserikale,
ואמר אלהם שמע ישראל אתם קרבים היום למלחמה על איביכם אל ירך לבבכם אל תיראו ואל תחפזו ואל תערצו מפניהם׃ | 3 |
n’abagamba nti, “Wulira, Ayi Isirayiri! Olwa leero mugenda okutandika okulwana n’abalabe bammwe. Temuggwaamu mutima, so temutiitiira wadde okubatya.
כי יהוה אלהיכם ההלך עמכם להלחם לכם עם איביכם להושיע אתכם׃ | 4 |
Kubanga Mukama Katonda wammwe y’anaagendanga nammwe okubalwanirira ng’alwanyisanga abalabe bammwe, n’okubawanga mmwe obuwanguzi.”
ודברו השטרים אל העם לאמר מי האיש אשר בנה בית חדש ולא חנכו ילך וישב לביתו פן ימות במלחמה ואיש אחר יחנכנו׃ | 5 |
Abaami banaayogeranga eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe alina ennyumba empya gye yeezimbira naye nga tennatukuzibwa? Kimusanidde addeyo mu nnyumba ye, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omulala n’agitukuza.
ומי האיש אשר נטע כרם ולא חללו ילך וישב לביתו פן ימות במלחמה ואיש אחר יחללנו׃ | 6 |
Waliwo mu mmwe eyalima ennimiro y’emizabbibu naye nga tannatandika kulya ku bibala byamu? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’alya ebibala byamu.
ומי האיש אשר ארש אשה ולא לקחה ילך וישב לביתו פן ימות במלחמה ואיש אחר יקחנה׃ | 7 |
Waliwo mu mmwe eyali ayogereza omukazi, naye nga tannamuwasa? Kimugwanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’awasa omukazi oyo.”
ויספו השטרים לדבר אל העם ואמרו מי האיש הירא ורך הלבב ילך וישב לביתו ולא ימס את לבב אחיו כלבבו׃ | 8 |
Abaami banaayongeranga okwogera eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe omutiitiizi, oba aweddemu amaanyi mu mutima? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’aleetera banne omutima omutiitiizi.”
והיה ככלת השטרים לדבר אל העם ופקדו שרי צבאות בראש העם׃ | 9 |
Abaami bwe banaamalanga okwogera eri eggye, banaalondanga abakulu mu balwanyi abanaakulemberanga eggye eryo.
כי תקרב אל עיר להלחם עליה וקראת אליה לשלום׃ | 10 |
Bw’onoosembereranga ekibuga ng’ogenda okukirwanyisa, osookanga kulangirira mirembe eri abantu baamu.
והיה אם שלום תענך ופתחה לך והיה כל העם הנמצא בה יהיו לך למס ועבדוך׃ | 11 |
Bwe banakkirizanga emirembe, ne bakuggulirawo emiryango gy’ekibuga kyabwe, kale abantu baamu bonna banaafuukanga baweereza bo, okukukoleranga byonna nga bw’onooyagalanga.
ואם לא תשלים עמך ועשתה עמך מלחמה וצרת עליה׃ | 12 |
Naye ekibuga ekyo bwe kinaagaananga okukkiriza emirembe, ne kisalawo okukulwanyisa, onookyebungululanga n’okizingiza.
ונתנה יהוה אלהיך בידך והכית את כל זכורה לפי חרב׃ | 13 |
Mukama Katonda wo bw’anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga n’ekitala buli musajja yenna.
רק הנשים והטף והבהמה וכל אשר יהיה בעיר כל שללה תבז לך ואכלת את שלל איביך אשר נתן יהוה אלהיך לך׃ | 14 |
Kyokka abakazi n’abaana abato, n’ebisibo by’ensolo, n’ebintu byonna ebinaabanga mu kibuga omwo, onoobyetwaliranga ng’omunyago gwo. Era onookozesanga nga bw’onooyagalanga omunyago gwonna ogunaavanga mu balabe bo Mukama Katonda wo gw’anaabanga akuwadde.
כן תעשה לכל הערים הרחקת ממך מאד אשר לא מערי הגוים האלה הנה׃ | 15 |
Bw’otyo bw’onookolanga ebibuga byonna ebinaakubeeranga ewala ennyo, ebitaabenga bibuga bya mawanga gano.
רק מערי העמים האלה אשר יהוה אלהיך נתן לך נחלה לא תחיה כל נשמה׃ | 16 |
Naye mu bibuga bino Mukama Katonda wo by’akuwa okuba obusika bwo obw’enkalakkalira, tewaabeerengawo kintu n’ekimu ky’onoolekangamu nga kissa omukka, byonna onoobizikiririzanga ddala.
כי החרם תחרימם החתי והאמרי הכנעני והפרזי החוי והיבוסי כאשר צוך יהוה אלהיך׃ | 17 |
Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, onoobamalirangawo ddala, nga Mukama Katonda wo bw’akulagidde,
למען אשר לא ילמדו אתכם לעשות ככל תועבתם אשר עשו לאלהיהם וחטאתם ליהוה אלהיכם׃ | 18 |
balemenga kubayigiriza bikolobero bye bakola nga basinza bakatonda baabwe, bwe mutyo nammwe ne mwonoonanga eri Mukama Katonda wammwe.
כי תצור אל עיר ימים רבים להלחם עליה לתפשה לא תשחית את עצה לנדח עליו גרזן כי ממנו תאכל ואתו לא תכרת כי האדם עץ השדה לבא מפניך במצור׃ | 19 |
Bw’onoozingizanga ekibuga, ng’olwana nakyo, okumala ebbanga eddene olyoke okiwangule, toddiranga mbazzi n’ozikiriza emiti gyakyo gyonna, kubanga ojjanga kwetaaga okulyanga ku bibala byagyo. Togitemanga. Emiti egy’omu nnimiro nagyo bantu olyoke ogizingize?
רק עץ אשר תדע כי לא עץ מאכל הוא אתו תשחית וכרת ובנית מצור על העיר אשר הוא עשה עמך מלחמה עד רדתה׃ | 20 |
Naye emiti gy’omanyi nga si gya bibala, egyo onoogitemanga olyoke ogikozesenga okuzimba ekisenge kw’onoosinziiranga okulwananga n’ekibuga ky’onoobanga ozingizza, okutuusa lwe kinaagwanga.