< דניאל 4 >

נבוכדנצר מלכא לכל עממיא אמיא ולשניא די דארין בכל ארעא שלמכון ישגא׃ 1
Kabaka Nebukadduneeza n’alangirira eri abantu, n’amawanga n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri, mu nsi yonna bw’ati nti: Emirembe gibeere nammwe!
אתיא ותמהיא די עבד עמי אלהא עליא שפר קדמי להחויה׃ 2
Lye ssanyu lyange okubategeeza ku bigambo eby’amagero era ebikulu Katonda Ali Waggulu Ennyo byankoledde.
אתוהי כמה רברבין ותמהוהי כמה תקיפין מלכותה מלכות עלם ושלטנה עם דר ודר׃ 3
Obubonero bwe nga bukulu,
אנה נבוכדנצר שלה הוית בביתי ורענן בהיכלי׃ 4
Nze Nebukadduneeza, nnali mpumulidde mu maka gange wakati mu bugagga nga mpumuliddeko mu lubiri lwange.
חלם חזית וידחלנני והרהרין על משכבי וחזוי ראשי יבהלנני׃ 5
Ne ndoota ekirooto ekyantiisa; bwe nnali nga ngalamidde ku kitanda kyange, ne ndaba ebifaananyi mu kwolesebwa, ebyantiisa.
ומני שים טעם להנעלה קדמי לכל חכימי בבל די פשר חלמא יהודענני׃ 6
Kyennava ndagira abasajja bonna abagezigezi ab’e Babulooni baleetebwe mu maaso gange bantegeeze amakulu g’ekirooto.
באדין עללין חרטמיא אשפיא כשדיא וגזריא וחלמא אמר אנה קדמיהון ופשרה לא מהודעין לי׃ 7
Abalogo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi ne bajja, ne mbategeeza ekirooto, naye ne balemwa okuntegeeza amakulu gaakyo.
ועד אחרין על קדמי דניאל די שמה בלטשאצר כשם אלהי ודי רוח אלהין קדישין בה וחלמא קדמוהי אמרת׃ 8
Naye oluvannyuma Danyeri gwe natuuma Berutesazza ng’erinnya lya katonda wange bwe liri, era nga n’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ye, n’ajja mu maaso gange ne mutegeeza ekirooto.
בלטשאצר רב חרטמיא די אנה ידעת די רוח אלהין קדישין בך וכל רז לא אנס לך חזוי חלמי די חזית ופשרה אמר׃ 9
Ne mugamba nti, “Berutesazza, omukulu w’abafumu, mmanyi ng’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so tewali kigambo eky’ekyama ekikuzibuwalira. Ntegeeza ekirooto kyange, n’amakulu gaakyo.
וחזוי ראשי על משכבי חזה הוית ואלו אילן בגוא ארעא ורומה שגיא׃ 10
Kuno kwe kwolesebwa kwe nafunye nga ngalamidde ku kitanda kyange; nalabye omuti wakati mu nsi, nga muwanvu nnyo nnyini.
רבה אילנא ותקף ורומה ימטא לשמיא וחזותה לסוף כל ארעא׃ 11
Omuti ne gukula ne guba gwa maanyi, n’entikko yaagwo n’etuuka ku ggulu era nga gulengerwa okuva ku nkomerero y’ensi zonna.
עפיה שפיר ואנבה שגיא ומזון לכלא בה תחתוהי תטלל חיות ברא ובענפוהי ידרון צפרי שמיא ומנה יתזין כל בשרא׃ 12
Ebikoola byagwo byali birungi okutunulako, n’ebibala byagwo nga bingi, era nga gulina emmere emala bonna. Ensolo enkambwe ez’omu nsiko zaatuulanga mu kisiikirize kyagwo, n’ennyonyi ez’omu bbanga zaatuulanga ku matabi gaagwo, na buli kiramu kyonna kyalisibwanga.
חזה הוית בחזוי ראשי על משכבי ואלו עיר וקדיש מן שמיא נחת׃ 13
“Awo mu kiseera ekyo nga ngalamidde ku kitanda kyange, mu kwolesebwa, ne ndaba omubaka omutukuvu ng’ava mu ggulu.
קרא בחיל וכן אמר גדו אילנא וקצצו ענפוהי אתרו עפיה ובדרו אנבה תנד חיותא מן תחתוהי וצפריא מן ענפוהי׃ 14
N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, ‘Tema omuti, otemeko n’amatabi gaagwo; okunkumule amalagala gaagwo, osaasaanye n’ebibala byagwo, n’ennyonyi zibuuke zive ku matabi gaagwo.
ברם עקר שרשוהי בארעא שבקו ובאסור די פרזל ונחש בדתאא די ברא ובטל שמיא יצטבע ועם חיותא חלקה בעשב ארעא׃ 15
Naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omuto ku ttale. “‘Muleke abisiwale n’omusulo ogw’omu ggulu, era muleke agabanire wamu omuddo, n’ensolo ez’omu nsiko.
לבבה מן אנושא ישנון ולבב חיוה יתיהב לה ושבעה עדנין יחלפון עלוהי׃ 16
Era n’amagezi ge ag’obuntu gakyusibwe, afuuke ng’ensolo enkambwe ey’omu nsiko okumala emyaka musanvu.
בגזרת עירין פתגמא ומאמר קדישין שאלתא עד דברת די ינדעון חייא די שליט עליא במלכות אנושא ולמן די יצבא יתננה ושפל אנשים יקים עליה׃ 17
“‘Omusango ogwo gulangiriddwa ababaka, abatukuvu be baasanguza ekisaliddwawo, abalamu balyoke bategeere ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’asiima, era alonda abantu abasemberayo ddala okuba aba wansi okubafuga.’
דנה חלמא חזית אנה מלכא נבוכדנצר ואנתה בלטשאצר פשרא אמר כל קבל די כל חכימי מלכותי לא יכלין פשרא להודעתני ואנתה כהל די רוח אלהין קדישין בך׃ 18
“Ekyo kye kirooto, nze Kabaka Nebukadduneeza kye naloose. Kaakano ggwe Berutesazza, ntegeeza amakulu gaakyo kubanga tewali n’omu ku basajja abagezigezi mu bwakabaka bwange ayinza okuntegeeza amakulu gaakyo. Naye ggwe oyinza, kubanga omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe.”
אדין דניאל די שמה בלטשאצר אשתומם כשעה חדה ורעינהי יבהלנה ענה מלכא ואמר בלטשאצר חלמא ופשרא אל יבהלך ענה בלטשאצר ואמר מראי חלמא לשנאיך ופשרה לעריך׃ 19
Awo Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’atawanyizibwa mu mutima okumala akabanga, ne yeeraliikirira. Kabaka n’amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n’amakulu gaakyo bireme okukweraliikiriza.” Berutesazza n’addamu nti, “Mukama wange, ekirooto kibe nga kyogera ku abo abakukyawa, n’amakulu gaakyo gabe nga googera ku balabe bo!
אילנא די חזית די רבה ותקף ורומה ימטא לשמיא וחזותה לכל ארעא׃ 20
Omuti gwe walaba, ogwakula ne guba gwa maanyi, ogwawanvuwa ne gutuuka ku ggulu, nga gulabibwa ensi yonna,
ועפיה שפיר ואנבה שגיא ומזון לכלא בה תחתוהי תדור חיות ברא ובענפוהי ישכנן צפרי שמיא׃ 21
ogwaliko amalagala amalungi n’ebibala byagwo nga bingi nnyo, era nga guliko n’emmere emala bonna, nga n’ensolo ez’omu nsiko zituula mu kisiikirize kyagwo, nga n’ennyonyi ez’omu bbanga zisiisira ku matabi gaagwo,
אנתה הוא מלכא די רבית ותקפת ורבותך רבת ומטת לשמיא ושלטנך לסוף ארעא׃ 22
ye ggwe, ayi kabaka! Okuze n’oba mukulu era n’oba w’amaanyi; n’obukulu bwo bweyongedde ne butuuka ku ggulu, n’obuyinza bwo butuuse ku nkomerero y’ensi.
ודי חזה מלכא עיר וקדיש נחת מן שמיא ואמר גדו אילנא וחבלוהי ברם עקר שרשוהי בארעא שבקו ובאסור די פרזל ונחש בדתאא די ברא ובטל שמיא יצטבע ועם חיות ברא חלקה עד די שבעה עדנין יחלפון עלוהי׃ 23
“Ggwe ayi kabaka walabye omubaka, era omutukuvu ng’akka okuva mu ggulu, n’ayogera nti, ‘Tema omuti oguzikirize, naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka ng’okisibye n’ekyuma n’ekikomo mu muddo omuto ogw’oku ttale; era muleke abisiwazibwe omusulo ogw’omu ggulu, n’omugabo gwe gubeere n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, emyaka musanvu.’
דנה פשרא מלכא וגזרת עליא היא די מטת על מראי מלכא׃ 24
“Gano ge makulu, ayi kabaka, era lino lye tteeka Oyo Ali Waggulu Ennyo ly’alangiriridde mukama wange kabaka.
ולך טרדין מן אנשא ועם חיות ברא להוה מדרך ועשבא כתורין לך יטעמון ומטל שמיא לך מצבעין ושבעה עדנין יחלפון עליך עד די תנדע די שליט עליא במלכות אנשא ולמן די יצבא יתננה׃ 25
Oligobebwa okuva mu bantu era olibeera n’ensolo ez’omu nsiko; olirya omuddo ng’ente, era olibisiwala okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abugabira buli gw’asiima.
ודי אמרו למשבק עקר שרשוהי די אילנא מלכותך לך קימה מן די תנדע די שלטן שמיא׃ 26
Ekiragiro eky’okuleka ekikonge ky’ekikolo ky’omuti, amakulu gaakyo ge gano: obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw’olitegeera ng’eggulu lye lifuga.
להן מלכא מלכי ישפר עליך וחטיך בצדקה פרק ועויתך במחן ענין הן תהוא ארכה לשלותך׃ 27
Noolwekyo, ayi kabaka nteesa nti; weetoowaze olekeyo ebibi byo okole eby’obutuukirivu, era n’ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu obireke obeere wa kisa eri abanyigirizibwa, olyoke ofuuke mugagga okusinga nga bw’oli kaakano.”
כלא מטא על נבוכדנצר מלכא׃ 28
Ebyo byonna byatuukirira ku Kabaka Nebukadduneeza.
לקצת ירחין תרי עשר על היכל מלכותא די בבל מהלך הוה׃ 29
Bwe wayitawo emyezi kkumi n’ebiri, kabaka yali atambulira ku kasolya k’olubiri lwe olwa Babulooni,
ענה מלכא ואמר הלא דא היא בבל רבתא די אנה בניתה לבית מלכו בתקף חסני וליקר הדרי׃ 30
n’ayogera nti, “Ono si ye Babulooni omukulu gwe nazimba n’amaanyi gange amangi okuba ekibuga ekikulu eky’ekitiibwa eky’obwakabaka bwange?”
עוד מלתא בפם מלכא קל מן שמיא נפל לך אמרין נבוכדנצר מלכא מלכותה עדת מנך׃ 31
Awo bwe yali ng’akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Kuno kwe kulangirira okukukwatako Kabaka Nebukadduneeza: obwakabaka bwo bukuggyiddwako.
ומן אנשא לך טרדין ועם חיות ברא מדרך עשבא כתורין לך יטעמון ושבעה עדנין יחלפון עליך עד די תנדע די שליט עליא במלכות אנשא ולמן די יצבא יתננה׃ 32
Oligobebwa mu bantu era olibeera n’ensolo okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu ennyo y’afuga obwakabaka obw’abantu era abuwa buli gw’asiima.”
בה שעתא מלתא ספת על נבוכדנצר ומן אנשא טריד ועשבא כתורין יאכל ומטל שמיא גשמה יצטבע עד די שערה כנשרין רבה וטפרוהי כצפרין׃ 33
Amangwago ebyayogerwa ku Nebukadduneeza ne bituukirira. N’agobebwa mu bantu era n’alya omuddo ng’ente. Omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’omu ggulu okutuusa enviiri ze lwe zaakula ng’ebyoya by’empungu n’enjala ze ng’enjala z’ennyonyi.
ולקצת יומיה אנה נבוכדנצר עיני לשמיא נטלת ומנדעי עלי יתוב ולעליא ברכת ולחי עלמא שבחת והדרת די שלטנה שלטן עלם ומלכותה עם דר ודר׃ 34
Oluvannyuma lw’ebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe.
וכל דארי ארעא כלה חשיבין וכמצביה עבד בחיל שמיא ודארי ארעא ולא איתי די ימחא בידה ויאמר לה מה עבדת׃ 35
Abantu bonna ab’oku nsi
בה זמנא מנדעי יתוב עלי וליקר מלכותי הדרי וזוי יתוב עלי ולי הדברי ורברבני יבעון ועל מלכותי התקנת ורבו יתירה הוספת לי׃ 36
Mu kiseera kyekimu okutegeera kwange ne kukomawo, n’ekitiibwa n’obuyinza obw’obwakabaka bwange ne bunzirira. Abawi b’amagezi bange n’abakungu bange ne bannoonya, ne banziriza entebe yange ey’obwakabaka ne nnyongerwako obukulu bungi okusinga ne bwe nalina.
כען אנה נבוכדנצר משבח ומרומם ומהדר למלך שמיא די כל מעבדוהי קשט וארחתה דין ודי מהלכין בגוה יכל להשפלה׃ 37
Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka ow’eggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima n’amakubo ge ga nsonga, n’abo ab’amalala abakkakkanya.

< דניאל 4 >