< שמואל ב 7 >
ויהי כי ישב המלך בביתו ויהוה הניח לו מסביב מכל איביו׃ | 1 |
Awo olwatuuka kabaka n’atereera mu lubiri lwe, Mukama n’amuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola.
ויאמר המלך אל נתן הנביא ראה נא אנכי יושב בבית ארזים וארון האלהים ישב בתוך היריעה׃ | 2 |
N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.”
ויאמר נתן אל המלך כל אשר בלבבך לך עשה כי יהוה עמך׃ | 3 |
Nasani n’addamu kabaka nti, “Genda okole ng’omutima gwo bwe gukugamba, kubanga Mukama ali wamu naawe.”
ויהי בלילה ההוא ויהי דבר יהוה אל נתן לאמר׃ | 4 |
Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,
לך ואמרת אל עבדי אל דוד כה אמר יהוה האתה תבנה לי בית לשבתי׃ | 5 |
“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba ey’okubeeramu?
כי לא ישבתי בבית למיום העלתי את בני ישראל ממצרים ועד היום הזה ואהיה מתהלך באהל ובמשכן׃ | 6 |
Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema.
בכל אשר התהלכתי בכל בני ישראל הדבר דברתי את אחד שבטי ישראל אשר צויתי לרעות את עמי את ישראל לאמר למה לא בניתם לי בית ארזים׃ | 7 |
Mu bifo byonna bye ntambudde n’Abayisirayiri bonna, nnina ekigambo n’ekimu kye nagamba abafuzi baabwe be nalagira okukulembera abantu bange, Isirayiri nti, “Kiki ekibalobedde okunzimbira ennyumba ey’emivule?”’
ועתה כה תאמר לעבדי לדוד כה אמר יהוה צבאות אני לקחתיך מן הנוה מאחר הצאן להיות נגיד על עמי על ישראל׃ | 8 |
“Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, ow’Eggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze w’abantu bange Isirayiri.
ואהיה עמך בכל אשר הלכת ואכרתה את כל איביך מפניך ועשתי לך שם גדול כשם הגדלים אשר בארץ׃ | 9 |
Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja ab’ekitiibwa ennyo mu nsi.
ושמתי מקום לעמי לישראל ונטעתיו ושכן תחתיו ולא ירגז עוד ולא יסיפו בני עולה לענותו כאשר בראשונה׃ | 10 |
Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye,
ולמן היום אשר צויתי שפטים על עמי ישראל והניחתי לך מכל איביך והגיד לך יהוה כי בית יעשה לך יהוה׃ | 11 |
okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya. “‘“Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo.
כי ימלאו ימיך ושכבת את אבתיך והקימתי את זרעך אחריך אשר יצא ממעיך והכינתי את ממלכתו׃ | 12 |
Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe.
הוא יבנה בית לשמי וכננתי את כסא ממלכתו עד עולם׃ | 13 |
Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna.
אני אהיה לו לאב והוא יהיה לי לבן אשר בהעותו והכחתיו בשבט אנשים ובנגעי בני אדם׃ | 14 |
Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu.
וחסדי לא יסור ממנו כאשר הסרתי מעם שאול אשר הסרתי מלפניך׃ | 15 |
Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go.
ונאמן ביתך וממלכתך עד עולם לפניך כסאך יהיה נכון עד עולם׃ | 16 |
Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.”’”
ככל הדברים האלה וככל החזיון הזה כן דבר נתן אל דוד׃ | 17 |
Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa kwe.
ויבא המלך דוד וישב לפני יהוה ויאמר מי אנכי אדני יהוה ומי ביתי כי הביאתני עד הלם׃ | 18 |
Awo kabaka Dawudi n’ayingira n’atuula mu maaso ga Mukama, n’ayogera nti, “Nze ani, Ayi Mukama Katonda, n’ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?
ותקטן עוד זאת בעיניך אדני יהוה ותדבר גם אל בית עבדך למרחוק וזאת תורת האדם אדני יהוה׃ | 19 |
Gy’obeera ekyo tekimala, Ayi Mukama Katonda, oyogedde ku bigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso ku nnyumba ey’omuddu wo. Bw’otyo bw’okolagana n’omuntu, Ayi Mukama Katonda?
ומה יוסיף דוד עוד לדבר אליך ואתה ידעת את עבדך אדני יהוה׃ | 20 |
“Kiki ekirala Dawudi kyayinza okukugamba, kubanga ggwe, Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo.
בעבור דברך וכלבך עשית את כל הגדולה הזאת להודיע את עבדך׃ | 21 |
Olw’ekigambo kyo n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, n’obimanyisa omuddu wo.
על כן גדלת אדני יהוה כי אין כמוך ואין אלהים זולתך בכל אשר שמענו באזנינו׃ | 22 |
“Ng’oli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe.
ומי כעמך כישראל גוי אחד בארץ אשר הלכו אלהים לפדות לו לעם ולשום לו שם ולעשות לכם הגדולה ונראות לארצך מפני עמך אשר פדית לך ממצרים גוים ואלהיו׃ | 23 |
Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye yeenunulira, ne yeekolera erinnya, n’abakolera ebintu ebikulu eby’amagero bwe yagoba amawanga ne balubaale baabwe mu maaso g’abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri?
ותכונן לך את עמך ישראל לך לעם עד עולם ואתה יהוה היית להם לאלהים׃ | 24 |
Onywezezza abantu bo, Isirayiri ng’ababo ddala emirembe gyonna era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.
ועתה יהוה אלהים הדבר אשר דברת על עבדך ועל ביתו הקם עד עולם ועשה כאשר דברת׃ | 25 |
“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, otuukirize ekyo kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye okole nga bwe wasuubiza,
ויגדל שמך עד עולם לאמר יהוה צבאות אלהים על ישראל ובית עבדך דוד יהיה נכון לפניך׃ | 26 |
erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, ‘Mukama ow’Eggye ye Katonda wa Isirayiri,’ era n’ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.
כי אתה יהוה צבאות אלהי ישראל גליתה את אזן עבדך לאמר בית אבנה לך על כן מצא עבדך את לבו להתפלל אליך את התפלה הזאת׃ | 27 |
“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ekyo okibikkulidde omuddu wo ng’ogamba nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba,’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okuwaayo okusaba okwo gy’oli.
ועתה אדני יהוה אתה הוא האלהים ודבריך יהיו אמת ותדבר אל עבדך את הטובה הזאת׃ | 28 |
Ayi Mukama Katonda, oli Katonda, n’ebigambo byo bya mazima, era omuddu wo omusuubizza ebintu ebirungi.
ועתה הואל וברך את בית עבדך להיות לעולם לפניך כי אתה אדני יהוה דברת ומברכתך יברך בית עבדך לעולם׃ | 29 |
Kale nno okkirize okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa enywerere mu maaso go ennaku zonna, kubanga ggwe Ayi Mukama Katonda oyogedde, era ennyumba ey’omuddu wo eneebanga n’omukisa ennaku zonna.”