< שמואל ב 23 >

ואלה דברי דוד האחרנים נאם דוד בן ישי ונאם הגבר הקם על משיח אלהי יעקב ונעים זמרות ישראל׃ 1
Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero: ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa, Ali Waggulu ennyo, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:
רוח יהוה דבר בי ומלתו על לשוני׃ 2
“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze, ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
אמר אלהי ישראל לי דבר צור ישראל מושל באדם צדיק מושל יראת אלהים׃ 3
Katonda wa Isirayiri yayogera, olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti, ‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu, n’afugira mu kutya Katonda,
וכאור בקר יזרח שמש בקר לא עבות מנגה ממטר דשא מארץ׃ 4
ali ng’ekitangaala eky’oku makya, enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire, obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
כי לא כן ביתי עם אל כי ברית עולם שם לי ערוכה בכל ושמרה כי כל ישעי וכל חפץ כי לא יצמיח׃ 5
Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda? Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira, n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga? Ekimulobera okumpa omukisa, n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
ובליעל כקוץ מנד כלהם כי לא ביד יקחו׃ 6
Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali, kizibu okugakwata n’engalo.
ואיש יגע בהם ימלא ברזל ועץ חנית ובאש שרוף ישרפו בשבת׃ 7
Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma oba olunyago lw’effumu, era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”
אלה שמות הגברים אשר לדוד ישב בשבת תחכמני ראש השלשי הוא עדינו העצנו על שמנה מאות חלל בפעם אחד׃ 8
Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.
ואחרו אלעזר בן דדי בן אחחי בשלשה גברים עם דוד בחרפם בפלשתים נאספו שם למלחמה ויעלו איש ישראל׃ 9
Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma,
הוא קם ויך בפלשתים עד כי יגעה ידו ותדבק ידו אל החרב ויעש יהוה תשועה גדולה ביום ההוא והעם ישבו אחריו אך לפשט׃ 10
naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.
ואחריו שמא בן אגא הררי ויאספו פלשתים לחיה ותהי שם חלקת השדה מלאה עדשים והעם נס מפני פלשתים׃ 11
Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka,
ויתיצב בתוך החלקה ויצילה ויך את פלשתים ויעש יהוה תשועה גדולה׃ 12
Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.
וירדו שלשים מהשלשים ראש ויבאו אל קציר אל דוד אל מערת עדלם וחית פלשתים חנה בעמק רפאים׃ 13
Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
ודוד אז במצודה ומצב פלשתים אז בית לחם׃ 14
Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu.
ויתאוה דוד ויאמר מי ישקני מים מבאר בית לחם אשר בשער׃ 15
Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?”
ויבקעו שלשת הגברים במחנה פלשתים וישאבו מים מבאר בית לחם אשר בשער וישאו ויבאו אל דוד ולא אבה לשתותם ויסך אתם ליהוה׃ 16
Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi.
ויאמר חלילה לי יהוה מעשתי זאת הדם האנשים ההלכים בנפשותם ולא אבה לשתותם אלה עשו שלשת הגברים׃ 17
Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa. Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.
ואבישי אחי יואב בן צרויה הוא ראש השלשי והוא עורר את חניתו על שלש מאות חלל ולו שם בשלשה׃ 18
Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu.
מן השלשה הכי נכבד ויהי להם לשר ועד השלשה לא בא׃ 19
N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.
ובניהו בן יהוידע בן איש חי רב פעלים מקבצאל הוא הכה את שני אראל מואב והוא ירד והכה את האריה בתוך הבאר ביום השלג׃ 20
Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti.
והוא הכה את איש מצרי אשר מראה וביד המצרי חנית וירד אליו בשבט ויגזל את החנית מיד המצרי ויהרגהו בחניתו׃ 21
N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa.
אלה עשה בניהו בן יהוידע ולו שם בשלשה הגברים׃ 22
Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira.
מן השלשים נכבד ואל השלשה לא בא וישמהו דוד אל משמעתו׃ 23
N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.
עשה אל אחי יואב בשלשים אלחנן בן דדו בית לחם׃ 24
Mu makumi asatu mwe mwali: Asakeri muganda wa Yowaabu, Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
שמה החרדי אליקא החרדי׃ 25
Samma Omukalodi, Erika Omukalodi,
חלץ הפלטי עירא בן עקש התקועי׃ 26
Kerezi Omupaluti, Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,
אביעזר הענתתי מבני החשתי׃ 27
Abiyezeeri Omwanasosi, Mebunnayi Omukusasi,
צלמון האחחי מהרי הנטפתי׃ 28
Zalumoni Omwakowa, Makalayi Omunetofa,
חלב בן בענה הנטפתי אתי בן ריבי מגבעת בני בנימן׃ 29
Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa, Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,
בניהו פרעתני הדי מנחלי געש׃ 30
Benaya Omupirasoni, Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,
אבי עלבון הערבתי עזמות הברחמי׃ 31
Abi-Aluboni Omwalubasi, ne Azumavesi Omubalukumi,
אליחבא השעלבני בני ישן יהונתן׃ 32
ne Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Yaseni, Yonasaani,
שמה ההררי אחיאם בן שרר האררי׃ 33
ne Samma Omukalali, Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,
אליפלט בן אחסבי בן המעכתי אליעם בן אחיתפל הגלני׃ 34
Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi, Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,
חצרו הכרמלי פערי הארבי׃ 35
Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalubi,
יגאל בן נתן מצבה בני הגדי׃ 36
Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba, Bani Omugaadi,
צלק העמני נחרי הבארתי נשאי כלי יואב בן צריה׃ 37
Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
עירא היתרי גרב היתרי׃ 38
Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli,
אוריה החתי כל שלשים ושבעה׃ 39
ne Uliya Omukiiti. Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.

< שמואל ב 23 >