< שמואל ב 22 >
וידבר דוד ליהוה את דברי השירה הזאת ביום הציל יהוה אתו מכף כל איביו ומכף שאול׃ | 1 |
Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo.
ויאמר יהוה סלעי ומצדתי ומפלטי לי׃ | 2 |
N’ayogera nti, “Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
אלהי צורי אחסה בו מגני וקרן ישעי משגבי ומנוסי משעי מחמס תשעני׃ | 3 |
Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka, ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange. Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange; ggwe ondokola eri abantu ababi.
מהלל אקרא יהוה ומאיבי אושע׃ | 4 |
Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa, n’andokola eri abalabe bange.
כי אפפני משברי מות נחלי בליעל יבעתני׃ | 5 |
“Amayengo ag’okufa ganzingiza; embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
חבלי שאול סבני קדמני מקשי מות׃ (Sheol ) | 6 |
Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola; n’emitego gy’okufa ne ginjolekera. (Sheol )
בצר לי אקרא יהוה ואל אלהי אקרא וישמע מהיכלו קולי ושועתי באזניו׃ | 7 |
Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; nakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; n’okukaaba kwange kwamutuukako.
ותגעש ותרעש הארץ מוסדות השמים ירגזו ויתגעשו כי חרה לו׃ | 8 |
“Ensi n’ekankana n’ejjugumira, emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa, ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
עלה עשן באפו ואש מפיו תאכל גחלים בערו ממנו׃ | 9 |
Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, n’omuliro ne guva mu kamwa ke, n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
ויט שמים וירד וערפל תחת רגליו׃ | 10 |
Yayabuluza eggulu n’akka wansi; ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
וירכב על כרוב ויעף וירא על כנפי רוח׃ | 11 |
Ne yeebagala kerubi n’abuuka, n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
וישת חשך סביבתיו סכות חשרת מים עבי שחקים׃ | 12 |
Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira, n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
מנגה נגדו בערו גחלי אש׃ | 13 |
Okumasamasa okwali mu maaso ge kwayakisa amanda ag’omuliro.
ירעם מן שמים יהוה ועליון יתן קולו׃ | 14 |
Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
וישלח חצים ויפיצם ברק ויהמם׃ | 15 |
Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
ויראו אפקי ים יגלו מסדות תבל בגערת יהוה מנשמת רוח אפו׃ | 16 |
Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa n’emisingi gy’ensi ne gyeruka olw’okunenya kwa Mukama n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.
ישלח ממרום יקחני ימשני ממים רבים׃ | 17 |
“Yasinzira waggulu n’antwala n’ansika mu mazzi amangi.
יצילני מאיבי עז משנאי כי אמצו ממני׃ | 18 |
Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
יקדמני ביום אידי ויהי יהוה משען לי׃ | 19 |
Bannumba mu nnaku yange naye Mukama n’ampanirira.
ויצא למרחב אתי יחלצני כי חפץ בי׃ | 20 |
Yandeeta mu kifo ekigazi; yandokola kubanga yansanyukira.
יגמלני יהוה כצדקתי כבר ידי ישיב לי׃ | 21 |
“Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali; n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
כי שמרתי דרכי יהוה ולא רשעתי מאלהי׃ | 22 |
Ntambulidde mu kkubo lya Mukama, era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
כי כל משפטו לנגדי וחקתיו לא אסור ממנה׃ | 23 |
Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange, era ssaava ku biragiro bye.
ואהיה תמים לו ואשתמרה מעוני׃ | 24 |
Sizzanga na musango mu maaso ge, era neekuumye eri obutali butuukirivu.
וישב יהוה לי כצדקתי כברי לנגד עיניו׃ | 25 |
Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli, era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.
עם חסיד תתחסד עם גבור תמים תתמם׃ | 26 |
“Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa; n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
עם נבר תתבר ועם עקש תתפל׃ | 27 |
eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
ואת עם עני תושיע ועיניך על רמים תשפיל׃ | 28 |
Olokola abantu abawombeefu, naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
כי אתה נירי יהוה ויהוה יגיה חשכי׃ | 29 |
Oli ttaala yange, Ayi Mukama era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
כי בכה ארוץ גדוד באלהי אדלג שור׃ | 30 |
Ku lulwe mpangula eggye, era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
האל תמים דרכו אמרת יהוה צרופה מגן הוא לכל החסים בו׃ | 31 |
Ekkubo lya Katonda golokofu, n’ekigambo kye kituukirira; era ngabo eri abo bonna abaddukira gy’ali.
כי מי אל מבלעדי יהוה ומי צור מבלעדי אלהינו׃ | 32 |
Kubanga ani Katonda wabula Mukama, era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
האל מעוזי חיל ויתר תמים דרכו׃ | 33 |
Katonda kye kiddukiro kyange, era alongoosa ekkubo lyange.
משוה רגליו כאילות ועל במותי יעמדני׃ | 34 |
Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi, era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
מלמד ידי למלחמה ונחת קשת נחושה זרעתי׃ | 35 |
Anteekateeka okulwana entalo, era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
ותתן לי מגן ישעך וענתך תרבני׃ | 36 |
Ompadde engabo ey’obulokozi bwo, ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
תרחיב צעדי תחתני ולא מעדו קרסלי׃ | 37 |
Ogaziyizza ekkubo mwe mpita, n’obukongovvule bwange tebukoonagana.
ארדפה איבי ואשמידם ולא אשוב עד כלותם׃ | 38 |
“Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza, so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
ואכלם ואמחצם ולא יקומון ויפלו תחת רגלי׃ | 39 |
Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka, era bali wansi w’ebigere byange.
ותזרני חיל למלחמה תכריע קמי תחתני׃ | 40 |
Wampa amaanyi okulwana entalo, n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
ואיבי תתה לי ערף משנאי ואצמיתם׃ | 41 |
Waleetera abalabe bange okunziruka, ne nsanyaawo abo abankyawa.
ישעו ואין משיע אל יהוה ולא ענם׃ | 42 |
Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera, ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
ואשחקם כעפר ארץ כטיט חוצות אדקם ארקעם׃ | 43 |
Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi, ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.
ותפלטני מריבי עמי תשמרני לראש גוים עם לא ידעתי יעבדני׃ | 44 |
“Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange, n’onfuula omukulu w’amawanga; abantu be saamanya be bampeereza.
בני נכר יתכחשו לי לשמוע אזן ישמעו לי׃ | 45 |
Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira, bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
בני נכר יבלו ויחגרו ממסגרותם׃ | 46 |
Bonna baggwaamu omwoyo, ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.
חי יהוה וברוך צורי וירם אלהי צור ישעי׃ | 47 |
“Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe. Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
האל הנתן נקמת לי ומוריד עמים תחתני׃ | 48 |
Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga, era ateeka amawanga wansi wange;
ומוציאי מאיבי ומקמי תרוממני מאיש חמסים תצילני׃ | 49 |
anziggya mu balabe bange. Wangulumiza okusinga abalabe bange, n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
על כן אודך יהוה בגוים ולשמך אזמר׃ | 50 |
Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
מגדיל ישועות מלכו ועשה חסד למשיחו לדוד ולזרעו עד עולם׃ | 51 |
Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi, era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”