< הָשֵּׁנִית אֶל־הַקּוֹרִנְתִּיִים 8 >

והננו מודיעים אתכם אחי את חסד אלהים הנתן בקהלות מקדוניא׃ 1
Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya.
כי ברב נסיון הלחץ רבתה שמחתם ושפלות רישם העדיפה להראות עשר תמתם׃ 2
Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo.
כי מעיד אנכי אשר לפי כחם ויותר מכחם התנדבו׃ 3
Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira.
ויבקשו ממנו ברב תחנונים להיות חברינו בגמילות חסדם לעזרת הקדשים׃ 4
Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu.
ולא כאשר הוחלנו כי אם את עצמם נתנו בראשונה לאדון וגם לנו ברצון האלהים׃ 5
Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, n’oluvannyuma gye tuli olw’okwagala kwa Katonda.
עד כי בקשנו מן טיטוס כאשר החל כן גם לגמור בכם את גמילות החסד הזאת׃ 6
Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa.
אבל כאשר הותרתם בכל באמונה ובדבור ובדעת ובכל זריזות ובאהבתכם אתנו כן גם תותירו בחסד הזה׃ 7
Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.
ואינני אמר זאת בדרך צווי כי אם לבחן על ידי זריזות אחרים גם את אמתת אהבתכם׃ 8
Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima.
כי ידעים אתם את חסד אדנינו ישוע המשיח כי בהיותו עשיר נעשה רש בעבורכם למען תעשירו על ידי רישו׃ 9
Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
ואחוה את דעתי בדבר הזה כי זאת להועיל לכם אשר הקדמתם כבר בשנה שעברה לא לעשות בלבד כי גם לחפץ׃ 10
Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako.
ועתה גם השלימו את המעשה למען כאשר התנדבתם לעשות כן גם תגמרו כפי יכלתכם׃ 11
Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina.
כי בהמצא לאיש רוח נדיבה רצויה היא לפי מה שיש לו ולא לפי מה שאין לו׃ 12
Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.
כי לא למען תהיה רוחה לאחרים ולכם צוקה כי אם בשווי ימלא יתרכם בעת הזאת את מחסורם׃ 13
Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana.
למען גם יתרם יהיה למלא מחסרכם כדי להשות׃ 14
Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga.
ככתוב לא העדיף המרבה והממעיט לא החסיר׃ 15
Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”
ותודות לאלהים הנותן גם בלב טיטוס לשקד עליכם בשקידה כזאת׃ 16
Kyokka Katonda yeebazibwe eyassa obunyiikivu bwe bumu mu mutima gwa Tito ku lwammwe.
כי שמע לבקשתנו ובשקידתו היתרה הלך אליכם מרצון נפשו׃ 17
Olw’okuzzibwamu amaanyi kwe yafuna, n’olw’okufuba kwe, yajja gye muli.
ועמו יחדו שלחנו האח אשר יצא שבחו בבשורה בכל הקהלות׃ 18
Era tutumye wamu naye owooluganda atenderezebwa olw’enjiri mu kkanisa zonna,
ומלבד זאת גם נבחר הוא מאת הקהלות ללכת אתנו להביא החסד הזה הגבוי על ידינו לכבוד האדון ולאמץ לבבכם׃ 19
naye si ekyo kyokka wabula yalondebwa okutambulanga naffe olw’ekisa kye tuweereza ffe olwa Mukama waffe yennyini n’olw’okugulumiza n’okulaga nga bwe twetegese okuyamba,
ונשמר בזאת שלא יוציא איש עלינו דבה רעה בשפעת המתנה הזאת הגבויה על ידינו׃ 20
nga twewala omuntu yenna okutunenya olw’ekirabo kino kye tuweereza.
כי משגיחים אנחנו על הטוב לא לפני האדון לבד כי גם לפני האדם׃ 21
Kubanga kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka wabula ne mu maaso g’abantu.
ונשלח עמהם את אחינו אשר בחנו את שקידתו פעמים רבות בדברים הרבה ועתה הוא שקוד עוד יותר בגדל בטחונו עליכם׃ 22
Era awamu nabo twabatumira owooluganda gwe tukakasizza nga munyiikivu mu bintu bingi era nga ne kaakano munyiikivu nnyo olw’obwesige bw’abalinamu.
אם לטיטוס הנה חברי הוא ועזרי בכם ואם לאחינו הנה שלוחי הקהלות הם ותפארת המשיח׃ 23
Singa wabaawo ayagala okumanya ebifa ku Tito, tukolagana, mukozi munnange; abooluganda, bo batume ba kkanisa, olw’ekitiibwa kya Kristo.
על כן הראו והוכיחו להם לפני הקהלות את אהבתכם ואת תהלתנו עליכם׃ 24
Noolwekyo okwagala kwammwe n’okwenyumiriza kwammwe byeyoleke gye bali.

< הָשֵּׁנִית אֶל־הַקּוֹרִנְתִּיִים 8 >