< דברי הימים ב 5 >
ותשלם כל המלאכה אשר עשה שלמה לבית יהוה ויבא שלמה את קדשי דויד אביו ואת הכסף ואת הזהב ואת כל הכלים נתן באצרות בית האלהים׃ | 1 |
Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna ogwa yeekaalu ya Mukama. N’alyoka aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yawonga, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna ebyole, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Katonda.
אז יקהיל שלמה את זקני ישראל ואת כל ראשי המטות נשיאי האבות לבני ישראל אל ירושלם להעלות את ארון ברית יהוה מעיר דויד היא ציון׃ | 2 |
Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika, n’abakulu b’ennyumba za bajjajja b’abantu ba Isirayiri bagende baleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama okuva mu Sayuuni, ekibuga kya Dawudi.
ויקהלו אל המלך כל איש ישראל בחג הוא החדש השבעי׃ | 3 |
Abasajja bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu maaso ga kabaka mu kiseera eky’embaga mu mwezi ogw’omusanvu.
ויבאו כל זקני ישראל וישאו הלוים את הארון׃ | 4 |
Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, Abaleevi ne basitula essanduuko,
ויעלו את הארון ואת אהל מועד ואת כל כלי הקדש אשר באהל העלו אתם הכהנים הלוים׃ | 5 |
ne bagireeta, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona n’Abaleevi be baabisitula.
והמלך שלמה וכל עדת ישראל הנועדים עליו לפני הארון מזבחים צאן ובקר אשר לא יספרו ולא ימנו מרב׃ | 6 |
Awo kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, abaali bakuŋŋaanye nga bamwetoolodde, nga bali mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez’endiga n’ente, ezitaabalibwa muwendo.
ויביאו הכהנים את ארון ברית יהוה אל מקומו אל דביר הבית אל קדש הקדשים אל תחת כנפי הכרובים׃ | 7 |
Awo bakabona ne baleeta essanduuko ey’endagaano ya Mukama munda mu kifo kyayo mu watukuvu wa yeekaalu, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi.
ויהיו הכרובים פרשים כנפים על מקום הארון ויכסו הכרובים על הארון ועל בדיו מלמעלה׃ | 8 |
Bakerubi baayanjalanga ebiwaawaatiro byabwe okubuna ekifo eky’essanduuko, ne babikkanga essanduuko n’emisituliro gyayo.
ויאריכו הבדים ויראו ראשי הבדים מן הארון על פני הדביר ולא יראו החוצה ויהי שם עד היום הזה׃ | 9 |
Era emisituliro gyali miwanvu nnyo nga n’okulengerebwa girengerebwa okuva mu watukuvu, naye nga tegirabika ng’omuntu asinzidde ebweru; era ekyali eyo ne leero.
אין בארון רק שני הלחות אשר נתן משה בחרב אשר כרת יהוה עם בני ישראל בצאתם ממצרים׃ | 10 |
Essanduuko yalimu ebipande Musa bye yateekamu nga ali ku Kolebu, Mukama gye yakolera endagaano n’Abayisirayiri, bwe baali bavudde mu Misiri.
ויהי בצאת הכהנים מן הקדש כי כל הכהנים הנמצאים התקדשו אין לשמור למחלקות׃ | 11 |
Awo bakabona bonna ne bava mu Kifo Ekitukuvu. Bonna abaaliwo baali beetukuzizza, obutayawula mu bibiina byabwe.
והלוים המשררים לכלם לאסף להימן לידתון ולבניהם ולאחיהם מלבשים בוץ במצלתים ובנבלים וכנרות עמדים מזרח למזבח ועמהם כהנים למאה ועשרים מחצררים בחצצרות׃ | 12 |
Abaleevi bonna abaali abayimbi, ng’omwo mwe muli Asafu, Kemani, Yedusuni ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, ne bayimirira ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’ekyoto, wamu ne bakabona kikumi mu abiri abaafuuwanga amakondeere.
ויהי כאחד למחצצרים ולמשררים להשמיע קול אחד להלל ולהדות ליהוה וכהרים קול בחצצרות ובמצלתים ובכלי השיר ובהלל ליהוה כי טוב כי לעולם חסדו והבית מלא ענן בית יהוה׃ | 13 |
Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti, “Mulungi, kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.” Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire.
ולא יכלו הכהנים לעמוד לשרת מפני הענן כי מלא כבוד יהוה את בית האלהים׃ | 14 |
Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogw’obuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.