< מלכים א 10 >

ומלכת שבא שמעת את שמע שלמה לשם יהוה ותבא לנסתו בחידות׃ 1
Awo kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’okwagala kwe yalina eri Mukama, n’ajja amugezese n’ebibuuzo ebizibu.
ותבא ירושלמה בחיל כבד מאד גמלים נשאים בשמים וזהב רב מאד ואבן יקרה ותבא אל שלמה ותדבר אליו את כל אשר היה עם לבבה׃ 2
Yatuuka mu Yerusaalemi, n’ekibiina ky’abantu ekinene ennyo, n’eŋŋamira ezaali zeetisse ebyakaloosa, ne zaabu ennyingi ennyo, n’amayinja ag’omuwendo. Yanyumya ne Sulemaani ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe.
ויגד לה שלמה את כל דבריה לא היה דבר נעלם מן המלך אשר לא הגיד לה׃ 3
Awo Sulemaani n’addamu ebibuuzo byonna, era tewaali na kimu ku byo ekyamuzibuwalira.
ותרא מלכת שבא את כל חכמת שלמה והבית אשר בנה׃ 4
Kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani ago gonna, n’olubiri lwe yazimba,
ומאכל שלחנו ומושב עבדיו ומעמד משרתו ומלבשיהם ומשקיו ועלתו אשר יעלה בית יהוה ולא היה בה עוד רוח׃ 5
n’emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n’engeri abakungu be gye baatuuzibwangamu, n’ennyambala y’abaddu be, n’abasenero be, n’ebiweebwayo ebyokebwa bye yawangayo mu yeekaalu ya Mukama, ne yeewunya nnyo.
ותאמר אל המלך אמת היה הדבר אשר שמעתי בארצי על דבריך ועל חכמתך׃ 6
N’amugamba nti, “Bye nawulira nga ndi mu nsi yange, ku ebyo by’okoze n’amagezi go, bya mazima.
ולא האמנתי לדברים עד אשר באתי ותראינה עיני והנה לא הגד לי החצי הוספת חכמה וטוב אל השמועה אשר שמעתי׃ 7
Ssakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe neesitukira ne nzija neerabireko n’agange. Kya mazima ddala nabulirwako kitundu butundu kyokka; kubanga amagezi go, n’obugagga bwo bisinga ku ebyo bye nawulira.
אשרי אנשיך אשרי עבדיך אלה העמדים לפניך תמיד השמעים את חכמתך׃ 8
Abasajja bo nga beesiimye! N’abakungu abayimirira mu maaso go ne bawulira ebigambo eby’amagezi nga beesiimye!
יהי יהוה אלהיך ברוך אשר חפץ בך לתתך על כסא ישראל באהבת יהוה את ישראל לעלם וישימך למלך לעשות משפט וצדקה׃ 9
Yeebazibwe Mukama Katonda wo akusanyukira era akutadde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri. Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, akufudde kabaka, okukuuma obwenkanya n’obutuukirivu.”
ותתן למלך מאה ועשרים ככר זהב ובשמים הרבה מאד ואבן יקרה לא בא כבשם ההוא עוד לרב אשר נתנה מלכת שבא למלך שלמה׃ 10
N’agabira kabaka ttani nnya eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Tewaaleetebwa nate byakaloosa byenkana awo obungi ng’ebyo kabaka omukazi ow’e Seeba bye yawa Sulemaani.
וגם אני חירם אשר נשא זהב מאופיר הביא מאפיר עצי אלמגים הרבה מאד ואבן יקרה׃ 11
(Emmeeri za Kiramu zaaleetanga zaabu okuva e Ofiri, n’emitoogo mingi, era n’amayinja ag’omuwendo.
ויעש המלך את עצי האלמגים מסעד לבית יהוה ולבית המלך וכנרות ונבלים לשרים לא בא כן עצי אלמגים ולא נראה עד היום הזה׃ 12
Kabaka yakozesa emitoogo okukola empagi za yeekaalu ya Mukama Katonda n’ez’olubiri lw’obwakabaka, n’okukola ennanga, n’entongooli z’abayimbi. Tewalabikanga mitoogo mingi bwe gityo n’okutuusa ku lunaku lwa leero.)
והמלך שלמה נתן למלכת שבא את כל חפצה אשר שאלה מלבד אשר נתן לה כיד המלך שלמה ותפן ותלך לארצה היא ועבדיה׃ 13
Awo kabaka Sulemaani n’awa kabaka omukazi ow’e Seeba byonna bye yayagala ne bye yasaba, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa okuva ku byobugagga bw’obwakabaka bwe. Oluvannyuma kabaka omukazi ow’e Seeba n’addayo mu nsi ye n’ekibiina ky’abantu be, be yajja nabo.
ויהי משקל הזהב אשר בא לשלמה בשנה אחת שש מאות ששים ושש ככר זהב׃ 14
Obuzito obwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwali ttani amakumi abiri mu ssatu,
לבד מאנשי התרים ומסחר הרכלים וכל מלכי הערב ופחות הארץ׃ 15
nga tobaliddeeko musolo ogwawebwangayo abasuubuzi n’ab’ebyamaguzi, ate era n’ogwasoloozebwanga okuva ku bakabaka Abawalabu bonna ne bagavana.
ויעש המלך שלמה מאתים צנה זהב שחוט שש מאות זהב יעלה על הצנה האחת׃ 16
Kabaka Sulemaani yaweesa engabo ennene ebikumi bibiri mu zaabu, buli ngabo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu.
ושלש מאות מגנים זהב שחוט שלשת מנים זהב יעלה על המגן האחת ויתנם המלך בית יער הלבנון׃ 17
Yakola n’engabo entono ebikumi bisatu, nga nazo za zaabu, buli ngabo nga ya kilo emu n’ekitundu eza zaabu. Ezo zonna kabaka yaziterekanga mu lubiri olwazimbibwa mu miti egyava mu kibira kya Lebanooni.
ויעש המלך כסא שן גדול ויצפהו זהב מופז׃ 18
Awo kabaka n’akola entebe ey’obwakabaka ennene ddala nga ya masanga n’agibikkako zaabu ennongoose.
שש מעלות לכסה וראש עגל לכסה מאחריו וידת מזה ומזה אל מקום השבת ושנים אריות עמדים אצל הידות׃ 19
Entebe ey’obwakabaka yalina amadaala mukaaga, waggulu waayo aweesigamwa nga weekulungirivu. Eruuyi n’eruuyi w’entebe waaliyo empologoma nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono.
ושנים עשר אריים עמדים שם על שש המעלות מזה ומזה לא נעשה כן לכל ממלכות׃ 20
Empologoma kkumi na bbiri zaali ku madaala mukaaga, eruuyi mukaaga n’eruuyi mukaaga. Tewaali ntebe ndala yonna ey’obwakabaka eyali ekoleddwa eri ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna mu biseera ebyo.
וכל כלי משקה המלך שלמה זהב וכל כלי בית יער הלבנון זהב סגור אין כסף לא נחשב בימי שלמה למאומה׃ 21
Ebikompe byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, ne byonna ebyali mu lubiri lwe olwakolebwa mu kibira kya Lebanooni. Tewali kyakolebwa mu ffeeza, kubanga ffeeza teyali ya muwendo nnyo mu biro ebyo.
כי אני תרשיש למלך בים עם אני חירם אחת לשלש שנים תבוא אני תרשיש נשאת זהב וכסף שנהבים וקפים ותכיים׃ 22
Kabaka yalina ebyombo ebya maguzi ku nnyanja ebyakozesebwanga awamu n’ebya Kiramu, ebyaleetanga zaabu, ne ffeeza, n’amasanga, n’enkobe n’enkima eza buli ngeri omulundi gumu mu buli myaka esatu.
ויגדל המלך שלמה מכל מלכי הארץ לעשר ולחכמה׃ 23
Kabaka Sulemaani yalina obugagga bungi nnyo nnyini, n’amagezi mangi nnyo okusinga bakabaka abalala bonna ku nsi.
וכל הארץ מבקשים את פני שלמה לשמע את חכמתו אשר נתן אלהים בלבו׃ 24
Ensi yonna yanoonyanga era yeesunganga okulaba ku Sulemaani n’okuwuliriza amagezi, Katonda ge yamuwa.
והמה מבאים איש מנחתו כלי כסף וכלי זהב ושלמות ונשק ובשמים סוסים ופרדים דבר שנה בשנה׃ 25
Buli mwaka, buli omu eyajjanga okumukyalira, yamuleeteranga ekirabo, oluusi yabeeranga zaabu ne ffeeza, oluusi ngoye, oluusi byakulwanyisa, oluusi byakaloosa, oluusi mbalaasi n’ennyumbu.
ויאסף שלמה רכב ופרשים ויהי לו אלף וארבע מאות רכב ושנים עשר אלף פרשים וינחם בערי הרכב ועם המלך בירושלם׃ 26
Sulemaani yakuŋŋaanya embalaasi n’amagaali, era yalina amagaali lukumi mu bina, n’abeebagazi b’embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yakuumiranga mu bibuga omwakuumirwanga amagaali, ne mu Yerusaalemi okumpi naye.
ויתן המלך את הכסף בירושלם כאבנים ואת הארזים נתן כשקמים אשר בשפלה לרב׃ 27
Kabaka n’afuula ffeeza okuba ng’amayinja aga bulijjo mu Yerusaalemi, n’emivule n’agifuula okuba ng’emisukamooli egiri mu biwonvu olw’obungi bwagyo.
ומוצא הסוסים אשר לשלמה ממצרים ומקוה סחרי המלך יקחו מקוה במחיר׃ 28
Embalaasi za Sulemaani zaagulibwanga mu Misiri.
ותעלה ותצא מרכבה ממצרים בשש מאות כסף וסוס בחמשים ומאה וכן לכל מלכי החתים ולמלכי ארם בידם יצאו׃ 29
Eggaali zaagulibwanga kilo musanvu eza ffeeza, na buli mbalaasi ng’egulibwa kilo emu n’ekitundu eza ffeeza mu Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.

< מלכים א 10 >