< הָרִאשׁוֹנָה אֶל־הַקּוֹרִנְתִּיִּים 9 >

הלא שליח אנכי הלא חפשי אנכי הלא ראיתי את ישוע המשיח אדנינו הלא אתם פעלי באדנינו׃ 1
Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by’omulimu gwange mu Mukama waffe?
ואם אינני שליח לאחרים אך לכם הנני שליח כי חותם שליחותי אתם באדנינו׃ 2
Obanga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe, kubanga mmwe kabonero k’obutume bwange mu Mukama waffe.
וזאת התנצלותי כנגד הדנים אותי׃ 3
Ekyo ky’eky’okuwoza kyange eri abo abambulirizaako.
האין רשות בידנו לאכל ולשתות׃ 4
Sirina buyinza kulya na kunywa?
האין רשות בידנו להוליך עמנו אחות לאשה כמו גם השליחים האחרים וכמו אחי האדון וכמו כיפא׃ 5
Singa nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ng’abatume abalala ne Keefa, ne baganda ba Mukama waffe bwe bakola?
אם לי לבדי ולבר נבא לא נתנה רשות להבטל ממלאכה׃ 6
Oba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera?
מי הלך לצבא במשכרת של עצמו מי נטע כרם ולא יאכל את פריו מי רעה עדר ומחלב העדר לא יאכל׃ 7
Muserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro y’emizabbibu naye n’aziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo n’atanywa ku mata gaamu?
הכי לפי דרכו של אדם אני מדבר כזאת הלא גם התורה אמרת כן׃ 8
Ebyo mbyogera ku bwange ng’omuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba?
כי כתוב בתורת משה לא תחסם שור בדישו הלשורים הושש האלהים׃ 9
Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano,” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka,
או אך למעננו מדבר אכן למעננו נכתב כי החרש יחרש אלי תקוה והדש ידוש אלי תקוה לקחת חלקו בתקוה׃ 10
oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala.
אם זרענו בכם עניני הרוח הכי דבר גדול הוא אם נקצר מכם עניני הבשר׃ 11
Obanga ffe twabasigamu eby’omwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe eby’omubiri?
ואם לאחרים יש רשות עליכם הלא ביותר לנו אבל לא השתמשנו ברשות הזאת כי אם סבלנו את הכל לבלתי שום מעצור לבשורת המשיח׃ 12
Kale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo n’okusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa. Naye tugumiikiriza byonna, tuleme okuziyiza Enjiri ya Kristo.
הלא ידעתם כי עבדי עבדת הקדש אכלים מן הקדשים ומשרתי המזבח לקחים חלקם במזבח׃ 13
Temumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto?
כן תקן אדנינו גם הוא אשר יחיו המבשרים על הבשורה׃ 14
Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.
ואנכי לא השתמשתי באחת מאלה וגם לא כתבתי זאת למען יעשה לי כזאת כי טוב לי המות מאשר ישים איש את תהלתי לריק׃ 15
Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa.
אם אבשר את הבשורה אין לי תהלה כי החובה מטלת עלי ואוי לי אם לא אבשר׃ 16
Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira.
כי אם ברצוני אעשה כן יהיה לי שכר ואם בעל כרחי פקדת משמרתי היא׃ 17
Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo.
ועתה מה הוא שכרי הלא זה שאבשר בשורת המשיח בלא מחיר לבלתי השתמש להנאת עצמי ברשיון הנתן לי בבשורה׃ 18
Kale empeera yange y’eruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olw’omulimu ogwo nga bwe nsaanidde.
כי בהיותי חפשי מכל עשיתי עצמי עבד לכל אדם למען אקנא את הרבים׃ 19
Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo.
ואהי ליהודים כיהודי לקנות היהודים ואשר הם תחת התורה הייתי להם כמו תחת התורה למען קנות אותם אשר תחת התורה׃ 20
Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo.
לאלה אשר בלי תורה הייתי כבלי תורה אף כי אינני בלי תורת האלהים כי אם תחת תורת המשיח אנכי למען קנות אותם אשר בלי תורה׃ 21
Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo.
ולחלשים הייתי כחלש לקנות את החלשים הכל לכלם נהייתי למען בכל דרך אושיע אחדים׃ 22
Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa.
ואת זאת אני עשה בעבור הבשורה למען אקח חלקי בה גם אנכי׃ 23
Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.
הלא ידעתם כי רצי המרוצה באסטדין רצים כלם ורק אחד מהם ישיג את שכר הנצוח ככה רוצו למען תשיגהו׃ 24
Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo.
וכל העמד להאבק ינזר מכל דבר המה לקחת כתר נפסד ואנחנו לקחת כתר אשר איננו נפסד׃ 25
Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka.
לכן הנני רץ לא כמו בחשכה הנני נלחם לא כהולם רוח׃ 26
Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga.
כי אם אדכא את גופי ואשעבדנו פן אהיה אני הקורא לאחרים נאלח בעצמי׃ 27
Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

< הָרִאשׁוֹנָה אֶל־הַקּוֹרִנְתִּיִּים 9 >