< ג'ון 20 >

השכם בבוקר יום ראשון, עוד לפני הנץ החמה, באה מרים המגדלית אל קברו של ישוע וראתה שהאבן הוסרה מפתח הקבר. 1
Mu makya g’olunaku olusooka mu wiiki, Maliyamu Magudaleene n’ajja ku ntaana, ng’obudde tebunnalaba bulungi, n’alaba ejjinja nga liggiddwa ku ntaana.
היא רצה מיד אל שמעון פטרוס ואל התלמיד השני, זה שהיה אהוב על ישוע. היא קראה:”הם לקחו את האדון מהקבר! איננו יודעים היכן שמו אותו!“ 2
N’adduka n’agenda eri Simooni Peetero n’eri omuyigirizwa omulala Yesu gwe yayagalanga ennyo n’abagamba nti, “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era simanyi gye bamutadde!”
פטרוס והתלמיד השני מיהרו יחד אל הקבר; התלמיד השני הקדים אותו והגיע ראשון. 3
Awo Peetero n’omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana.
4
Bombi ne bagenda nga badduka, omuyigirizwa oli omulala n’ayisa Peetero n’amusooka ku ntaana.
הוא הביט פנימה וראה את התכריכים מונחים במקומם, אולם לא נכנס לקבר. 5
N’akutama n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo, kyokka n’atayingira mu ntaana.
שמעון פטרוס בא אחריו ונכנס פנימה. גם הוא ראה את התכריכים. 6
Awo ne Simooni Peetero n’atuuka, n’ayingira mu ntaana, n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo.
הבד שעטף את ראשו של ישוע היה מקופל ומונח בצד בניפרד מהתכריכים. 7
N’alaba n’ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa era nga kiteekebbwa ku bbali.
ואז גם התלמיד האחר נכנס פנימה, ראה והאמין שישוע קם לתחייה. 8
N’omuyigirizwa oli omulala, eyasooka okutuuka ku ntaana n’ayingira. N’alaba era n’akkiriza.
כי עד אז לא הבינו שהכתובים ניבאו כי הוא יקום לתחייה. 9
Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu.
שניהם הלכו הביתה, 10
Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.
ובינתיים חזרה מרים אל הקבר, עמדה בחוץ ובכתה. היא העיפה מבט לתוך הקבר, 11
Maliyamu Magudaleene yali ayimiridde wabweru w’entaana ng’akaaba. N’akutama. N’alingiza mu ntaana nga bw’akaaba,
ולפתע נגלו אליה שני מלאכים לבושי לבן יושבים במקום שבו הייתה גופת ישוע: אחד למרגלותיו ושני למראשותיו. 12
n’alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye enjeru nga batudde; omu emitwetwe n’omulala emirannamiro w’ekifo omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.
”מדוע את בוכה?“שאלו המלאכים.”כי הם לקחו את אדוני ואיני יודעת היכן הניחו אותו“, השיבה מרים. 13
Bamalayika ne bamubuuza nti, “Omukyala, okaabira ki?” N’abaddamu nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, era simanyi gye bamutadde!”
היא הרגישה שמישהו עומד מאחוריה. כשהביטה לאחור ראתה את ישוע, אולם היא לא הכירה אותו. 14
Bwe yamala okwogera ebyo, n’akyuka n’alaba Yesu ng’ayimiridde, kyokka n’atamanya nti ye Yesu.
”מדוע את בוכה? את מי את מחפשת?“שאל אותה ישוע. מרים חשבה אותו לשומר הגן ולכן התחננה לפניו:”אם אתה זה שלקח את אדוני, אנא, אמור לי היכן שמת אותו כדי שאוכל לקחתו.“ 15
Yesu n’amubuuza nti, “Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?” Maliyamu n’alowooza nti, Ye nannyini nnimiro n’amugamba nti, “Ssebo, obanga gw’omuggyeemu, mbuulira gy’omutadde ŋŋende mmuggyeyo.”
”מרים!“קרא ישוע. היא פנתה להביט בו וקראה:”רבי!“ 16
Yesu n’amugamba nti, “Maliyamu!” Maliyamu n’akyukira Yesu n’amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni,” ekitegeeza nti, “Omuyigiriza.”
”אל תגעי בי, “הזהיר אותה ישוע,”כי עדיין לא עליתי אל אבי. לכי אל האחים וספרי להם שאני עולה אל אבי ואביכם, אל אלוהי ואלוהיכם.“ 17
Yesu n’amugamba nti, “Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe.”
מרים מיהרה אל התלמידים.”ראיתי את האדון!“קראה בהתלהבות, ומסרה להם את דבריו. 18
Maliyamu Magudaleene n’agenda n’abuulira abayigirizwa nga bw’alabye Mukama waffe, era n’abategeeza by’amugambye.
באותו ערב התכנסו התלמידים מאחורי דלתות נעולות, מפחד מנהיגי היהודים. לפתע עמד ישוע ביניהם ואמר:”שלום לכם!“ 19
Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ng’enzigi nsibe olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja n’ayimirira wakati mu bo. N’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”
הוא הראה להם את נקבי המסמרים בידיו ואת צדו, והתלמידים שמחו מאוד לראות את אדונם. 20
Bwe yamala okwogera ebyo n’abalaga ebibatu bye n’embiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.
שוב דיבר אליהם ישוע:”כשם שאבי שלח אותי, כך אני שולח אתכם.“ 21
N’addamu nti, “Emirembe gibe mu mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.”
הוא נשף ואמר:”קבלו את רוח הקודש. 22
Bwe yamala okwogera ebyo n’abassiza omukka, n’abagamba nti, “Mufune Mwoyo Mutukuvu.
למי שתסלחו לחטאיו, הם ייסלחו לו, ולמי שלא תסלחו לחטאיו, הם לא ייסלחו לו.“ 23
Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa.”
תומא התאום, אחד משנים־עשר התלמידים, נעדר מאותה אסיפה. 24
Naye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja.
כשסיפרו לו התלמידים שראו את האדון, תומא לא האמין.”לא אאמין בכך עד שאראה את נקבי המסמרים שבידיו ואגע בהם ובצדו“, אמר. 25
Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.” Ye n’abagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ez’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”
כעבור שמונה ימים שוב התכנסו התלמידים, והפעם היה תומא ביניהם. גם הפעם היו הדלתות נעולות. לפתע שוב עמד ישוע ביניהם וקרא:”שלום לכם!“ 26
Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu n’ajja, enzigi nga nsibe, n’ayimirira wakati mu bo n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,”
ישוע פנה אל תומא ואמר:”גע בידי ובצד גופי, ואל תהיה יותר חסר־אמונה, כי אם תאמין!“ 27
Awo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”
”אדוני ואלוהי!“קרא לו תומא. 28
Tomasi n’amuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”
ישוע המשיך לדבר אליו:”אתה מאמין משום שראית אותי, אולם ברוכים המאמינים על אף שאינם רואים.“ 29
Yesu n’amugamba nti, “Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”
ישוע חולל עוד ניסים רבים לעיני תלמידיו אך הם לא נכתבו בספר זה. 30
Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino.
הניסים בספר זה נכתבו כדי שתאמינו כי הוא המשיח בן־האלוהים, וכדי שעל־ידי אמונתכם בו תחיו חיי נצח. 31
Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.

< ג'ון 20 >