< יְשַׁעְיָהוּ 13 >
מַשָּׂ֖א בָּבֶ֑ל אֲשֶׁ֣ר חָזָ֔ה יְשַׁעְיָ֖הוּ בֶּן־אָמֽוֹץ׃ | 1 |
Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.
עַ֤ל הַר־נִשְׁפֶּה֙ שְֽׂאוּ־נֵ֔ס הָרִ֥ימוּ ק֖וֹל לָהֶ֑ם הָנִ֣יפוּ יָ֔ד וְיָבֹ֖אוּ פִּתְחֵ֥י נְדִיבִֽים׃ | 2 |
Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu, mubakaabirire mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu.
אֲנִ֥י צִוֵּ֖יתִי לִמְקֻדָּשָׁ֑י גַּ֣ם קָרָ֤אתִי גִבּוֹרַי֙ לְאַפִּ֔י עַלִּיזֵ֖י גַּאֲוָתִֽי׃ | 3 |
Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange mpise abalwanyi bange ab’amaanyi, babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.
ק֥וֹל הָמ֛וֹן בֶּֽהָרִ֖ים דְּמ֣וּת עַם־רָ֑ב ק֠וֹל שְׁא֞וֹן מַמְלְכ֤וֹת גּוֹיִם֙ נֶֽאֱסָפִ֔ים יְהוָ֣ה צְבָא֔וֹת מְפַקֵּ֖ד צְבָ֥א מִלְחָמָֽה׃ | 4 |
Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi, nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene! Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka, olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu! Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka eggye lye okulwana.
בָּאִ֛ים מֵאֶ֥רֶץ מֶרְחָ֖ק מִקְצֵ֣ה הַשָּׁמָ֑יִם יְהוָה֙ וּכְלֵ֣י זַעְמ֔וֹ לְחַבֵּ֖ל כָּל־הָאָֽרֶץ׃ | 5 |
Bava wala mu nsi ezeewala ennya okuva ku nkomerero y’eggulu. Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa eby’okuzikiriza ensi yonna.
הֵילִ֕ילוּ כִּ֥י קָר֖וֹב י֣וֹם יְהוָ֑ה כְּשֹׁ֖ד מִשַּׁדַּ֥י יָבֽוֹא׃ | 6 |
Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!
עַל־כֵּ֖ן כָּל־יָדַ֣יִם תִּרְפֶּ֑ינָה וְכָל־לְבַ֥ב אֱנ֖וֹשׁ יִמָּס׃ | 7 |
Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi, na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka;
וְֽנִבְהָ֓לוּ ׀ צִירִ֤ים וַֽחֲבָלִים֙ יֹֽאחֵז֔וּן כַּיּוֹלֵדָ֖ה יְחִיל֑וּן אִ֤ישׁ אֶל־רֵעֵ֙הוּ֙ יִתְמָ֔הוּ פְּנֵ֥י לְהָבִ֖ים פְּנֵיהֶֽם׃ | 8 |
era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.
הִנֵּ֤ה יוֹם־יְהוָה֙ בָּ֔א אַכְזָרִ֥י וְעֶבְרָ֖ה וַחֲר֣וֹן אָ֑ף לָשׂ֤וּם הָאָ֙רֶץ֙ לְשַׁמָּ֔ה וְחַטָּאֶ֖יהָ יַשְׁמִ֥יד מִמֶּֽנָּה׃ | 9 |
Laba olunaku lwa Mukama lujja, olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka okufuula ensi amatongo, n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
כִּֽי־כוֹכְבֵ֤י הַשָּׁמַ֙יִם֙ וּכְסִ֣ילֵיהֶ֔ם לֹ֥א יָהֵ֖לּוּ אוֹרָ֑ם חָשַׁ֤ךְ הַשֶּׁ֙מֶשׁ֙ בְּצֵאת֔וֹ וְיָרֵ֖חַ לֹֽא־יַגִּ֥יהַ אוֹרֽוֹ׃ | 10 |
Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo tebiryaka; enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo, n’omwezi nagwo tegulyaka.
וּפָקַדְתִּ֤י עַל־תֵּבֵל֙ רָעָ֔ה וְעַל־רְשָׁעִ֖ים עֲוֺנָ֑ם וְהִשְׁבַּתִּי֙ גְּא֣וֹן זֵדִ֔ים וְגַאֲוַ֥ת עָרִיצִ֖ים אַשְׁפִּֽיל׃ | 11 |
Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo, n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe. Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
אוֹקִ֥יר אֱנ֖וֹשׁ מִפָּ֑ז וְאָדָ֖ם מִכֶּ֥תֶם אוֹפִֽיר׃ | 12 |
Abantu ndibafuula abebbula okusinga zaabu ennongoose eya ofiri.
עַל־כֵּן֙ שָׁמַ֣יִם אַרְגִּ֔יז וְתִרְעַ֥שׁ הָאָ֖רֶץ מִמְּקוֹמָ֑הּ בְּעֶבְרַת֙ יְהוָ֣ה צְבָא֔וֹת וּבְי֖וֹם חֲר֥וֹן אַפּֽוֹ׃ | 13 |
Noolwekyo ndikankanya eggulu, era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo, olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye, ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.
וְהָיָה֙ כִּצְבִ֣י מֻדָּ֔ח וּכְצֹ֖אן וְאֵ֣ין מְקַבֵּ֑ץ אִ֤ישׁ אֶל־עַמּוֹ֙ יִפְנ֔וּ וְאִ֥ישׁ אֶל־אַרְצ֖וֹ יָנֽוּסוּ׃ | 14 |
Era ng’empeewo eyiggibwa, ng’endiga eteriiko agirunda, buli muntu aliddukira eri abantu be buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe.
כָּל־הַנִּמְצָ֖א יִדָּקֵ֑ר וְכָל־הַנִּסְפֶּ֖ה יִפּ֥וֹל בֶּחָֽרֶב׃ | 15 |
Buli anaalabwangako ng’ekitala kimuyitamu, buli gwe banaakwatangako ng’attibwa n’ekitala.
וְעֹלְלֵיהֶ֥ם יְרֻטְּשׁ֖וּ לְעֵֽינֵיהֶ֑ם יִשַּׁ֙סּוּ֙ בָּֽתֵּיהֶ֔ם וּנְשֵׁיהֶ֖ם תשגלנה׃ | 16 |
N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba; ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.
הִנְנִ֛י מֵעִ֥יר עֲלֵיהֶ֖ם אֶת־מָדָ֑י אֲשֶׁר־כֶּ֙סֶף֙ לֹ֣א יַחְשֹׁ֔בוּ וְזָהָ֖ב לֹ֥א יַחְפְּצוּ־בֽוֹ׃ | 17 |
Laba, ndibayimbulira Abameedi, abatafa ku ffeeza era abateeguya zaabu.
וּקְשָׁת֖וֹת נְעָרִ֣ים תְּרַטַּ֑שְׁנָה וּפְרִי־בֶ֙טֶן֙ לֹ֣א יְרַחֵ֔מוּ עַל־בָּנִ֖ים לֹֽא־תָח֥וּס עֵינָֽם׃ | 18 |
Emitego gyabwe girikuba abavubuka era tebaliba na kisa eri abawere. Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.
וְהָיְתָ֤ה בָבֶל֙ צְבִ֣י מַמְלָכ֔וֹת תִּפְאֶ֖רֶת גְּא֣וֹן כַּשְׂדִּ֑ים כְּמַהְפֵּכַ֣ת אֱלֹהִ֔ים אֶת־סְדֹ֖ם וְאֶת־עֲמֹרָֽה׃ | 19 |
Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka, obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya, kiriba nga Sodomu ne Ggomola Katonda bye yawamba.
לֹֽא־תֵשֵׁ֣ב לָנֶ֔צַח וְלֹ֥א תִשְׁכֹּ֖ן עַד־דּ֣וֹר וָד֑וֹר וְלֹֽא־יַהֵ֥ל שָׁם֙ עֲרָבִ֔י וְרֹעִ֖ים לֹא־יַרְבִּ֥צוּ שָֽׁם׃ | 20 |
Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna, so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe, so teri Muwalabu alisimbayo weema ye, teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.
וְרָבְצוּ־שָׁ֣ם צִיִּ֔ים וּמָלְא֥וּ בָתֵּיהֶ֖ם אֹחִ֑ים וְשָׁ֤כְנוּ שָׁם֙ בְּנ֣וֹת יַֽעֲנָ֔ה וּשְׂעִירִ֖ים יְרַקְּדוּ־שָֽׁם ׃ | 21 |
Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo; ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola; bammaaya banaabeeranga eyo, n’ebikulekule bibuukire eyo.
וְעָנָ֤ה אִיִּים֙ בְּאַלְמנוֹתָ֔יו וְתַנִּ֖ים בְּהֵ֣יכְלֵי עֹ֑נֶג וְקָר֤וֹב לָבוֹא֙ עִתָּ֔הּ וְיָמֶ֖יהָ לֹ֥א יִמָּשֵֽׁכוּ׃ | 22 |
N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe, ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana. Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka, ennaku ze teziryongerwako.