< תהילים 47 >

לַמְנַצֵּחַ ׀ לִבְנֵי־קֹרַח מִזְמֽוֹר׃ כָּֽל־הָעַמִּים תִּקְעוּ־כָף הָרִיעוּ לֵאלֹהִים בְּקוֹל רִנָּֽה׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna; muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
כִּֽי־יְהוָה עֶלְיוֹן נוֹרָא מֶלֶךְ גָּדוֹל עַל־כָּל־הָאָֽרֶץ׃ 2
Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa. Ye Kabaka afuga ensi yonna.
יַדְבֵּר עַמִּים תַּחְתֵּינוּ וּלְאֻמִּים תַּחַת רַגְלֵֽינוּ׃ 3
Yatujeemululira abantu, n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
יִבְחַר־לָנוּ אֶת־נַחֲלָתֵנוּ אֶת גְּאוֹן יַעֲקֹב אֲשֶׁר־אָהֵב סֶֽלָה׃ 4
Yatulondera omugabo gwaffe, Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
עָלָה אֱלֹהִים בִּתְרוּעָה יְהֹוָה בְּקוֹל שׁוֹפָֽר׃ 5
Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi. Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
זַמְּרוּ אֱלֹהִים זַמֵּרוּ זַמְּרוּ לְמַלְכֵּנוּ זַמֵּֽרוּ׃ 6
Mutendereze Katonda, mumutendereze. Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.
כִּי מֶלֶךְ כָּל־הָאָרֶץ אֱלֹהִים זַמְּרוּ מַשְׂכִּֽיל׃ 7
Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna, mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.
מָלַךְ אֱלֹהִים עַל־גּוֹיִם אֱלֹהִים יָשַׁב ׀ עַל־כִּסֵּא קָדְשֽׁוֹ׃ 8
Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
נְדִיבֵי עַמִּים ׀ נֶאֱסָפוּ עַם אֱלֹהֵי אַבְרָהָם כִּי לֵֽאלֹהִים מָֽגִנֵּי־אֶרֶץ מְאֹד נַעֲלָֽה׃ 9
Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu; kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi. Katonda agulumizibwenga nnyo.

< תהילים 47 >