< תהילים 37 >

לְדָוִד ׀ אַל־תִּתְחַר בַּמְּרֵעִים אַל־תְּקַנֵּא בְּעֹשֵׂי עַוְלָֽה׃ 1
Zabbuli ya Dawudi. Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi, so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
כִּי כֶחָצִיר מְהֵרָה יִמָּלוּ וּכְיֶרֶק דֶּשֶׁא יִבּוֹלֽוּן׃ 2
Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo, bafiire ddala ng’essubi ekkalu.
בְּטַח בַּֽיהוָה וַעֲשֵׂה־טוֹב שְׁכָן־אֶרֶץ וּרְעֵה אֱמוּנָֽה׃ 3
Weesigenga Mukama okolenga bulungi, onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
וְהִתְעַנַּג עַל־יְהוָה וְיִֽתֶּן־לְךָ מִשְׁאֲלֹת לִבֶּֽךָ׃ 4
Sanyukiranga mu Mukama, anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
גּוֹל עַל־יְהוָה דַּרְכֶּךָ וּבְטַח עָלָיו וְהוּא יַעֲשֶֽׂה׃ 5
By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama; mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
וְהוֹצִיא כָאוֹר צִדְקֶךָ וּמִשְׁפָּטֶךָ כַּֽצָּהֳרָֽיִם׃ 6
Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana, n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.
דּוֹם ׀ לַיהוָה וְהִתְחוֹלֵל לוֹ אַל־תִּתְחַר בְּמַצְלִיחַ דַּרְכּוֹ בְּאִישׁ עֹשֶׂה מְזִמּֽוֹת׃ 7
Siriikirira awali Mukama, ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola. Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
הֶרֶף מֵאַף וַעֲזֹב חֵמָה אַל־תִּתְחַר אַךְ־לְהָרֵֽעַ׃ 8
Tonyiiganga era weewale ekiruyi; teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
כִּֽי־מְרֵעִים יִכָּרֵתוּן וְקֹוֵי יְהוָה הֵמָּה יִֽירְשׁוּ־אָֽרֶץ׃ 9
Kubanga ababi balisalibwako, naye abeesiga Mukama baligabana ensi.
וְעוֹד מְעַט וְאֵין רָשָׁע וְהִתְבּוֹנַנְתָּ עַל־מְקוֹמוֹ וְאֵינֶֽנּוּ׃ 10
Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala; wadde mulibanoonya temulibalabako.
וַעֲנָוִים יִֽירְשׁוּ־אָרֶץ וְהִתְעַנְּגוּ עַל־רֹב שָׁלֽוֹם׃ 11
Naye abateefu baligabana ensi ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.
זֹמֵם רָשָׁע לַצַּדִּיק וְחֹרֵק עָלָיו שִׁנָּֽיו׃ 12
Ababi basalira abatuukirivu enkwe, ne babalumira obujiji.
אֲדֹנָי יִשְׂחַק־לוֹ כִּֽי־רָאָה כִּֽי־יָבֹא יוֹמֽוֹ׃ 13
Naye Mukama asekerera ababi, kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.
חֶרֶב ׀ פָּֽתְחוּ רְשָׁעִים וְדָרְכוּ קַשְׁתָּם לְהַפִּיל עָנִי וְאֶבְיוֹן לִטְבוֹחַ יִשְׁרֵי־דָֽרֶךְ׃ 14
Ababi basowoddeyo ebitala byabwe ne baleega emitego gy’obusaale, batte abaavu n’abali mu kwetaaga era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
חַרְבָּם תָּבוֹא בְלִבָּם וְקַשְּׁתוֹתָם תִּשָּׁבַֽרְנָה׃ 15
Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini, n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.
טוֹב־מְעַט לַצַּדִּיק מֵהֲמוֹן רְשָׁעִים רַבִּֽים׃ 16
Ebitono omutuukirivu by’alina bisinga obugagga bw’ababi abangi;
כִּי זְרוֹעוֹת רְשָׁעִים תִּשָּׁבַרְנָה וְסוֹמֵךְ צַדִּיקִים יְהוָֽה׃ 17
kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma, naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.
יוֹדֵעַ יְהוָה יְמֵי תְמִימִם וְנַחֲלָתָם לְעוֹלָם תִּהְיֶֽה׃ 18
Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama, era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
לֹֽא־יֵבֹשׁוּ בְּעֵת רָעָה וּבִימֵי רְעָבוֹן יִשְׂבָּֽעוּ׃ 19
Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga, ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.
כִּי רְשָׁעִים ׀ יֹאבֵדוּ וְאֹיְבֵי יְהוָה כִּיקַר כָּרִים כָּלוּ בֶעָשָׁן כָּֽלוּ׃ 20
Naye ababi balizikirira; abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale, era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.
לֹוֶה רָשָׁע וְלֹא יְשַׁלֵּם וְצַדִּיק חוֹנֵן וְנוֹתֵֽן׃ 21
Ababi beewola, ne batasasula; naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
כִּי מְבֹרָכָיו יִירְשׁוּ אָרֶץ וּמְקֻלָּלָיו יִכָּרֵֽתוּ׃ 22
Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi, naye abo b’akolimira balizikirizibwa.
מֵיְהוָה מִֽצְעֲדֵי־גֶבֶר כּוֹנָנוּ וְדַרְכּוֹ יֶחְפָּֽץ׃ 23
Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu, aluŋŋamya entambula ye.
כִּֽי־יִפֹּל לֹֽא־יוּטָל כִּֽי־יְהוָה סוֹמֵךְ יָדֽוֹ׃ 24
Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi, kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.
נַעַר ׀ הָיִיתִי גַּם־זָקַנְתִּי וְֽלֹא־רָאִיתִי צַדִּיק נֶעֱזָב וְזַרְעוֹ מְבַקֶּשׁ־לָֽחֶם׃ 25
Nnali muto kati nkaddiye, naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo, wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
כָּל־הַיּוֹם חוֹנֵן וּמַלְוֶה וְזַרְעוֹ לִבְרָכָֽה׃ 26
Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu. Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.
סוּר מֵרָע וַעֲשֵׂה־טוֹב וּשְׁכֹן לְעוֹלָֽם׃ 27
Muve mu bibi, mukolenga ebirungi, munaabanga balamu emirembe gyonna.
כִּי יְהוָה ׀ אֹהֵב מִשְׁפָּט וְלֹא־יַעֲזֹב אֶת־חֲסִידָיו לְעוֹלָם נִשְׁמָרוּ וְזֶרַע רְשָׁעִים נִכְרָֽת׃ 28
Kubanga Mukama ayagala ab’amazima, n’abeesigwa be taabaabulirenga. Banaalabirirwanga emirembe gyonna; naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
צַדִּיקִים יִֽירְשׁוּ־אָרֶץ וְיִשְׁכְּנוּ לָעַד עָלֶֽיהָ׃ 29
Abatuukirivu baligabana ensi ne babeeranga omwo emirembe gyonna.
פִּֽי־צַדִּיק יֶהְגֶּה חָכְמָה וּלְשׁוֹנוֹ תְּדַבֵּר מִשְׁפָּֽט׃ 30
Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi, n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
תּוֹרַת אֱלֹהָיו בְּלִבּוֹ לֹא תִמְעַד אֲשֻׁרָיו׃ 31
Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe, era ebigere bye tebiseerera.
צוֹפֶה רָשָׁע לַצַּדִּיק וּמְבַקֵּשׁ לַהֲמִיתוֹ׃ 32
Omubi ateega omutuukirivu ng’anoonya okumutta,
יְהוָה לֹא־יַעַזְבֶנּוּ בְיָדוֹ וְלֹא יַרְשִׁיעֶנּוּ בְּהִשָּׁפְטֽוֹ׃ 33
naye Mukama taliganya babi kuwangula, wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.
קַוֵּה אֶל־יְהוָה ׀ וּשְׁמֹר דַּרְכּוֹ וִֽירוֹמִמְךָ לָרֶשֶׁת אָרֶץ בְּהִכָּרֵת רְשָׁעִים תִּרְאֶֽה׃ 34
Lindirira Mukama n’okugumiikiriza, otambulirenga mu makubo ge; naye alikugulumiza n’akuwa ensi; ababi bwe balisalirwako olikitegeera.
רָאִיתִי רָשָׁע עָרִיץ וּמִתְעָרֶה כְּאֶזְרָח רַעֲנָֽן׃ 35
Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi, ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
וַיּֽ͏ַעֲבֹר וְהִנֵּה אֵינֶנּוּ וָֽאֲבַקְשֵׁהוּ וְלֹא נִמְצָֽא׃ 36
naye teyalwawo n’abula, ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.
שְׁמָר־תָּם וּרְאֵה יָשָׁר כִּֽי־אַחֲרִית לְאִישׁ שָׁלֽוֹם׃ 37
Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu; obulamu bwe bunajjulanga emirembe.
וּֽפֹשְׁעִים נִשְׁמְדוּ יַחְדָּו אַחֲרִית רְשָׁעִים נִכְרָֽתָה׃ 38
Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa; ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.
וּתְשׁוּעַת צַדִּיקִים מֵיְהוָה מָֽעוּזָּם בְּעֵת צָרָֽה׃ 39
Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama; ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
וַֽיַּעְזְרֵם יְהוָה וַֽיְפַלְּטֵם יְפַלְּטֵם מֵרְשָׁעִים וְיוֹשִׁיעֵם כִּי־חָסוּ בֽוֹ׃ 40
Mukama abayamba n’abalokola; abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola, kubanga gy’ali gye baddukira.

< תהילים 37 >