< תהילים 114 >
בְּצֵאת יִשְׂרָאֵל מִמִּצְרָיִם בֵּית יַעֲקֹב מֵעַם לֹעֵֽז׃ | 1 |
Isirayiri bwe yava mu Misiri, abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
הָיְתָה יְהוּדָה לְקָדְשׁוֹ יִשְׂרָאֵל מַמְשְׁלוֹתָֽיו׃ | 2 |
Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda, Isirayiri n’afuuka amatwale ge.
הַיָּם רָאָה וַיָּנֹס הַיַּרְדֵּן יִסֹּב לְאָחֽוֹר׃ | 3 |
Ennyanja bwe yabalaba n’edduka; Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
הֶֽהָרִים רָקְדוּ כְאֵילִים גְּבָעוֹת כִּבְנֵי־צֹֽאן׃ | 4 |
Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume, n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.
מַה־לְּךָ הַיָּם כִּי תָנוּס הַיַּרְדֵּן תִּסֹּב לְאָחֽוֹר׃ | 5 |
Ggwe ennyanja, lwaki wadduka? Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
הֶֽהָרִים תִּרְקְדוּ כְאֵילִים גְּבָעוֹת כִּבְנֵי־צֹֽאן׃ | 6 |
Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume, nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?
מִלִּפְנֵי אָדוֹן חוּלִי אָרֶץ מִלִּפְנֵי אֱלוֹהַּ יַעֲקֹֽב׃ | 7 |
Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama, mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
הַהֹפְכִי הַצּוּר אֲגַם־מָיִם חַלָּמִישׁ לְמַעְיְנוֹ־מָֽיִם׃ | 8 |
eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi, n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.