< מיכה 1 >

דְּבַר־יְהוָה ׀ אֲשֶׁר הָיָה אֶל־מִיכָה הַמֹּרַשְׁתִּי בִּימֵי יוֹתָם אָחָז יְחִזְקִיָּה מַלְכֵי יְהוּדָה אֲשֶׁר־חָזָה עַל־שֹׁמְרוֹן וִירֽוּשָׁלָֽ͏ִם׃ 1
Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.
שִׁמְעוּ עַמִּים כֻּלָּם הַקְשִׁיבִי אֶרֶץ וּמְלֹאָהּ וִיהִי אֲדֹנָי יְהוִה בָּכֶם לְעֵד אֲדֹנָי מֵהֵיכַל קָדְשֽׁוֹ׃ 2
Muwulire mmwe abantu mwenna, muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu, Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu, ng’alina by’abalumiriza.
כִּֽי־הִנֵּה יְהוָה יֹצֵא מִמְּקוֹמוֹ וְיָרַד וְדָרַךְ עַל־במותי בָּמֳתֵי אָֽרֶץ׃ 3
Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
וְנָמַסּוּ הֶֽהָרִים תַּחְתָּיו וְהָעֲמָקִים יִתְבַּקָּעוּ כַּדּוֹנַג מִפְּנֵי הָאֵשׁ כְּמַיִם מֻגָּרִים בְּמוֹרָֽד׃ 4
N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro, ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
בְּפֶשַׁע יַֽעֲקֹב כָּל־זֹאת וּבְחַטֹּאות בֵּית יִשְׂרָאֵל מִֽי־פֶשַׁע יַעֲקֹב הֲלוֹא שֹֽׁמְרוֹן וּמִי בָּמוֹת יְהוּדָה הֲלוֹא יְרוּשָׁלָֽ͏ִם׃ 5
Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo, olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri. Ekibi kya Yakobo kye kiruwa? Si ye Samaliya? Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda? Si Yerusaalemi?
וְשַׂמְתִּי שֹׁמְרוֹן לְעִי הַשָּׂדֶה לְמַטָּעֵי כָרֶם וְהִגַּרְתִּי לַגַּי אֲבָנֶיהָ וִיסֹדֶיהָ אֲגַלֶּֽה׃ 6
“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu, kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu. Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
וְכָל־פְּסִילֶיהָ יֻכַּתּוּ וְכָל־אֶתְנַנֶּיהָ יִשָּׂרְפוּ בָאֵשׁ וְכָל־עֲצַבֶּיהָ אָשִׂים שְׁמָמָה כִּי מֵאֶתְנַן זוֹנָה קִבָּצָה וְעַד־אֶתְנַן זוֹנָה יָשֽׁוּבוּ׃ 7
Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa; ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro; ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera. Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi, bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”
עַל־זֹאת אֶסְפְּדָה וְאֵילִילָה אֵילְכָה שילל שׁוֹלָל וְעָרוֹם אֶעֱשֶׂה מִסְפֵּד כַּתַּנִּים וְאֵבֶל כִּבְנוֹת יַעֲנָֽה׃ 8
Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe, ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya. Ndikaaba ng’ekibe, ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
כִּי אֲנוּשָׁה מַכּוֹתֶיהָ כִּי־בָאָה עַד־יְהוּדָה נָגַע עַד־שַׁעַר עַמִּי עַד־יְרוּשָׁלָֽ͏ִם׃ 9
Ekiwundu kye tekiwonyezeka, ne Yuda ky’alwadde. Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange, ne ku Yerusaalemi yennyini.
בְּגַת אַל־תַּגִּידוּ בָּכוֹ אַל־תִּבְכּוּ בְּבֵית לְעַפְרָה עָפָר התפלשתי הִתְפַּלָּֽשִׁי׃ 10
Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba maziga n’akatono. Mwevulungulire mu nfuufu mu Besuleyafula.
עִבְרִי לָכֶם יוֹשֶׁבֶת שָׁפִיר עֶרְיָה־בֹשֶׁת לֹא יָֽצְאָה יוֹשֶׁבֶת צַֽאֲנָן מִסְפַּד בֵּית הָאֵצֶל יִקַּח מִכֶּם עֶמְדָּתֽוֹ׃ 11
Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde, mmwe ababeera mu Safiri. Ababeera mu Zanani tebalifuluma. Beswezeeri ekuba ebiwoobe, kubanga tokyalinayo buddukiro.
כִּֽי־חָלָֽה לְטוֹב יוֹשֶׁבֶת מָרוֹת כִּֽי־יָרַד רָע מֵאֵת יְהוָה לְשַׁעַר יְרוּשָׁלָֽ͏ִם׃ 12
Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi nga balindirira okubeerwa, kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama, ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
רְתֹם הַמֶּרְכָּבָה לָרֶכֶשׁ יוֹשֶׁבֶת לָכִישׁ רֵאשִׁית חַטָּאת הִיא לְבַת־צִיּוֹן כִּי־בָךְ נִמְצְאוּ פִּשְׁעֵי יִשְׂרָאֵֽל׃ 13
Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi mmwe ababeera mu Lakisi. Mmwe nsibuko y’ekibi mu Bawala ba Sayuuni, kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
לָכֵן תִּתְּנִי שִׁלּוּחִים עַל מוֹרֶשֶׁת גַּת בָּתֵּי אַכְזִיב לְאַכְזָב לְמַלְכֵי יִשְׂרָאֵֽל׃ 14
Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi ebirabo ebimusiibula. Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba eri bakabaka ba Isirayiri.
עֹד הַיֹּרֵשׁ אָבִי לָךְ יוֹשֶׁבֶת מָֽרֵשָׁה עַד־עֲדֻּלָּם יָבוֹא כְּבוֹד יִשְׂרָאֵֽל׃ 15
Mmwe abantu b’omu Malesa, ndibasindikira alibawangula n’abafuga. Oyo ekitiibwa kya Isirayiri alijja mu Adulamu.
קָרְחִי וָגֹזִּי עַל־בְּנֵי תַּעֲנוּגָיִךְ הַרְחִבִי קָרְחָתֵךְ כַּנֶּשֶׁר כִּי גָלוּ מִמֵּֽךְ׃ 16
Mukungubage, n’emitwe mugimwe olw’abaana bammwe be mwesiimisa; mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega, kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.

< מיכה 1 >