< ישעה 21 >

מַשָּׂא מִדְבַּר־יָם כְּסוּפוֹת בַּנֶּגֶב לַֽחֲלֹף מִמִּדְבָּר בָּא מֵאֶרֶץ נוֹרָאָֽה׃ 1
Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja: Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo, bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu eririraanye ensi etiisa.
חָזוּת קָשָׁה הֻגַּד־לִי הַבּוֹגֵד ׀ בּוֹגֵד וְהַשּׁוֹדֵד ׀ שׁוֹדֵד עֲלִי עֵילָם צוּרִי מָדַי כָּל־אַנְחָתָה הִשְׁבַּֽתִּי׃ 2
Nfunye okwolesebwa okw’entiisa: alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga. Eramu, lumba! Obumeedi zingiza! Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.
עַל־כֵּן מָלְאוּ מָתְנַי חַלְחָלָה צִירִים אֲחָזוּנִי כְּצִירֵי יֽוֹלֵדָה נַעֲוֵיתִי מִשְּׁמֹעַ נִבְהַלְתִּי מֵרְאֽוֹת׃ 3
Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa, n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala; nnyiize olw’ebyo bye mpulira, bye ndaba bimazeemu amaanyi.
תָּעָה לְבָבִי פַּלָּצוּת בִּֽעֲתָתְנִי אֵת נֶשֶׁף חִשְׁקִי שָׂם לִי לַחֲרָדָֽה׃ 4
Omutima gwange gutya, Entiisa endetera okukankana; Akasendabazaana ke nnali njayaanira, kanfukidde ekikankano.
עָרֹךְ הַשֻּׁלְחָן צָפֹה הַצָּפִית אָכוֹל שָׁתֹה קוּמוּ הַשָּׂרִים מִשְׁחוּ מָגֵֽן׃ 5
Bateekateeka olujjuliro, bayalirira ebiwempe, ne balya, ne banywa! Mugolokoke mmwe abakulembeze, musiige engabo amafuta.
כִּי כֹה אָמַר אֵלַי אֲדֹנָי לֵךְ הַעֲמֵד הַֽמְצַפֶּה אֲשֶׁר יִרְאֶה יַגִּֽיד׃ 6
Kino Mukama ky’aŋŋamba nti, “Genda ofune omukuumi akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.
וְרָאָה רֶכֶב צֶמֶד פָּֽרָשִׁים רֶכֶב חֲמוֹר רֶכֶב גָּמָל וְהִקְשִׁיב קֶשֶׁב רַב־קָֽשֶׁב׃ 7
Bw’alaba amagaali n’ebibinja by’embalaasi, n’abeebagazi ku ndogoyi oba abeebagazi ku ŋŋamira yeekuume, era yeegendereze.”
וַיִּקְרָא אַרְיֵה עַל־מִצְפֶּה ׀ אֲדֹנָי אָנֹכִי עֹמֵד תָּמִיד יוֹמָם וְעַל־מִשְׁמַרְתִּי אָנֹכִי נִצָּב כָּל־הַלֵּילֽוֹת׃ 8
Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala, buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
וְהִנֵּה־זֶה בָא רֶכֶב אִישׁ צֶמֶד פָּֽרָשִׁים וַיַּעַן וַיֹּאמֶר נָפְלָה נָֽפְלָה בָּבֶל וְכָל־פְּסִילֵי אֱלֹהֶיהָ שִׁבַּר לָאָֽרֶץ׃ 9
Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali, ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi. Era ayanukula bw’ati nti, ‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde. Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna bibetenteddwa wansi ku ttaka.’”
מְדֻשָׁתִי וּבֶן־גָּרְנִי אֲשֶׁר שָׁמַעְתִּי מֵאֵת יְהוָה צְבָאוֹת אֱלֹהֵי יִשְׂרָאֵל הִגַּדְתִּי לָכֶֽם׃ 10
Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro, mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.
מַשָּׂא דּוּמָה אֵלַי קֹרֵא מִשֵּׂעִיר שֹׁמֵר מַה־מִלַּיְלָה שֹׁמֵר מַה־מִלֵּֽיל׃ 11
Obunnabbi obukwata ku Duuma: Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti, “Omukuumi, bunaakya ddi? Omukuumi, bunaakya ddi?”
אָמַר שֹׁמֵר אָתָה בֹקֶר וְגַם־לָיְלָה אִם־תִּבְעָיוּן בְּעָיוּ שֻׁבוּ אֵתָֽיוּ׃ 12
Omukuumi ayanukula bw’ati nti, “Bulikya, era buliziba. Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze okomewo nate.”
מַשָּׂא בַּעְרָב בַּיַּעַר בַּעְרַב תָּלִינוּ אֹֽרְחוֹת דְּדָנִֽים׃ 13
Obunnabbi obukwata ku Buwalabu: Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja, abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,
לִקְרַאת צָמֵא הֵתָיוּ מָיִם יֹשְׁבֵי אֶרֶץ תֵּימָא בְּלַחְמוֹ קִדְּמוּ נֹדֵֽד׃ 14
muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.
כִּֽי־מִפְּנֵי חֲרָבוֹת נָדָדוּ מִפְּנֵי ׀ חֶרֶב נְטוּשָׁה וּמִפְּנֵי קֶשֶׁת דְּרוּכָה וּמִפְּנֵי כֹּבֶד מִלְחָמָֽה׃ 15
Badduka ekitala, badduka ekitala ekisowole, badduka omutego ogunaanuddwa, badduka n’akabi k’entalo.
כִּי־כֹה אָמַר אֲדֹנָי אֵלָי בְּעוֹד שָׁנָה כִּשְׁנֵי שָׂכִיר וְכָלָה כָּל־כְּבוֹד קֵדָֽר׃ 16
Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma.
וּשְׁאָר מִסְפַּר־קֶשֶׁת גִּבּוֹרֵי בְנֵֽי־קֵדָר יִמְעָטוּ כִּי יְהוָה אֱלֹהֵֽי־יִשְׂרָאֵל דִּבֵּֽר׃ 17
Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.

< ישעה 21 >