< ישעה 14 >

כִּי יְרַחֵם יְהוָה אֶֽת־יַעֲקֹב וּבָחַר עוֹד בְּיִשְׂרָאֵל וְהִנִּיחָם עַל־אַדְמָתָם וְנִלְוָה הַגֵּר עֲלֵיהֶם וְנִסְפְּחוּ עַל־בֵּית יַעֲקֹֽב׃ 1
Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa, addemu alonde Isirayiri abazze ku ttaka lyabwe. Ne bannamawanga balibeegattako era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
וּלְקָחוּם עַמִּים וֶהֱבִיאוּם אֶל־מְקוֹמָם וְהִֽתְנַחֲלוּם בֵּֽית־יִשְׂרָאֵל עַל אַדְמַת יְהוָה לַעֲבָדִים וְלִשְׁפָחוֹת וְהָיוּ שֹׁבִים לְשֹֽׁבֵיהֶם וְרָדוּ בְּנֹגְשֵׂיהֶֽם׃ 2
N’amawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe, n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi. Baliwamba abaali babawambye, bafuge abo abaabakijjanyanga.
וְהָיָה בְּיוֹם הָנִיחַ יְהוָה לְךָ מֵֽעָצְבְּךָ וּמֵרָגְזֶךָ וּמִן־הָעֲבֹדָה הַקָּשָׁה אֲשֶׁר עֻבַּד־בָּֽךְ׃ 3
Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa,
וְנָשָׂאתָ הַמָּשָׁל הַזֶּה עַל־מֶלֶךְ בָּבֶל וְאָמָרְתָּ אֵיךְ שָׁבַת נֹגֵשׂ שָׁבְתָה מַדְהֵבָֽה׃ 4
oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti: Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo! Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
שָׁבַר יְהוָה מַטֵּה רְשָׁעִים שֵׁבֶט מֹשְׁלִֽים׃ 5
Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi, omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.
מַכֶּה עַמִּים בְּעֶבְרָה מַכַּת בִּלְתִּי סָרָה רֹדֶה בָאַף גּוֹיִם מֻרְדָּף בְּלִי חָשָֽׂךְ׃ 6
Ogwakubanga olutata amawanga n’obusungu, ogwafugisanga amawanga ekiruyi, ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.
נָחָה שָׁקְטָה כָּל־הָאָרֶץ פָּצְחוּ רִנָּֽה׃ 7
Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe, era batandise okuyimba.
גַּם־בְּרוֹשִׁים שָׂמְחוּ לְךָ אַרְזֵי לְבָנוֹן מֵאָז שָׁכַבְתָּ לֹֽא־יַעֲלֶה הַכֹּרֵת עָלֵֽינוּ׃ 8
Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni, nagyo gikuyeeyeereza nti, “Kasookanga ogwa tebangayo ajja kututema.”
שְׁאוֹל מִתַּחַת רָגְזָה לְךָ לִקְרַאת בּוֹאֶךָ עוֹרֵר לְךָ רְפָאִים כָּל־עַתּוּדֵי אָרֶץ הֵקִים מִכִּסְאוֹתָם כֹּל מַלְכֵי גוֹיִֽם׃ (Sheol h7585) 9
Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng’ojja, gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo, bonna abaali abakulembeze b’ensi; gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe, bonna abaali bakabaka baamawanga. (Sheol h7585)
כֻּלָּם יַֽעֲנוּ וְיֹאמְרוּ אֵלֶיךָ גַּם־אַתָּה חֻלֵּיתָ כָמוֹנוּ אֵלֵינוּ נִמְשָֽׁלְתָּ׃ 10
Abo bonna balyogera ne bakugamba nti, “Naawe oweddemu amaanyi nga ffe! Naawe ofuuse nga ffe!”
הוּרַד שְׁאוֹל גְּאוֹנֶךָ הֶמְיַת נְבָלֶיךָ תַּחְתֶּיךָ יֻצַּע רִמָּה וּמְכַסֶּיךָ תּוֹלֵעָֽה׃ (Sheol h7585) 11
Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe, awamu n’amaloboozi g’ennanga zo; bakwalidde envunyu, n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko. (Sheol h7585)
אֵיךְ נָפַלְתָּ מִשָּׁמַיִם הֵילֵל בֶּן־שָׁחַר נִגְדַּעְתָּ לָאָרֶץ חוֹלֵשׁ עַל־גּוֹיִֽם׃ 12
Ng’ogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya! Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!
וְאַתָּה אָמַרְתָּ בִֽלְבָבְךָ הַשָּׁמַיִם אֶֽעֱלֶה מִמַּעַל לְכֽוֹכְבֵי־אֵל אָרִים כִּסְאִי וְאֵשֵׁב בְּהַר־מוֹעֵד בְּיַרְכְּתֵי צָפֽוֹן׃ 13
Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
אֶעֱלֶה עַל־בָּמֳתֵי עָב אֶדַּמֶּה לְעֶלְיֽוֹן׃ 14
ndyambuka okusinga ebire we bikoma, ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
אַךְ אֶל־שְׁאוֹל תּוּרָד אֶל־יַרְכְּתֵי־בֽוֹר׃ (Sheol h7585) 15
Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo y’obunnya. (Sheol h7585)
רֹאֶיךָ אֵלֶיךָ יַשְׁגִּיחוּ אֵלֶיךָ יִתְבּוֹנָנוּ הֲזֶה הָאִישׁ מַרְגִּיז הָאָרֶץ מַרְעִישׁ מַמְלָכֽוֹת׃ 16
Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga bakwewuunye nga bagamba nti, “Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi, ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!
שָׂם תֵּבֵל כַּמִּדְבָּר וְעָרָיו הָרָס אֲסִירָיו לֹא־פָתַח בָּֽיְתָה׃ 17
Eyafuula ensi okuba eddungu n’asuula ebibuga byayo, atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”
כָּל־מַלְכֵי גוֹיִם כֻּלָּם שָׁכְבוּ בְכָבוֹד אִישׁ בְּבֵיתֽוֹ׃ 18
Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa, buli omu mu ntaana ye,
וְאַתָּה הָשְׁלַכְתָּ מִֽקִּבְרְךָ כְּנֵצֶר נִתְעָב לְבוּשׁ הֲרֻגִים מְטֹעֲנֵי חָרֶב יוֹרְדֵי אֶל־אַבְנֵי־בוֹר כְּפֶגֶר מוּבָֽס׃ 19
naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa, ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala, abakka eri amayinja g’obunnya; ng’omulambo ogulinyiriddwa.
לֹֽא־תֵחַד אִתָּם בִּקְבוּרָה כִּֽי־אַרְצְךָ שִׁחַתָּ עַמְּךָ הָרָגְתָּ לֹֽא־יִקָּרֵא לְעוֹלָם זֶרַע מְרֵעִֽים׃ 20
Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo; ezzadde ly’abo abaakola ebibi teriryongerwako n’akatono.
הָכִינוּ לְבָנָיו מַטְבֵּחַ בַּעֲוֺן אֲבוֹתָם בַּל־יָקֻמוּ וְיָרְשׁוּ אָרֶץ וּמָלְאוּ פְנֵֽי־תֵבֵל עָרִֽים׃ 21
Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe, baleme okugolokoka ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.
וְקַמְתִּי עֲלֵיהֶם נְאֻם יְהוָה צְבָאוֹת וְהִכְרַתִּי לְבָבֶל שֵׁם וּשְׁאָר וְנִין וָנֶכֶד נְאֻם־יְהוָֽה׃ 22
“Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo, n’omwana n’omuzzukulu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
וְשַׂמְתִּיהָ לְמוֹרַשׁ קִפֹּד וְאַגְמֵי־מָיִם וְטֵֽאטֵאתִיהָ בְּמַטְאֲטֵא הַשְׁמֵד נְאֻם יְהוָה צְבָאֽוֹת׃ 23
“Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu, n’entobazzi era mwere n’olweyo oluzikiriza,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
נִשְׁבַּע יְהוָה צְבָאוֹת לֵאמֹר אִם־לֹא כַּאֲשֶׁר דִּמִּיתִי כֵּן הָיָתָה וְכַאֲשֶׁר יָעַצְתִּי הִיא תָקֽוּם׃ 24
Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti, “Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo era nga bwe nateesa, bwe kirinywera bwe kityo.
לִשְׁבֹּר אַשּׁוּר בְּאַרְצִי וְעַל־הָרַי אֲבוּסֶנּוּ וְסָר מֵֽעֲלֵיהֶם עֻלּוֹ וְסֻבֳּלוֹ מֵעַל שִׁכְמוֹ יָסֽוּר׃ 25
Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyirira ku nsozi zange. Ekikoligo kye kiribavaako, n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”
זֹאת הָעֵצָה הַיְּעוּצָה עַל־כָּל־הָאָרֶץ וְזֹאת הַיָּד הַנְּטוּיָה עַל־כָּל־הַגּוֹיִֽם׃ 26
Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna: era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
כִּֽי־יְהוָה צְבָאוֹת יָעָץ וּמִי יָפֵר וְיָדוֹ הַנְּטוּיָה וּֽמִי יְשִׁיבֶֽנָּה׃ 27
Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula? Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?
בִּשְׁנַת־מוֹת הַמֶּלֶךְ אָחָז הָיָה הַמַּשָּׂא הַזֶּֽה׃ 28
Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.
אַֽל־תִּשְׂמְחִי פְלֶשֶׁת כֻּלֵּךְ כִּי נִשְׁבַּר שֵׁבֶט מַכֵּךְ כִּֽי־מִשֹּׁרֶשׁ נָחָשׁ יֵצֵא צֶפַע וּפִרְיוֹ שָׂרָף מְעוֹפֵֽף׃ 29
Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna, kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese, ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera, n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
וְרָעוּ בְּכוֹרֵי דַלִּים וְאֶבְיוֹנִים לָבֶטַח יִרְבָּצוּ וְהֵמַתִּי בָֽרָעָב שָׁרְשֵׁךְ וּשְׁאֵרִיתֵךְ יַהֲרֹֽג׃ 30
Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya, n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo naye ekikolo kyo ndikittisa enjala ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.
הֵילִילִֽי שַׁעַר זַֽעֲקִי־עִיר נָמוֹג פְּלֶשֶׁת כֻּלֵּךְ כִּי מִצָּפוֹן עָשָׁן בָּא וְאֵין בּוֹדֵד בְּמוֹעָדָֽיו׃ 31
Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga, osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna! Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka, eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
וּמַֽה־יַּעֲנֶה מַלְאֲכֵי־גוֹי כִּי יְהוָה יִסַּד צִיּוֹן וּבָהּ יֶחֱסוּ עֲנִיֵּי עַמּֽוֹ׃ 32
Kale kiki kye banaddamu ababaka b’eggwanga eryo? “Mukama yassaawo Sayuuni, ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”

< ישעה 14 >