< עזרא 9 >
וּכְכַלּוֹת אֵלֶּה נִגְּשׁוּ אֵלַי הַשָּׂרִים לֵאמֹר לֹֽא־נִבְדְּלוּ הָעָם יִשְׂרָאֵל וְהַכֹּהֲנִים וְהַלְוִיִּם מֵעַמֵּי הָאֲרָצוֹת כְּתוֹעֲבֹֽתֵיהֶם לַכְּנַעֲנִי הַחִתִּי הַפְּרִזִּי הַיְבוּסִי הָֽעַמֹּנִי הַמֹּאָבִי הַמִּצְרִי וְהָאֱמֹרִֽי׃ | 1 |
Oluvannyuma lw’ebintu ebyo okukolebwa, abakulembeze ne bajja gye ndi ne boogera nti, “Abantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, tebeeyawudde ku mawanga agabaliraanye n’ebikolwa byabwe eby’emizizo. Tebeeyawudde ku Bakanani, ne ku Bakiiti ne ku Baperizi ne ku Bayebusi ne ku Bamoni ne ku Bamowaabu ne ku Bamisiri ne ku Bamoli.
כִּֽי־נָשְׂאוּ מִבְּנֹֽתֵיהֶם לָהֶם וְלִבְנֵיהֶם וְהִתְעָֽרְבוּ זֶרַע הַקֹּדֶשׁ בְּעַמֵּי הָאֲרָצוֹת וְיַד הַשָּׂרִים וְהַסְּגָנִים הָֽיְתָה בַּמַּעַל הַזֶּה רִאשׁוֹנָֽה׃ | 2 |
Bawasizza abamu ku bawala baabwe, n’abawala ne bafumbirwa abamu ku batabani baabwe, bwe kityo eggwanga ettukuvu ne lyetabula n’amawanga agabeetoolodde. Ku nsonga eyo abakulembeze n’abakungu, be basinze okwonoona.”
וּכְשָׁמְעִי אֶת־הַדָּבָר הַזֶּה קָרַעְתִּי אֶת־בִּגְדִי וּמְעִילִי וָאֶמְרְטָה מִשְּׂעַר רֹאשִׁי וּזְקָנִי וָאֵשְׁבָה מְשׁוֹמֵֽם׃ | 3 |
Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne njuza ekkanzu yange n’omunagiro gwange, ne nkunyuula enviiri ku mutwe gwange ne mu kirevu kyange ne ntuula wansi nga nnakuwadde.
וְאֵלַי יֵאָסְפוּ כֹּל חָרֵד בְּדִבְרֵי אֱלֹהֵֽי־יִשְׂרָאֵל עַל מַעַל הַגּוֹלָה וַאֲנִי יֹשֵׁב מְשׁוֹמֵם עַד לְמִנְחַת הָעָֽרֶב׃ | 4 |
Bonna abatya ebigambo bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we ndi, olw’obutali bwesigwa obw’abaawaŋŋangusibwa. Ne ntuula wansi nga nnakuwadde okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi bwe kyatuuka.
וּבְמִנְחַת הָעֶרֶב קַמְתִּי מִתַּֽעֲנִיתִי וּבְקָרְעִי בִגְדִי וּמְעִילִי וָֽאֶכְרְעָה עַל־בִּרְכַּי וָאֶפְרְשָׂה כַפַּי אֶל־יְהוָה אֱלֹהָֽי׃ | 5 |
Awo mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi ne ngolokoka okuva we nnali ntudde, n’ekkanzu yange enjulifu n’omunagiro gwange omuyulifu, ne nfukamira ne ngolola emikono gyange eri Mukama Katonda wange,
וָאֹמְרָה אֱלֹהַי בֹּשְׁתִּי וְנִכְלַמְתִּי לְהָרִים אֱלֹהַי פָּנַי אֵלֶיךָ כִּי עֲוֺנֹתֵינוּ רָבוּ לְמַעְלָה רֹּאשׁ וְאַשְׁמָתֵנוּ גָדְלָה עַד לַשָּׁמָֽיִם׃ | 6 |
ne nsaba nti: “Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, era sisobola kuyimusa maaso gange eri gwe Katonda wange, kubanga obutali butuukirivu bwaffe busukiridde emitwe gyaffe, n’omusango gwaffe gutuuse mu ggulu.
מִימֵי אֲבֹתֵינוּ אֲנַחְנוּ בְּאַשְׁמָה גְדֹלָה עַד הַיּוֹם הַזֶּה וּבַעֲוֺנֹתֵינוּ נִתַּנּוּ אֲנַחְנוּ מְלָכֵינוּ כֹהֲנֵינוּ בְּיַד ׀ מַלְכֵי הָאֲרָצוֹת בַּחֶרֶב בַּשְּׁבִי וּבַבִּזָּה וּבְבֹשֶׁת פָּנִים כְּהַיּוֹם הַזֶּֽה׃ | 7 |
Okuva mu biro bya bajjajjaffe n’okutuusa leero, omusango gugenze gweyongera; era olw’obutali butuukirivu bwaffe, bakabaka baffe, ne bakabona baffe baweereddwayo mu mukono gwa bakabaka ab’ensi, n’eri ekitala, n’eri obusibe, n’eri obunyazi, n’eri obuswavu obungi, nga bwe kiri mu nnaku zino.
וְעַתָּה כִּמְעַט־רֶגַע הָיְתָה תְחִנָּה מֵאֵת ׀ יְהוָה אֱלֹהֵינוּ לְהַשְׁאִיר לָנוּ פְּלֵיטָה וְלָתֶת־לָנוּ יָתֵד בִּמְקוֹם קָדְשׁוֹ לְהָאִיר עֵינֵינוּ אֱלֹהֵינוּ וּלְתִתֵּנוּ מִֽחְיָה מְעַט בְּעַבְדֻתֵֽנוּ׃ | 8 |
“Naye kaakano, akaseera katono, Mukama Katonda waffe atulaze ekisa n’atulekawo ffe abatono, n’atuwa ekifo ekisooka era ekinywevu mu watukuvu we, Katonda waffe n’amulisa amaaso gaffe, n’atuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe.
כִּֽי־עֲבָדִים אֲנַחְנוּ וּבְעַבְדֻתֵנוּ לֹא עֲזָבָנוּ אֱלֹהֵינוּ וֽ͏ַיַּט־עָלֵינוּ חֶסֶד לִפְנֵי מַלְכֵי פָרַס לָֽתֶת־לָנוּ מִֽחְיָה לְרוֹמֵם אֶת־בֵּית אֱלֹהֵינוּ וּלְהַעֲמִיד אֶת־חָרְבֹתָיו וְלָֽתֶת־לָנוּ גָדֵר בִּֽיהוּדָה וּבִירוּשָׁלָֽ͏ִם׃ | 9 |
Newaakubadde nga tuli baddu, Katonda waffe tatulekulidde mu busibe bwaffe, naye atulaze okusaasirwa mu maaso ga bakabaka b’e Buperusi. Atuwadde obulamu obuggya okuzimba ennyumba ya Katonda waffe, n’okuddaabiriza ebyo ebyayonooneka, era atutaddeko Bbugwe okutwetooloola okutukuuma mu Yuda ne mu Yerusaalemi.
וְעַתָּה מַה־נֹּאמַר אֱלֹהֵינוּ אֽ͏ַחֲרֵי־זֹאת כִּי עָזַבְנוּ מִצְוֺתֶֽיךָ׃ | 10 |
“Kaakano Katonda waffe tunaayogera ki oluvannyuma lw’ebyo? Twaleka amateeka go
אֲשֶׁר צִוִּיתָ בְּיַד עֲבָדֶיךָ הַנְּבִיאִים לֵאמֹר הָאָרֶץ אֲשֶׁר אַתֶּם בָּאִים לְרִשְׁתָּהּ אֶרֶץ נִדָּה הִיא בְּנִדַּת עַמֵּי הָאֲרָצוֹת בְּתוֹעֲבֹֽתֵיהֶם אֲשֶׁר מִלְאוּהָ מִפֶּה אֶל־פֶּה בְּטֻמְאָתָֽם׃ | 11 |
ge watuwa ng’oyita mu baddu bo bannabbi, bwe wayogera nti, ‘Ensi gye mugenda okulya, nsi ejjudde obutali bulongoofu olw’abantu baamu, era bagijjuzizza ebikolwa eby’obugwagwa enjuuyi zonna.
וְעַתָּה בְּֽנוֹתֵיכֶם אַל־תִּתְּנוּ לִבְנֵיהֶם וּבְנֹֽתֵיהֶם אַל־תִּשְׂאוּ לִבְנֵיכֶם וְלֹֽא־תִדְרְשׁוּ שְׁלֹמָם וְטוֹבָתָם עַד־עוֹלָם לְמַעַן תֶּחֶזְקוּ וַאֲכַלְתֶּם אֶת־טוּב הָאָרֶץ וְהוֹרַשְׁתֶּם לִבְנֵיכֶם עַד־עוֹלָֽם׃ | 12 |
Noolwekyo temuwaayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe newaakubadde batabani bammwe okuwasa bawala baabwe. Temwongeranga ku bulungi bwabwe newaakubadde obugagga bwabwe, mulyoke mube n’amaanyi mulye ebirungi by’ensi, ate era mubirekere n’abaana bammwe okuba omugabo ogw’emirembe n’emirembe.’
וְאַֽחֲרֵי כָּל־הַבָּא עָלֵינוּ בְּמַעֲשֵׂינוּ הָרָעִים וּבְאַשְׁמָתֵנוּ הַגְּדֹלָה כִּי ׀ אַתָּה אֱלֹהֵינוּ חָשַׂכְתָּֽ לְמַטָּה מֵֽעֲוֺנֵנוּ וְנָתַתָּה לָּנוּ פְּלֵיטָה כָּזֹֽאת׃ | 13 |
“Bino byonna bitutuuseeko olw’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu n’olw’omusango omunene gwe tulina, ate nga Katonda waffe totubonerezza ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye otuleseewo nga bwe tuli kaakano.
הֲנָשׁוּב לְהָפֵר מִצְוֺתֶיךָ וּלְהִתְחַתֵּן בְּעַמֵּי הַתֹּעֵבוֹת הָאֵלֶּה הֲלוֹא תֶֽאֱנַף־בָּנוּ עַד־כַּלֵּה לְאֵין שְׁאֵרִית וּפְלֵיטָֽה׃ | 14 |
Tunaayinza nate okumenya ebiragiro byo ne tuwasa mu mawanga ago agakola ebitasaana? Tolitunyiigira nnyo n’okusingawo n’otuzikiriza obutalekaawo muntu yenna?
יְהוָה אֱלֹהֵי יִשְׂרָאֵל צַדִּיק אַתָּה כִּֽי־נִשְׁאַרְנוּ פְלֵיטָה כְּהַיּוֹם הַזֶּה הִנְנוּ לְפָנֶיךָ בְּאַשְׁמָתֵינוּ כִּי אֵין לַעֲמוֹד לְפָנֶיךָ עַל־זֹֽאת׃ | 15 |
Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri oli mutuukirivu, era otuleseewo ffe ekitundu kino leero. Laba tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango, newaakubadde nga tewali eyandisobodde okuyimirira mu maaso go.”