< יחזקאל 19 >
וְאַתָּה שָׂא קִינָה אֶל־נְשִׂיאֵי יִשְׂרָאֵֽל׃ | 1 |
Kungubagira abalangira ba Isirayiri,
וְאָמַרְתָּ מָה אִמְּךָ לְבִיָּא בֵּין אֲרָיוֹת רָבָצָה בְּתוֹךְ כְּפִרִים רִבְּתָה גוּרֶֽיהָ׃ | 2 |
oyogere nti, “‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi, mu mpologoma! Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento, n’erabirira abaana baayo.
וַתַּעַל אֶחָד מִגֻּרֶיהָ כְּפִיר הָיָה וַיִּלְמַד לִטְרָף־טֶרֶף אָדָם אָכָֽל׃ | 3 |
N’ekuza emu ku baana baayo n’efuuka empologoma ey’amaanyi, n’eyiga okuyigga ebisolo, n’okulya abantu.
וַיִּשְׁמְעוּ אֵלָיו גּוֹיִם בְּשַׁחְתָּם נִתְפָּשׂ וַיְבִאֻהוּ בַֽחַחִים אֶל־אֶרֶץ מִצְרָֽיִם׃ | 4 |
Amawanga gaawulira ebimufaako, n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye, ne bamusibamu amalobo ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.
וַתֵּרֶא כִּי נֽוֹחֲלָה אָבְדָה תִּקְוָתָהּ וַתִּקַּח אֶחָד מִגֻּרֶיהָ כְּפִיר שָׂמָֽתְהוּ׃ | 5 |
“‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde, ne bye yali alindirira nga biyise, n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala, n’egifuula empologoma ey’amaanyi.
וַיִּתְהַלֵּךְ בְּתוֹךְ־אֲרָיוֹת כְּפִיר הָיָה וַיִּלְמַד לִטְרָף־טֶרֶף אָדָם אָכָֽל׃ | 6 |
N’etambulatambula mu mpologoma, kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi, era n’eyiga okuyigga ensolo, n’okulya abantu.
וַיֵּדַע אַלְמְנוֹתָיו וְעָרֵיהֶם הֶחֱרִיב וַתֵּשַׁם אֶרֶץ וּמְלֹאָהּ מִקּוֹל שַׁאֲגָתֽוֹ׃ | 7 |
N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi, n’ezikiriza n’ebibuga byabwe; ensi n’abo bonna abaagibeerangamu, ne batya olw’okuwuluguma kwayo.
וַיִּתְּנוּ עָלָיו גּוֹיִם סָבִיב מִמְּדִינוֹת וַֽיִּפְרְשׂוּ עָלָיו רִשְׁתָּם בְּשַׁחְתָּם נִתְפָּֽשׂ׃ | 8 |
Awo amawanga gonna ne gagirumba, okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo, ne bayanjuluza ekitimba kyabwe, ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
וַֽיִּתְּנֻהוּ בַסּוּגַר בַּֽחַחִים וַיְבִאֻהוּ אֶל־מֶלֶךְ בָּבֶל יְבִאֻהוּ בַּמְּצֹדוֹת לְמַעַן לֹא־יִשָּׁמַע קוֹלוֹ עוֹד אֶל־הָרֵי יִשְׂרָאֵֽל׃ | 9 |
Ne bakozesa amalobo okugisikayo, ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; n’eteekebwa mu kkomera, n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.
אִמְּךָ כַגֶּפֶן בְּדָמְךָ עַל־מַיִם שְׁתוּלָה פֹּֽרִיָּה וַֽעֲנֵפָה הָיְתָה מִמַּיִם רַבִּֽים׃ | 10 |
“‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro ogwasimbibwa okumpi n’amazzi; ne gubala ebibala ne bijjula amatabi, kubanga waaliwo amazzi mangi.
וַיִּֽהְיוּ־לָהּ מַטּוֹת עֹז אֶל־שִׁבְטֵי מֹֽשְׁלִים וַתִּגְבַּהּ קֽוֹמָתוֹ עַל־בֵּין עֲבֹתִים וַיֵּרָא בְגָבְהוֹ בְּרֹב דָּלִיֹּתָֽיו׃ | 11 |
Amatabi gaagwo gaali magumu, era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka. Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu okusinga emiti emirala, ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo, n’olw’amatabi gaagwo amangi.
וַתֻּתַּשׁ בְּחֵמָה לָאָרֶץ הֻשְׁלָכָה וְרוּחַ הַקָּדִים הוֹבִישׁ פִּרְיָהּ הִתְפָּרְקוּ וְיָבֵשׁוּ מַטֵּה עֻזָּהּ אֵשׁ אֲכָלָֽתְהוּ׃ | 12 |
Naye gwasigulibwa n’ekiruyi ne gusuulibwa wansi; embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza, ebibala byagwo ne biggwaako, n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala, era ne gwokebwa omuliro.
וְעַתָּה שְׁתוּלָה בַמִּדְבָּר בְּאֶרֶץ צִיָּה וְצָמָֽא׃ | 13 |
Kaakano gusimbiddwa mu ddungu, awakalu awatali mazzi.
וַתֵּצֵא אֵשׁ מִמַּטֵּה בַדֶּיהָ פִּרְיָהּ אָכָלָה וְלֹא־הָיָה בָהּ מַטֵּה־עֹז שֵׁבֶט לִמְשׁוֹל קִינָה הִיא וַתְּהִי לְקִינָֽה׃ | 14 |
Omuliro gwava ku limu ku matabi, ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo. Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’ Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”