< דברים 33 >
וְזֹאת הַבְּרָכָה אֲשֶׁר בֵּרַךְ מֹשֶׁה אִישׁ הָאֱלֹהִים אֶת־בְּנֵי יִשְׂרָאֵל לִפְנֵי מוֹתֽוֹ׃ | 1 |
Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa.
וַיֹּאמַר יְהוָה מִסִּינַי בָּא וְזָרַח מִשֵּׂעִיר לָמוֹ הוֹפִיעַ מֵהַר פָּארָן וְאָתָה מֵרִבְבֹת קֹדֶשׁ מִֽימִינוֹ אשדת אֵשׁ דָּת לָֽמוֹ׃ | 2 |
Yagamba nti, “Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi n’atutuukako ng’ava ku Seyiri; yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani. Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
אַף חֹבֵב עַמִּים כָּל־קְדֹשָׁיו בְּיָדֶךָ וְהֵם תֻּכּוּ לְרַגְלֶךָ יִשָּׂא מִדַּבְּרֹתֶֽיךָ׃ | 3 |
Mazima gw’oyagala abantu, abatukuvu bonna bali mu mikono gyo. Bavuunama wansi ku bigere byo ne bawulira ebiragiro by’obawa.
תּוֹרָה צִוָּה־לָנוּ מֹשֶׁה מוֹרָשָׁה קְהִלַּת יַעֲקֹֽב׃ | 4 |
Ge mateeka Musa ge yatuwa ng’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo.
וַיְהִי בִישֻׁרוּן מֶלֶךְ בְּהִתְאַסֵּף רָאשֵׁי עָם יַחַד שִׁבְטֵי יִשְׂרָאֵֽל׃ | 5 |
Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.
יְחִי רְאוּבֵן וְאַל־יָמֹת וִיהִי מְתָיו מִסְפָּֽר׃ | 6 |
“Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo n’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.”
וְזֹאת לִֽיהוּדָה וַיֹּאמַר שְׁמַע יְהוָה קוֹל יְהוּדָה וְאֶל־עַמּוֹ תְּבִיאֶנּוּ יָדָיו רָב לוֹ וְעֵזֶר מִצָּרָיו תִּהְיֶֽה׃ | 7 |
Kino kye yayogera ku Yuda: “Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda; omuleete eri abantu be. Yeerwaneko n’emikono gye. Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”
וּלְלֵוִי אָמַר תֻּמֶּיךָ וְאוּרֶיךָ לְאִישׁ חֲסִידֶךָ אֲשֶׁר נִסִּיתוֹ בְּמַסָּה תְּרִיבֵהוּ עַל־מֵי מְרִיבָֽה׃ | 8 |
Bino bye yayogera ku Leevi: “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo. Wamukebera e Masa n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.
הָאֹמֵר לְאָבִיו וּלְאִמּוֹ לֹא רְאִיתִיו וְאֶת־אֶחָיו לֹא הִכִּיר וְאֶת־בנו בָּנָיו לֹא יָדָע כִּי שָֽׁמְרוּ אִמְרָתֶךָ וּבְרִֽיתְךָ יִנְצֹֽרוּ׃ | 9 |
Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti, ‘Abo sibafaako.’ Baganda be teyabategeeranga wadde okusembeza abaana be; baalabiriranga ekigambo kyo ne bakuumanga endagaano yo.
יוֹרוּ מִשְׁפָּטֶיךָ לְיַעֲקֹב וְתוֹרָתְךָ לְיִשְׂרָאֵל יָשִׂימוּ קְטוֹרָה בְּאַפֶּךָ וְכָלִיל עַֽל־מִזְבְּחֶֽךָ׃ | 10 |
Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo ne Isirayiri amateeka go. Banaanyookezanga obubaane mu maaso go, n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.
בָּרֵךְ יְהוָה חֵילוֹ וּפֹעַל יָדָיו תִּרְצֶה מְחַץ מָתְנַיִם קָמָיו וּמְשַׂנְאָיו מִן־יְקוּמֽוּן׃ | 11 |
Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola, era okkirize emirimu gy’emikono gye. Okubirenga ddala abo abamugolokokerako okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”
לְבִנְיָמִן אָמַר יְדִיד יְהֹוָה יִשְׁכֹּן לָבֶטַח עָלָיו חֹפֵף עָלָיו כָּל־הַיּוֹם וּבֵין כְּתֵיפָיו שָׁכֵֽן׃ | 12 |
Bye yayogera ku Benyamini: “Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu, Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo, omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”
וּלְיוֹסֵף אָמַר מְבֹרֶכֶת יְהֹוָה אַרְצוֹ מִמֶּגֶד שָׁמַיִם מִטָּל וּמִתְּהוֹם רֹבֶצֶת תָּֽחַת׃ | 13 |
Yayogera bw’ati ku Yusufu: “Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa, n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,
וּמִמֶּגֶד תְּבוּאֹת שָׁמֶשׁ וּמִמֶּגֶד גֶּרֶשׁ יְרָחִֽים׃ | 14 |
n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana, n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;
וּמֵרֹאשׁ הַרְרֵי־קֶדֶם וּמִמֶּגֶד גִּבְעוֹת עוֹלָֽם׃ | 15 |
n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda, n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna;
וּמִמֶּגֶד אֶרֶץ וּמְלֹאָהּ וּרְצוֹן שֹׁכְנִי סְנֶה תָּבוֹאתָה לְרֹאשׁ יוֹסֵף וּלְקָדְקֹד נְזִיר אֶחָֽיו׃ | 16 |
n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo, n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka. Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu, mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be.
בְּכוֹר שׁוֹרוֹ הָדָר לוֹ וְקַרְנֵי רְאֵם קַרְנָיו בָּהֶם עַמִּים יְנַגַּח יַחְדָּו אַפְסֵי־אָרֶץ וְהֵם רִבְבוֹת אֶפְרַיִם וְהֵם אַלְפֵי מְנַשֶּֽׁה׃ | 17 |
Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu; anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza, n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi. Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu nga ze nkumi za Manase.”
וְלִזְבוּלֻן אָמַר שְׂמַח זְבוּלֻן בְּצֵאתֶךָ וְיִשָּׂשכָר בְּאֹהָלֶֽיךָ׃ | 18 |
Yayogera bw’ati ku Zebbulooni: “Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga; ne Isakaali ng’ali mu weema zo.
עַמִּים הַר־יִקְרָאוּ שָׁם יִזְבְּחוּ זִבְחֵי־צֶדֶק כִּי שֶׁפַע יַמִּים יִינָקוּ וּשְׂפוּנֵי טְמוּנֵי חֽוֹל׃ | 19 |
Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi ne baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu, banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja, nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.”
וּלְגָד אָמַר בָּרוּךְ מַרְחִיב גָּד כְּלָבִיא שָׁכֵן וְטָרַף זְרוֹעַ אַף־קָדְקֹֽד׃ | 20 |
Yayogera bw’ati ku Gaadi: “Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi, Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma ng’ayuza omukono n’omutwe.
וַיַּרְא רֵאשִׁית לוֹ כִּי־שָׁם חֶלְקַת מְחֹקֵק סָפוּן וַיֵּתֵא רָאשֵׁי עָם צִדְקַת יְהוָה עָשָׂה וּמִשְׁפָּטָיו עִם־יִשְׂרָאֵֽל׃ | 21 |
Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi, omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa. Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana ye yabasalira emisango gya Mukama, n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”
וּלְדָן אָמַר דָּן גּוּר אַרְיֵה יְזַנֵּק מִן־הַבָּשָֽׁן׃ | 22 |
Yayogera bw’ati ku Ddaani: “Ddaani mwana gwa mpologoma, ogubuuka nga guva mu Basani.”
וּלְנַפְתָּלִי אָמַר נַפְתָּלִי שְׂבַע רָצוֹן וּמָלֵא בִּרְכַּת יְהוָה יָם וְדָרוֹם יְרָֽשָׁה׃ | 23 |
Yayogera bw’ati ku Nafutaali: “Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda era ng’ojjudde emikisa gye, onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”
וּלְאָשֵׁר אָמַר בָּרוּךְ מִבָּנִים אָשֵׁר יְהִי רְצוּי אֶחָיו וְטֹבֵל בַּשֶּׁמֶן רַגְלֽוֹ׃ | 24 |
Yayogera bw’ati ku Aseri: “Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri, ku baganda be gwe babanga basinga okwagala era emizabbibu gigimuke nnyo mu ttaka lye.
בַּרְזֶל וּנְחֹשֶׁת מִנְעָלֶיךָ וּכְיָמֶיךָ דָּבְאֶֽךָ׃ | 25 |
Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.
אֵין כָּאֵל יְשֻׁרוּן רֹכֵב שָׁמַיִם בְעֶזְרֶךָ וּבְגַאֲוָתוֹ שְׁחָקִֽים׃ | 26 |
“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba ne ku bire mu kitiibwa kye.
מְעֹנָה אֱלֹהֵי קֶדֶם וּמִתַּחַת זְרֹעֹת עוֹלָם וַיְגָרֶשׁ מִפָּנֶיךָ אוֹיֵב וַיֹּאמֶר הַשְׁמֵֽד׃ | 27 |
Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
וַיִּשְׁכֹּן יִשְׂרָאֵל בֶּטַח בָּדָד עֵין יַעֲקֹב אֶל־אֶרֶץ דָּגָן וְתִירוֹשׁ אַף־שָׁמָיו יַֽעַרְפוּ טָֽל׃ | 28 |
Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka, ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu, mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini, eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.
אַשְׁרֶיךָ יִשְׂרָאֵל מִי כָמוֹךָ עַם נוֹשַׁע בַּֽיהוָה מָגֵן עֶזְרֶךָ וַאֲשֶׁר־חֶרֶב גַּאֲוָתֶךָ וְיִכָּֽחֲשׁוּ אֹיְבֶיךָ לָךְ וְאַתָּה עַל־בָּמוֹתֵימוֹ תִדְרֹֽךְ׃ | 29 |
Nga weesiimye, Ayi Isirayiri! Ani akufaanana, ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola? Ye ngabo yo era omubeezi wo, era kye kitala kyo ekisinga byonna. Abalabe bo banaakuvuunamiranga, era onoobalinnyiriranga.”