< דברים 28 >

וְהָיָה אִם־שָׁמוֹעַ תִּשְׁמַּע בְּקוֹל יְהוָה אֱלֹהֶיךָ לִשְׁמֹר לַעֲשׂוֹת אֶת־כָּל־מִצְוֺתָיו אֲשֶׁר אָנֹכִי מְצַוְּךָ הַיּוֹם וּנְתָנְךָ יְהוָה אֱלֹהֶיךָ עֶלְיוֹן עַל כָּל־גּוֹיֵי הָאָֽרֶץ׃ 1
Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi.
וּבָאוּ עָלֶיךָ כָּל־הַבְּרָכוֹת הָאֵלֶּה וְהִשִּׂיגֻךָ כִּי תִשְׁמַע בְּקוֹל יְהוָה אֱלֹהֶֽיךָ׃ 2
Emikisa gino gyonna onoogifunanga n’obeeranga nagyo, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’omugonderanga:
בָּרוּךְ אַתָּה בָּעִיר וּבָרוּךְ אַתָּה בַּשָּׂדֶֽה׃ 3
Onooweebwanga omukisa bw’onoobeeranga mu kibuga ne bw’onoobeeranga mu kyalo.
בָּרוּךְ פְּרִֽי־בִטְנְךָ וּפְרִי אַדְמָתְךָ וּפְרִי בְהֶמְתֶּךָ שְׁגַר אֲלָפֶיךָ וְעַשְׁתְּרוֹת צֹאנֶֽךָ׃ 4
Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo.
בָּרוּךְ טַנְאֲךָ וּמִשְׁאַרְתֶּֽךָ׃ 5
Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyizanga, n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga nabyo binaabanga n’omukisa.
בָּרוּךְ אַתָּה בְּבֹאֶךָ וּבָרוּךְ אַתָּה בְּצֵאתֶֽךָ׃ 6
Onoobanga n’omukisa ng’oyingira era onoobanga n’omukisa ng’ofuluma.
יִתֵּן יְהוָה אֶת־אֹיְבֶיךָ הַקָּמִים עָלֶיךָ נִגָּפִים לְפָנֶיךָ בְּדֶרֶךְ אֶחָד יֵצְאוּ אֵלֶיךָ וּבְשִׁבְעָה דְרָכִים יָנוּסוּ לְפָנֶֽיךָ׃ 7
Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.
יְצַו יְהוָה אִתְּךָ אֶת־הַבְּרָכָה בַּאֲסָמֶיךָ וּבְכֹל מִשְׁלַח יָדֶךָ וּבֵרַכְךָ בָּאָרֶץ אֲשֶׁר־יְהוָה אֱלֹהֶיךָ נֹתֵן לָֽךְ׃ 8
Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa.
יְקֽ͏ִימְךָ יְהוָה לוֹ לְעַם קָדוֹשׁ כַּאֲשֶׁר נִֽשְׁבַּֽע־לָךְ כִּי תִשְׁמֹר אֶת־מִצְוֺת יְהוָה אֱלֹהֶיךָ וְהָלַכְתָּ בִּדְרָכָֽיו׃ 9
Mukama agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza n’ekirayiro, bw’onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge.
וְרָאוּ כָּל־עַמֵּי הָאָרֶץ כִּי שֵׁם יְהוָה נִקְרָא עָלֶיךָ וְיָֽרְאוּ מִמֶּֽךָּ׃ 10
Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga.
וְהוֹתֽ͏ִרְךָ יְהוָה לְטוֹבָה בִּפְרִי בִטְנְךָ וּבִפְרִי בְהַמְתְּךָ וּבִפְרִי אַדְמָתֶךָ עַל הָאֲדָמָה אֲשֶׁר נִשְׁבַּע יְהוָה לַאֲבֹתֶיךָ לָתֶת לָֽךְ׃ 11
Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.
יִפְתַּח יְהוָה ׀ לְךָ אֶת־אוֹצָרוֹ הַטּוֹב אֶת־הַשָּׁמַיִם לָתֵת מְטַֽר־אַרְצְךָ בְּעִתּוֹ וּלְבָרֵךְ אֵת כָּל־מַעֲשֵׂה יָדֶךָ וְהִלְוִיתָ גּוֹיִם רַבִּים וְאַתָּה לֹא תִלְוֶֽה׃ 12
Mukama alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono.
וּנְתֽ͏ָנְךָ יְהוָה לְרֹאשׁ וְלֹא לְזָנָב וְהָיִיתָ רַק לְמַעְלָה וְלֹא תִהְיֶה לְמָטָּה כִּֽי־תִשְׁמַע אֶל־מִצְוֺת ׀ יְהוָה אֱלֹהֶיךָ אֲשֶׁר אָנֹכִי מְצַוְּךָ הַיּוֹם לִשְׁמֹר וְלַעֲשֽׂוֹת׃ 13
Mukama anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkutegeeza leero, n’obigobereranga n’obwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga.
וְלֹא תָסוּר מִכָּל־הַדְּבָרִים אֲשֶׁר אָנֹכִי מְצַוֶּה אֶתְכֶם הַיּוֹם יָמִין וּשְׂמֹאול לָלֶכֶת אַחֲרֵי אֱלֹהִים אֲחֵרִים לְעָבְדָֽם׃ 14
Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga.
וְהָיָה אִם־לֹא תִשְׁמַע בְּקוֹל יְהוָה אֱלֹהֶיךָ לִשְׁמֹר לַעֲשׂוֹת אֶת־כָּל־מִצְוֺתָיו וְחֻקֹּתָיו אֲשֶׁר אָנֹכִי מְצַוְּךָ הַיּוֹם וּבָאוּ עָלֶיךָ כָּל־הַקְּלָלוֹת הָאֵלֶּה וְהִשִּׂיגֽוּךָ׃ 15
Awo olunaatuukanga bw’otoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:
אָרוּר אַתָּה בָּעִיר וְאָרוּר אַתָּה בַּשָּׂדֶֽה׃ 16
Onookolimirwanga mu kibuga n’okolimirwanga ne mu kyalo.
אָרוּר טַנְאֲךָ וּמִשְׁאַרְתֶּֽךָ׃ 17
Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyirizanga n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga binaakolimirwanga.
אָרוּר פְּרִֽי־בִטְנְךָ וּפְרִי אַדְמָתֶךָ שְׁגַר אֲלָפֶיךָ וְעַשְׁתְּרוֹת צֹאנֶֽךָ׃ 18
Abaana b’enda yo banaakolimirwanga, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ennyana z’amagana go, n’obwana bw’ebisibo byo byonna binaakolimirwanga.
אָרוּר אַתָּה בְּבֹאֶךָ וְאָרוּר אַתָּה בְּצֵאתֶֽךָ׃ 19
Onookolimirwanga ng’oyingira era onookolimirwanga ng’ofuluma.
יְשַׁלַּח יְהוָה ׀ בְּךָ אֶת־הַמְּאֵרָה אֶת־הַמְּהוּמָה וְאֶת־הַמִּגְעֶרֶת בְּכָל־מִשְׁלַח יָדְךָ אֲשֶׁר תַּעֲשֶׂה עַד הִשָּֽׁמֶדְךָ וְעַד־אֲבָדְךָ מַהֵר מִפְּנֵי רֹעַ מֽ͏ַעֲלָלֶיךָ אֲשֶׁר עֲזַבְתָּֽנִי׃ 20
Mukama anaakusindikiranga ebikolimo, n’okutabukatabuka, n’okunenyezebwa mu buli kintu kyonna ky’onoogezangako okukola, okutuusa lw’olizikirizibwa n’osaanawo mangu nnyo olw’ebikolwa byo ebibi, olwokubanga onoobanga omusenguse.
יַדְבֵּק יְהוָה בְּךָ אֶת־הַדָּבֶר עַד כַּלֹּתוֹ אֹֽתְךָ מֵעַל הֽ͏ָאֲדָמָה אֲשֶׁר־אַתָּה בָא־שָׁמָּה לְרִשְׁתָּֽהּ׃ 21
Mukama alikulwaza olumbe olutawona olw’olukonvuba, okutuusa lwe lulikumalawo mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogirye.
יַכְּכָה יְהוָה בַּשַּׁחֶפֶת וּבַקַּדַּחַת וּבַדַּלֶּקֶת וּבַֽחַרְחֻר וּבַחֶרֶב וּבַשִּׁדָּפוֹן וּבַיֵּרָקוֹן וּרְדָפוּךָ עַד אָבְדֶֽךָ׃ 22
Mukama alikulwaza akafuba, n’omusujja n’okubugujja. Era alikusindikira ebbugumu eryokya ennyo, n’ekyeya, n’ekitala, n’okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw’olizikirira.
וְהָיוּ שָׁמֶיךָ אֲשֶׁר עַל־רֹאשְׁךָ נְחֹשֶׁת וְהָאָרֶץ אֲשֶׁר־תַּחְתֶּיךָ בַּרְזֶֽל׃ 23
Eggulu waggulu w’omutwe gwo liribeera ng’ekikomo, n’ettaka wansi wo liriba ng’ekyuma.
יִתֵּן יְהוָה אֶת־מְטַר אַרְצְךָ אָבָק וְעָפָר מִן־הַשָּׁמַיִם יֵרֵד עָלֶיךָ עַד הִשָּׁמְדָֽךְ׃ 24
Mukama alifuula enkuba y’omu nsi yo olufufugge, n’enfuufu yokka y’eneekuyiikiranga okuva waggulu mu bire, okutuusa lw’olizikirizibwa.
יִתֶּנְךָ יְהוָה ׀ נִגָּף לִפְנֵי אֹיְבֶיךָ בְּדֶרֶךְ אֶחָד תֵּצֵא אֵלָיו וּבְשִׁבְעָה דְרָכִים תָּנוּס לְפָנָיו וְהָיִיתָ לְזַעֲוָה לְכֹל מַמְלְכוֹת הָאָֽרֶץ׃ 25
Mukama anaakulekeranga abalabe bo ne bakuwangulanga. Onoobalumbiranga mu kkubo limu, kyokka n’obadduka ng’obunye emiwabo mu makubo musanvu. Olifuuka kyakikangabwa mu maaso g’amawanga gonna ag’oku nsi.
וְהָיְתָה נִבְלָֽתְךָ לְמַאֲכָל לְכָל־עוֹף הַשָּׁמַיִם וּלְבֶהֱמַת הָאָרֶץ וְאֵין מַחֲרִֽיד׃ 26
Omulambo gwo gulifuuka mmere ya nnyonyi zonna ez’omu bbanga, n’eri ensolo ez’oku nsi, era tewaabeerengawo n’omu anaazigugobangako.
יַכְּכָה יְהוָה בִּשְׁחִין מִצְרַיִם ובעפלים וּבַטְּחֹרִים וּבַגָּרָב וּבֶחָרֶס אֲשֶׁר לֹא־תוּכַל לְהֵרָפֵֽא׃ 27
Mukama anaakulwazanga amayute g’e Misiri, n’ebizimba, n’amabwa, n’obuwere, by’otoowonyezebwenga.
יַכְּכָה יְהוָה בְּשִׁגָּעוֹן וּבְעִוָּרוֹן וּבְתִמְהוֹן לֵבָֽב׃ 28
Mukama anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso, n’okukutabulatabulanga mu ndowooza yo.
וְהָיִיתָ מְמַשֵּׁשׁ בַּֽצָהֳרַיִם כַּאֲשֶׁר יְמַשֵּׁשׁ הַעִוֵּר בָּאֲפֵלָה וְלֹא תַצְלִיחַ אֶת־דְּרָכֶיךָ וְהָיִיתָ אַךְ עָשׁוּק וְגָזוּל כָּל־הַיָּמִים וְאֵין מוֹשִֽׁיעַ׃ 29
Mu ttuntu onoowammantanga ng’omuzibe w’amaaso abeera mu kizikiza obudde bwe bwonna. Buli ky’onookolanga onoolemwanga okukituukiriza; onoovumibwanga era onoobbibwanga buli kakedde, naye nga tewaabengawo akudduukirira.
אִשָּׁה תְאָרֵשׂ וְאִישׁ אַחֵר ישגלנה יִשְׁכָּבֶנָּה בַּיִת תִּבְנֶה וְלֹא־תֵשֵׁב בּוֹ כֶּרֶם תִּטַּע וְלֹא תְחַלְּלֶּֽנּוּ׃ 30
Onooyogerezanga omukazi, n’osembereranga n’okumuwasa, naye omusajja omulala anaakumutwalangako n’asulanga naye. Oneezimbiranga ennyumba naye toogisulengamu. Oneesimbiranga ennimiro z’emizabbibu, naye toolyenga ku bibala byamu.
שׁוֹרְךָ טָבוּחַ לְעֵינֶיךָ וְלֹא תֹאכַל מִמֶּנּוּ חֲמֹֽרְךָ גָּזוּל מִלְּפָנֶיךָ וְלֹא יָשׁוּב לָךְ צֹֽאנְךָ נְתֻנוֹת לְאֹיְבֶיךָ וְאֵין לְךָ מוֹשִֽׁיעַ׃ 31
Sseddume zo zinattirwanga mu maaso go, naye toolyenga ku nnyama zaazo. Endogoyi zo zinabbirwanga mu maaso go, so tebaazikuddizenga. Endiga zo zinaaweebwanga abalabe bo, ne watabaawo adduukirira okuzikuddiza.
בָּנֶיךָ וּבְנֹתֶיךָ נְתֻנִים לְעַם אַחֵר וְעֵינֶיךָ רֹאוֹת וְכָלוֹת אֲלֵיהֶם כָּל־הַיּוֹם וְאֵין לְאֵל יָדֶֽךָ׃ 32
Batabani bo ne bawala bo banaagabibwanga mu baamawanga amalala ng’olaba; onoobanoonyanga buli lunaku okutuusa n’amaaso lwe ganaakumyukanga, naye nga tolina maanyi kubaako na kya kukola.
פְּרִי אַדְמָֽתְךָ וְכָל־יְגִיעֲךָ יֹאכַל עַם אֲשֶׁר לֹא־יָדָעְתָּ וְהָיִיתָ רַק עָשׁוּק וְרָצוּץ כָּל־הַיָּמִֽים׃ 33
Ab’eggwanga ly’otomanyi banaalyanga ebibala by’ettaka lyo by’onoobanga weerimidde, toobengako na kya kukola wabula okutulugunyizibwanga buli kiseera.
וְהָיִיתָ מְשֻׁגָּע מִמַּרְאֵה עֵינֶיךָ אֲשֶׁר תִּרְאֶֽה׃ 34
Amaaso go bye ganaalabanga binaakusuulanga eddalu.
יַכְּכָה יְהוָה בִּשְׁחִין רָע עַל־הַבִּרְכַּיִם וְעַל־הַשֹּׁקַיִם אֲשֶׁר לֹא־תוּכַל לְהֵרָפֵא מִכַּף רַגְלְךָ וְעַד קָדְקֳדֶֽךָ׃ 35
Mukama anaakulwazanga amayute ku maviivi ne ku magulu, agataayinzenga kuwonyezebwa, era ne gasaasaananga okuva mu bigere okutuuka ku kawumpo k’omutwe.
יוֹלֵךְ יְהוָה אֹֽתְךָ וְאֶֽת־מַלְכְּךָ אֲשֶׁר תָּקִים עָלֶיךָ אֶל־גּוֹי אֲשֶׁר לֹא־יָדַעְתָּ אַתָּה וַאֲבֹתֶיךָ וְעָבַדְתָּ שָּׁם אֱלֹהִים אֲחֵרִים עֵץ וָאָֽבֶן׃ 36
Mukama alikuleka, ggwe ne kabaka wo gw’onoobanga weerondedde n’otwalibwa mu ggwanga eddala ly’otowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, n’oweererezanga eyo bakatonda abalala ab’emiti n’amayinja.
וְהָיִיתָ לְשַׁמָּה לְמָשָׁל וְלִשְׁנִינָה בְּכֹל הָֽעַמִּים אֲשֶׁר־יְנַהֶגְךָ יְהוָה שָֽׁמָּה׃ 37
Olifuuka ekintu ekyesisiwaza, ekinaanyoomebwanga era ekinaasekererwanga mu mawanga gonna Mukama gy’anaabanga akulazizza.
זֶרַע רַב תּוֹצִיא הַשָּׂדֶה וּמְעַט תֶּאֱסֹף כִּי יַחְסְלֶנּוּ הָאַרְבֶּֽה׃ 38
Onoosiganga ensigo nnyingi mu nnimiro yo, kyokka onookungulangamu katono, kubanga enzige zinaalyanga ebibala byo byonna.
כְּרָמִים תִּטַּע וְעָבָדְתָּ וְיַיִן לֹֽא־תִשְׁתֶּה וְלֹא תֶאֱגֹר כִּי תֹאכְלֶנּוּ הַתֹּלָֽעַת׃ 39
Onoosimbanga essamba z’emizabbibu n’ogisaliranga bulungi, naye toonywenga ku nvinnyo wadde okukuŋŋaanya ebibala bya zabbibu, kubanga ensiriŋŋanyi zinaabiryanga.
זֵיתִים יִהְיוּ לְךָ בְּכָל־גְּבוּלֶךָ וְשֶׁמֶן לֹא תָסוּךְ כִּי יִשַּׁל זֵיתֶֽךָ׃ 40
Onoobeeranga n’emiti egy’emizeeyituuni mu nsi yo yonna, naye togenda kukozesanga ku mafuta gaagyo, kubanga emizeeyituuni gyo ginaakunkumukanga ne gigwa wansi.
בָּנִים וּבָנוֹת תּוֹלִיד וְלֹא־יִהְיוּ לָךְ כִּי יֵלְכוּ בַּשֶּֽׁבִי׃ 41
Olizaala abaana aboobulenzi n’aboobuwala, naye toosigalenga nabo, kubanga banaatwalibwanga mu busibe.
כָּל־עֵצְךָ וּפְרִי אַדְמָתֶךָ יְיָרֵשׁ הַצְּלָצַֽל׃ 42
Enzige zineefuganga emiti gyo gyonna n’ebibala eby’omu ttaka lyo.
הַגֵּר אֲשֶׁר בְּקִרְבְּךָ יַעֲלֶה עָלֶיךָ מַעְלָה מָּעְלָה וְאַתָּה תֵרֵד מַטָּה מָּֽטָּה׃ 43
Bannamawanga b’onoobeeranga nabo bagenda kukulaakulananga balinnye waggulu okukusinganga, nga ggwe weeyongeranga kukka bussi wansi.
הוּא יַלְוְךָ וְאַתָּה לֹא תַלְוֶנּוּ הוּא יִהְיֶה לְרֹאשׁ וְאַתָּה תִּֽהְיֶה לְזָנָֽב׃ 44
Banaakuwolanga, naye ggwe toobawolenga. Be banaabanga omutwe naye ggwe onoobanga mukira.
וּבָאוּ עָלֶיךָ כָּל־הַקְּלָלוֹת הָאֵלֶּה וּרְדָפוּךָ וְהִשִּׂיגוּךָ עַד הִשָּֽׁמְדָךְ כִּי־לֹא שָׁמַעְתָּ בְּקוֹל יְהוָה אֱלֹהֶיךָ לִשְׁמֹר מִצְוֺתָיו וְחֻקֹּתָיו אֲשֶׁר צִוָּֽךְ׃ 45
Ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga ne bikulondoolanga ne bikutuukako okutuusa lwe binaakuzikirizanga olw’obutagonderanga Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye yakulagiranga.
וְהָיוּ בְךָ לְאוֹת וּלְמוֹפֵת וּֽבְזַרְעֲךָ עַד־עוֹלָֽם׃ 46
Binaabeeranga mu ggwe ng’akabonero era ekyewuunyisa gy’oli n’eri bazzukulu bo emirembe gyonna.
תַּחַת אֲשֶׁר לֹא־עָבַדְתָּ אֶת־יְהוָה אֱלֹהֶיךָ בְּשִׂמְחָה וּבְטוּב לֵבָב מֵרֹב כֹּֽל׃ 47
Kubanga bwe wabeeranga obulungi n’ebintu ebingi, tewaweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima ogujjudde essanyu.
וְעָבַדְתָּ אֶת־אֹיְבֶיךָ אֲשֶׁר יְשַׁלְּחֶנּוּ יְהוָה בָּךְ בְּרָעָב וּבְצָמָא וּבְעֵירֹם וּבְחֹסֶר כֹּל וְנָתַן עֹל בַּרְזֶל עַל־צַוָּארֶךָ עַד הִשְׁמִידוֹ אֹתָֽךְ׃ 48
Noolwekyo ng’oli mu njala ne mu nnyonta, ng’oli bwereere, ng’oli mwavu lunkupe, ojjanga kuweerezanga balabe bo, Mukama b’anaakusindikiranga okulwana naawe! Anaakwambazanga mu bulago bwo ekikoligo eky’ekyuma okutuusa lw’alikuzikiririza ddala.
יִשָּׂא יְהוָה עָלֶיךָ גּוֹי מֵרָחוֹק מִקְצֵה הָאָרֶץ כַּאֲשֶׁר יִדְאֶה הַנָּשֶׁר גּוֹי אֲשֶׁר לֹא־תִשְׁמַע לְשֹׁנֽוֹ׃ 49
Mukama alikuleetera eggwanga eririva ewala ennyo, ku nkomerero y’ensi, ne likulumba, nga likukkako ng’empungu bw’eva waggulu n’ekka n’amaanyi ku nsi; liriba eggwanga ng’olulimi lwalyo tolutegeera.
גּוֹי עַז פָּנִים אֲשֶׁר לֹא־יִשָּׂא פָנִים לְזָקֵן וְנַעַר לֹא יָחֹֽן׃ 50
Liribeera eggwanga erijjudde obukambwe mu maaso, eritassaamu kitiibwa bantu bakulu wadde okusaasira abato.
וְאָכַל פְּרִי בְהֶמְתְּךָ וּפְרִֽי־אַדְמָתְךָ עַד הִשָּֽׁמְדָךְ אֲשֶׁר לֹֽא־יַשְׁאִיר לְךָ דָּגָן תִּירוֹשׁ וְיִצְהָר שְׁגַר אֲלָפֶיךָ וְעַשְׁתְּרֹת צֹאנֶךָ עַד הַאֲבִידוֹ אֹתָֽךְ׃ 51
Balirya abaana b’ebisolo by’omu malundiro go, n’ebibala eby’omu ttaka lyo okutuusa lw’olizikirizibwa. Tebalikulekerawo ku mmere ya mpeke, wadde ku nvinnyo oba ku mafuta, wadde ku nnyana ez’ebiraalo byo, oba ku baana b’endiga ab’ebisibo byo, okutuusa lw’olizikirira.
וְהֵצַר לְךָ בְּכָל־שְׁעָרֶיךָ עַד רֶדֶת חֹמֹתֶיךָ הַגְּבֹהוֹת וְהַבְּצֻרוֹת אֲשֶׁר אַתָּה בֹּטֵחַ בָּהֵן בְּכָל־אַרְצֶךָ וְהֵצַר לְךָ בְּכָל־שְׁעָרֶיךָ בְּכָל־אַרְצְךָ אֲשֶׁר נָתַן יְהוָה אֱלֹהֶיךָ לָֽךְ׃ 52
Banaazingizanga ebibuga byo byonna mu nsi yo yonna okutuusa ebisenge ebiwanvu eby’ebigo bye weesiga lwe birigwa wansi. Banaazingizanga ebibuga byonna mu nsi yonna Mukama Katonda wo gy’akuwa.
וְאָכַלְתָּ פְרִֽי־בִטְנְךָ בְּשַׂר בָּנֶיךָ וּבְנֹתֶיךָ אֲשֶׁר נָֽתַן־לְךָ יְהוָה אֱלֹהֶיךָ בְּמָצוֹר וּבְמָצוֹק אֲשֶׁר־יָצִיק לְךָ אֹיְבֶֽךָ׃ 53
Olw’okubonaabona abalabe bo kwe banaakutuusangako nga bakuzingizza, onoolyanga ebibala by’olubuto lwo, ennyama ya batabani bo ne bawala bo Mukama Katonda wo b’anaabanga akuwadde.
הָאִישׁ הָרַךְ בְּךָ וְהֶעָנֹג מְאֹד תֵּרַע עֵינוֹ בְאָחִיו וּבְאֵשֶׁת חֵיקוֹ וּבְיֶתֶר בָּנָיו אֲשֶׁר יוֹתִֽיר׃ 54
Omusajja asingira ddala obuntubulamu era omuwombeefu mu mmwe, taasaasirenga na muganda we yennyini, oba mukyala we omwagalwa, oba abaana be abanaabanga bakyasigaddewo;
מִתֵּת ׀ לְאַחַד מֵהֶם מִבְּשַׂר בָּנָיו אֲשֶׁר יֹאכֵל מִבְּלִי הִשְׁאִֽיר־לוֹ כֹּל בְּמָצוֹר וּבְמָצוֹק אֲשֶׁר יָצִיק לְךָ אֹיִבְךָ בְּכָל־שְׁעָרֶֽיךָ׃ 55
taawengako n’omu ku nnyama y’abaana be b’anaabanga alya. Kubanga nga takyalina ky’asigazza kyonna mu kubonaabona okungi omulabe wo kw’anaabanga akutuusizzaako ng’akuzingirizza mu bibuga byo byonna.
הָרַכָּה בְךָ וְהָעֲנֻגָּה אֲשֶׁר לֹא־נִסְּתָה כַף־רַגְלָהּ הַצֵּג עַל־הָאָרֶץ מֵהִתְעַנֵּג וּמֵרֹךְ תֵּרַע עֵינָהּ בְּאִישׁ חֵיקָהּ וּבִבְנָהּ וּבְבִתָּֽהּ׃ 56
Omukazi asinga obuntubulamu n’eggonjebwa mu mmwe, nga mwenaanyi nnyo, ataŋŋanga na kulinnyisa kigere kye ku ttaka nga kyereere, taamanyisenga bba omwagalwa, wadde mutabani we, oba muwala we,
וּֽבְשִׁלְיָתָהּ הַיּוֹצֵת ׀ מִבֵּין רַגְלֶיהָ וּבְבָנֶיהָ אֲשֶׁר תֵּלֵד כִּֽי־תֹאכְלֵם בְּחֹֽסֶר־כֹּל בַּסָּתֶר בְּמָצוֹר וּבְמָצוֹק אֲשֶׁר יָצִיק לְךָ אֹיִבְךָ בִּשְׁעָרֶֽיךָ׃ 57
ku mwana gw’anaabanga y’akazaala ow’omu lubuto lwe, n’abaana b’anaazaalanga. Kubanga anaabanga ategese okubalyanga mu nkukutu olw’okubulwako ekyokulya ekirala mu biseera eby’okuzingizibwa era eby’ennaku enzibu ennyo, omulabe wo by’anaabanga akutuusizzaako mu bibuga byo.
אִם־לֹא תִשְׁמֹר לַעֲשׂוֹת אֶת־כָּל־דִּבְרֵי הַתּוֹרָה הַזֹּאת הַכְּתוּבִים בַּסֵּפֶר הַזֶּה לְיִרְאָה אֶת־הַשֵּׁם הַנִּכְבָּד וְהַנּוֹרָא הַזֶּה אֵת יְהוָה אֱלֹהֶֽיךָ׃ 58
Bw’otoogonderenga na bwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino, n’ototya era n’otossaamu kitiibwa erinnya lino ery’ettendo era ery’entiisa, eriyitibwa: Mukama Katonda wo,
וְהִפְלָא יְהוָה אֶת־מַכֹּתְךָ וְאֵת מַכּוֹת זַרְעֶךָ מַכּוֹת גְּדֹלוֹת וְנֶאֱמָנוֹת וָחֳלָיִם רָעִים וְנֶאֱמָנִֽים׃ 59
kale nno, Mukama anaakuweerezanga endwadde enkambwe ennyo, eri ggwe n’eri ezzadde lyo; endwadde ez’olutentezi era enkambwe ennyo ez’olukonvuba.
וְהֵשִׁיב בְּךָ אֵת כָּל־מַדְוֵה מִצְרַיִם אֲשֶׁר יָגֹרְתָּ מִפְּנֵיהֶם וְדָבְקוּ בָּֽךְ׃ 60
Anaakuleeteranga endwadde zonna ez’e Misiri, ezaakutiisa ennyo, ne zikwezingangako.
גַּם כָּל־חֳלִי וְכָל־מַכָּה אֲשֶׁר לֹא כָתוּב בְּסֵפֶר הַתּוֹרָה הַזֹּאת יַעְלֵם יְהוָה עָלֶיךָ עַד הִשָּׁמְדָֽךְ׃ 61
Era Mukama anaakuleeteranga endwadde eza buli ngeri, n’ebibonoobono ebitawandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka gano, okutuusa lw’olizikirizibwa.
וְנִשְׁאַרְתֶּם בִּמְתֵי מְעָט תַּחַת אֲשֶׁר הֱיִיתֶם כְּכוֹכְבֵי הַשָּׁמַיִם לָרֹב כִּי־לֹא שָׁמַעְתָּ בְּקוֹל יְהוָה אֱלֹהֶֽיךָ׃ 62
Era mulisigala ng’omuwendo gwammwe gusse nnyo wansi, songa mwali ng’emmunyeenye ez’oku ggulu olw’obungi bwammwe; lwa kubanga tewagonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wo.
וְהָיָה כַּאֲשֶׁר־שָׂשׂ יְהוָה עֲלֵיכֶם לְהֵיטִיב אֶתְכֶם וּלְהַרְבּוֹת אֶתְכֶם כֵּן יָשִׂישׂ יְהוָה עֲלֵיכֶם לְהַאֲבִיד אֶתְכֶם וּלְהַשְׁמִיד אֶתְכֶם וְנִסַּחְתֶּם מֵעַל הֽ͏ָאֲדָמָה אֲשֶׁר־אַתָּה בָא־שָׁמָּה לְרִשְׁתָּֽהּ׃ 63
Nga bwe kyasanyusanga ennyo Mukama okubagaggawazanga n’okubaazanga mweyongerenga obungi, bwe kityo kinaamusanyusanga okubaavuwazanga n’okubazikirizanga. Olisimbulwa n’oggibwa mu nsi gy’ogenda okuyingira okugirya.
וֶהֱפִֽיצְךָ יְהוָה בְּכָל־הָעַמִּים מִקְצֵה הָאָרֶץ וְעַד־קְצֵה הָאָרֶץ וְעָבַדְתָּ שָּׁם אֱלֹהִים אֲחֵרִים אֲשֶׁר לֹא־יָדַעְתָּ אַתָּה וַאֲבֹתֶיךָ עֵץ וָאָֽבֶן׃ 64
Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako.
וּבַגּוֹיִם הָהֵם לֹא תַרְגִּיעַ וְלֹא־יִהְיֶה מָנוֹחַ לְכַף־רַגְלֶךָ וְנָתַן יְהוָה לְךָ שָׁם לֵב רַגָּז וְכִלְיוֹן עֵינַיִם וְדֽ͏ַאֲבוֹן נָֽפֶשׁ׃ 65
Mu mawanga ago togenda kuweereraweererangayo wadde ebigere byo okufunirangayo ekiwummulo. Eyo, Mukama anaakuweerangayo omutima ogujugumira, n’amaaso agaagala okuziba olw’okujulirira, n’emmeeme eweddemu essuubi.
וְהָיוּ חַיֶּיךָ תְּלֻאִים לְךָ מִנֶּגֶד וּפָֽחַדְתָּ לַיְלָה וְיוֹמָם וְלֹא תַאֲמִין בְּחַיֶּֽיךָ׃ 66
Onoobanga mu kubuusabuusa buli kaseera, ng’ojjudde okutya emisana n’ekiro, ng’obulamu bwo tobwekakasa.
בַּבֹּקֶר תֹּאמַר מִֽי־יִתֵּן עֶרֶב וּבָעֶרֶב תֹּאמַר מִֽי־יִתֵּן בֹּקֶר מִפַּחַד לְבָֽבְךָ אֲשֶׁר תִּפְחָד וּמִמַּרְאֵה עֵינֶיךָ אֲשֶׁר תִּרְאֶֽה׃ 67
Mu makya onoogambanga nti, “Singa nno bubadde kiro!” Ate ekiro ng’ogamba nti, “Singa nno bubadde makya!” olw’okutya okunajjulanga mu mutima gwo, n’ebyo amaaso go bye ganaalabanga.
וֶֽהֱשִֽׁיבְךָ יְהוָה ׀ מִצְרַיִם בָּאֳנִיּוֹת בַּדֶּרֶךְ אֲשֶׁר אָמַרְתִּֽי לְךָ לֹא־תֹסִיף עוֹד לִרְאֹתָהּ וְהִתְמַכַּרְתֶּם שָׁם לְאֹיְבֶיךָ לַעֲבָדִים וְלִשְׁפָחוֹת וְאֵין קֹנֶֽה׃ 68
Mukama anaakuzzangayo mu Misiri mu kyombo, ku lugendo lwe nakugaana okuddayo okutambula. Ng’oli eyo oneewangayo weetunde ng’omuddu omusajja oba ng’omuddu omukazi, naye toofunengayo muntu n’omu akugula.

< דברים 28 >