< עמוס 2 >
כֹּה אָמַר יְהוָה עַל־שְׁלֹשָׁה פִּשְׁעֵי מוֹאָב וְעַל־אַרְבָּעָה לֹא אֲשִׁיבֶנּוּ עַל־שָׂרְפוֹ עַצְמוֹת מֶֽלֶךְ־אֱדוֹם לַשִּֽׂיד׃ | 1 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu ne gafuuka evvu.
וְשִׁלַּחְתִּי־אֵשׁ בְּמוֹאָב וְאָכְלָה אַרְמְנוֹת הַקְּרִיּוֹת וּמֵת בְּשָׁאוֹן מוֹאָב בִּתְרוּעָה בְּקוֹל שׁוֹפָֽר׃ | 2 |
Ndiweereza omuliro ku Mowaabu era gulyokya ebigo bya Keriyoosi. Abantu ba Mowaabu balifiira wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
וְהִכְרַתִּי שׁוֹפֵט מִקִּרְבָּהּ וְכָל־שָׂרֶיהָ אֶהֱרוֹג עִמּוֹ אָמַר יְהוָֽה׃ | 3 |
Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu n’abakungu baamu bonna, ndibatta,” bw’ayogera Mukama.
כֹּה אָמַר יְהוָה עַל־שְׁלֹשָׁה פִּשְׁעֵי יְהוּדָה וְעַל־אַרְבָּעָה לֹא אֲשִׁיבֶנּוּ עַֽל־מָאֳסָם אֶת־תּוֹרַת יְהוָה וְחֻקָּיו לֹא שָׁמָרוּ וַיַּתְעוּם כִּזְבֵיהֶם אֲשֶׁר־הָלְכוּ אֲבוֹתָם אַחֲרֵיהֶֽם׃ | 4 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama, ne batakuuma biragiro bye nabawa ne bagondera bakatonda ab’obulimba bajjajjaabwe be baagobereranga.
וְשִׁלַּחְתִּי אֵשׁ בִּֽיהוּדָה וְאָכְלָה אַרְמְנוֹת יְרוּשָׁלָֽ͏ִם׃ | 5 |
Ndiweereza omuliro ku Yuda ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”
כֹּה אָמַר יְהוָה עַל־שְׁלֹשָׁה פִּשְׁעֵי יִשְׂרָאֵל וְעַל־אַרְבָּעָה לֹא אֲשִׁיבֶנּוּ עַל־מִכְרָם בַּכֶּסֶף צַדִּיק וְאֶבְיוֹן בַּעֲבוּר נַעֲלָֽיִם׃ | 6 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Batunda obutuukirivu bafune ffeeza, ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
הַשֹּׁאֲפִים עַל־עֲפַר־אֶרֶץ בְּרֹאשׁ דַּלִּים וְדֶרֶךְ עֲנָוִים יַטּוּ וְאִישׁ וְאָבִיו יֵֽלְכוּ אֶל־הַֽנַּעֲרָה לְמַעַן חַלֵּל אֶת־שֵׁם קָדְשִֽׁי׃ | 7 |
Balinnyiririra emitwe gy’abaavu mu nfuufu, n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya. Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu ne boonoona erinnya lyange.
וְעַל־בְּגָדִים חֲבֻלִים יַטּוּ אֵצֶל כָּל־מִזְבֵּחַ וְיֵין עֲנוּשִׁים יִשְׁתּוּ בֵּית אֱלֹהֵיהֶֽם׃ | 8 |
Bagalamira okumpi ne buli kyoto ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo. Mu nnyumba ya bakatonda baabwe mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.
וְאָנֹכִי הִשְׁמַדְתִּי אֶת־הָֽאֱמֹרִי מִפְּנֵיהֶם אֲשֶׁר כְּגֹבַהּ אֲרָזִים גָּבְהוֹ וְחָסֹן הוּא כָּֽאַלּוֹנִים וָאַשְׁמִיד פִּרְיוֹ מִמַּעַל וְשָׁרָשָׁיו מִתָּֽחַת׃ | 9 |
“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule era nga ba maanyi ng’emyera. Nazikiriza ebibala ebyali waggulu okutuuka ku mirandira egyali wansi.
וְאָנֹכִי הֶעֱלֵיתִי אֶתְכֶם מֵאֶרֶץ מִצְרָיִם וָאוֹלֵךְ אֶתְכֶם בַּמִּדְבָּר אַרְבָּעִים שָׁנָה לָרֶשֶׁת אֶת־אֶרֶץ הָאֱמֹרִֽי׃ | 10 |
Nakuggya mu nsi y’e Misiri, ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu, weetwalire ensi y’Abamoli.
וָאָקִים מִבְּנֵיכֶם לִנְבִיאִים וּמִבַּחוּרֵיכֶם לִנְזִרִים הַאַף אֵֽין־זֹאת בְּנֵי יִשְׂרָאֵל נְאֻם־יְהוָֽה׃ | 11 |
“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama. Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?” bw’ayogera Mukama.
וַתַּשְׁקוּ אֶת־הַנְּזִרִים יָיִן וְעַל־הַנְּבִיאִים צִוִּיתֶם לֵאמֹר לֹא תִּנָּבְאֽוּ׃ | 12 |
“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa, ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.
הִנֵּה אָנֹכִי מֵעִיק תַּחְתֵּיכֶם כַּאֲשֶׁר תָּעִיק הָעֲגָלָה הַֽמְלֵאָה לָהּ עָמִֽיר׃ | 13 |
“Laba, ndibasesebbula ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
וְאָבַד מָנוֹס מִקָּל וְחָזָק לֹא־יְאַמֵּץ כֹּחוֹ וְגִבּוֹר לֹא־יְמַלֵּט נַפְשֽׁוֹ׃ | 14 |
Abanguwa tebaliwona, n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
וְתֹפֵשׂ הַקֶּשֶׁת לֹא יַעֲמֹד וְקַל בְּרַגְלָיו לֹא יְמַלֵּט וְרֹכֵב הַסּוּס לֹא יְמַלֵּט נַפְשֽׁוֹ׃ | 15 |
Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera, n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka. Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
וְאַמִּיץ לִבּוֹ בַּגִּבּוֹרִים עָרוֹם יָנוּס בַּיּוֹם־הַהוּא נְאֻם־יְהוָֽה׃ | 16 |
Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige balidduka bukunya!” bw’atyo bw’ayogera Mukama.