< תְהִלִּים 74 >
מַשְׂכִּ֗יל לְאָ֫סָ֥ף לָמָ֣ה אֱ֭לֹהִים זָנַ֣חְתָּ לָנֶ֑צַח יֶעְשַׁ֥ן אַ֝פְּךָ֗ בְּצֹ֣אן מַרְעִיתֶֽךָ׃ | 1 |
Zabbuli ya Asafu. Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna? Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
זְכֹ֤ר עֲדָתְךָ֨ ׀ קָ֘נִ֤יתָ קֶּ֗דֶם גָּ֭אַלְתָּ שֵׁ֣בֶט נַחֲלָתֶ֑ךָ הַר־צִ֝יּ֗וֹן זֶ֤ה ׀ שָׁכַ֬נְתָּ בּֽוֹ׃ | 2 |
Ojjukire abantu bo be wagula edda; ekika kye wanunula okuba ababo. Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
הָרִ֣ימָה פְ֭עָמֶיךָ לְמַשֻּׁא֣וֹת נֶ֑צַח כָּל־הֵרַ֖ע אוֹיֵ֣ב בַּקֹּֽדֶשׁ׃ | 3 |
Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa! Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.
שָׁאֲג֣וּ צֹ֭רְרֶיךָ בְּקֶ֣רֶב מוֹעֲדֶ֑ךָ שָׂ֖מוּ אוֹתֹתָ֣ם אֹתֽוֹת׃ | 4 |
Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga; ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
יִ֭וָּדַע כְּמֵבִ֣יא לְמָ֑עְלָה בִּֽסֲבָךְ־עֵ֝֗ץ קַרְדֻּמּֽוֹת׃ | 5 |
Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi abatema emiti mu kibira.
וְ֭עַתָּה פִּתּוּחֶ֣יהָ יָּ֑חַד בְּכַשִּׁ֥יל וְ֝כֵֽילַפֹּ֗ת יַהֲלֹמֽוּן׃ | 6 |
Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole, era ne babissessebbula n’obubazzi.
שִׁלְח֣וּ בָ֭אֵשׁ מִקְדָּשֶׁ֑ךָ לָ֝אָ֗רֶץ חִלְּל֥וּ מִֽשְׁכַּן־שְׁמֶֽךָ׃ | 7 |
Bookezza awatukuvu wo; ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
אָמְר֣וּ בְ֭לִבָּם נִינָ֣ם יָ֑חַד שָׂרְפ֖וּ כָל־מוֹעֲדֵי־אֵ֣ל בָּאָֽרֶץ׃ | 8 |
Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!” Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.
אֽוֹתֹתֵ֗ינוּ לֹ֥א רָ֫אִ֥ינוּ אֵֽין־ע֥וֹד נָבִ֑יא וְלֹֽא־אִ֝תָּ֗נוּ יֹדֵ֥עַ עַד־מָֽה׃ | 9 |
Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu. So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
עַד־מָתַ֣י אֱ֭לֹהִים יְחָ֣רֶף צָ֑ר יְנָ֘אֵ֤ץ אוֹיֵ֖ב שִׁמְךָ֣ לָנֶֽצַח׃ | 10 |
Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira? Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
לָ֤מָּה תָשִׁ֣יב יָ֭דְךָ וִֽימִינֶ֑ךָ מִקֶּ֖רֶב חֵֽיקְךָ֣ כַלֵּֽה׃ | 11 |
Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo? Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?
וֵ֭אלֹהִים מַלְכִּ֣י מִקֶּ֑דֶם פֹּעֵ֥ל יְ֝שׁוּע֗וֹת בְּקֶ֣רֶב הָאָֽרֶץ׃ | 12 |
Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda; gw’oleeta obulokozi mu nsi.
אַתָּ֤ה פוֹרַ֣רְתָּ בְעָזְּךָ֣ יָ֑ם שִׁבַּ֖רְתָּ רָאשֵׁ֥י תַ֝נִּינִ֗ים עַל־הַמָּֽיִם׃ | 13 |
Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja; omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
אַתָּ֣ה רִ֭צַּצְתָּ רָאשֵׁ֣י לִוְיָתָ֑ן תִּתְּנֶ֥נּוּ מַ֝אֲכָ֗ל לְעָ֣ם לְצִיִּֽים׃ | 14 |
Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene; n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
אַתָּ֣ה בָ֭קַעְתָּ מַעְיָ֣ן וָנָ֑חַל אַתָּ֥ה ה֝וֹבַ֗שְׁתָּ נַהֲר֥וֹת אֵיתָֽן׃ | 15 |
Ggwe wazibukula ensulo n’emyala; ate n’okaza n’emigga egyakulukutanga bulijjo.
לְךָ֣ י֭וֹם אַף־לְךָ֥ לָ֑יְלָה אַתָּ֥ה הֲ֝כִינ֗וֹתָ מָא֥וֹר וָשָֽׁמֶשׁ׃ | 16 |
Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo; ggwe wakola omwezi n’enjuba.
אַתָּ֣ה הִ֭צַּבְתָּ כָּל־גְּבוּל֣וֹת אָ֑רֶץ קַ֥יִץ וָ֝חֹ֗רֶף אַתָּ֥ה יְצַרְתָּם׃ | 17 |
Ggwe wateekawo ensalo z’ensi; ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.
זְכָר־זֹ֗את א֭וֹיֵב חֵרֵ֣ף ׀ יְהוָ֑ה וְעַ֥ם נָ֝בָ֗ל נִֽאֲצ֥וּ שְׁמֶֽךָ׃ | 18 |
Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe, n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
אַל־תִּתֵּ֣ן לְ֭חַיַּת נֶ֣פֶשׁ תּוֹרֶ֑ךָ חַיַּ֥ת עֲ֝נִיֶּ֗יךָ אַל־תִּשְׁכַּ֥ח לָנֶֽצַח׃ | 19 |
Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe; so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
הַבֵּ֥ט לַבְּרִ֑ית כִּ֥י מָלְא֥וּ מַחֲשַׁכֵּי־אֶ֝֗רֶץ נְא֣וֹת חָמָֽס׃ | 20 |
Ojjukire endagaano yo; kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
אַל־יָשֹׁ֣ב דַּ֣ךְ נִכְלָ֑ם עָנִ֥י וְ֝אֶבְי֗וֹן יְֽהַלְל֥וּ שְׁמֶֽךָ׃ | 21 |
Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa; era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
קוּמָ֣ה אֱ֭לֹהִים רִיבָ֣ה רִיבֶ֑ךָ זְכֹ֥ר חֶרְפָּתְךָ֥ מִנִּי־נָ֝בָ֗ל כָּל־הַיּֽוֹם׃ | 22 |
Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango. Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
אַל־תִּ֭שְׁכַּח ק֣וֹל צֹרְרֶ֑יךָ שְׁא֥וֹן קָ֝מֶ֗יךָ עֹלֶ֥ה תָמִֽיד׃ | 23 |
Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo, n’okuleekaana okwa buli kiseera.