< תְהִלִּים 44 >
לַמְנַצֵּ֬חַ לִבְנֵי־קֹ֬רַח מַשְׂכִּֽיל׃ אֱלֹהִ֤ים ׀ בְּאָזְנֵ֬ינוּ שָׁמַ֗עְנוּ אֲבוֹתֵ֥ינוּ סִפְּרוּ־לָ֑נוּ פֹּ֥עַל פָּעַ֥לְתָּ בִֽ֝ימֵיהֶ֗ם בִּ֣ימֵי קֶֽדֶם׃ | 1 |
Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe, bajjajjaffe baatubuulira, ebyo bye wakola mu biro byabwe, mu nnaku ez’edda ezaayita.
אַתָּ֤ה ׀ יָדְךָ֡ גּוֹיִ֣ם ה֭וֹרַשְׁתָּ וַתִּטָּעֵ֑ם תָּרַ֥ע לְ֝אֻמִּ֗ים וַֽתְּשַׁלְּחֵֽם׃ | 2 |
Nga bwe wagoba amawanga mu nsi n’ogiwa bajjajjaffe, wasaanyaawo amawanga n’okulaakulanya bajjajjaffe.
כִּ֤י לֹ֪א בְחַרְבָּ֡ם יָ֥רְשׁוּ אָ֗רֶץ וּזְרוֹעָם֮ לֹא־הוֹשִׁ֪יעָ֫ה לָּ֥מוֹ כִּֽי־יְמִֽינְךָ֣ וּ֭זְרוֹעֲךָ וְא֥וֹר פָּנֶ֗יךָ כִּ֣י רְצִיתָֽם׃ | 3 |
Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi, n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola; wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.
אַתָּה־ה֣וּא מַלְכִּ֣י אֱלֹהִ֑ים צַ֝וֵּ֗ה יְשׁוּע֥וֹת יַעֲקֹֽב׃ | 4 |
Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange; awa Yakobo obuwanguzi.
בְּ֭ךָ צָרֵ֣ינוּ נְנַגֵּ֑חַ בְּ֝שִׁמְךָ֗ נָב֥וּס קָמֵֽינוּ׃ | 5 |
Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe; ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
כִּ֤י לֹ֣א בְקַשְׁתִּ֣י אֶבְטָ֑ח וְ֝חַרְבִּ֗י לֹ֣א תוֹשִׁיעֵֽנִי׃ | 6 |
Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga, n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
כִּ֣י ה֭וֹשַׁעְתָּנוּ מִצָּרֵ֑ינוּ וּמְשַׂנְאֵ֥ינוּ הֱבִישֽׁוֹתָ׃ | 7 |
Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe, n’oswaza abo abatuyigganya.
בֵּֽ֭אלֹהִים הִלַּלְ֣נוּ כָל־הַיּ֑וֹם וְשִׁמְךָ֓ ׀ לְעוֹלָ֖ם נוֹדֶ֣ה סֶֽלָה׃ | 8 |
Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna. Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.
אַף־זָ֭נַחְתָּ וַתַּכְלִימֵ֑נוּ וְלֹא־תֵ֝צֵ֗א בְּצִבְאוֹתֵֽינוּ׃ | 9 |
Naye kaakano otusudde ne tuswala; era tokyatabaala na magye gaffe.
תְּשִׁיבֵ֣נוּ אָ֭חוֹר מִנִּי־צָ֑ר וּ֝מְשַׂנְאֵ֗ינוּ שָׁ֣סוּ לָֽמוֹ׃ | 10 |
Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba, abatuyigganya ne batunyaga.
תִּ֭תְּנֵנוּ כְּצֹ֣אן מַאֲכָ֑ל וּ֝בַגּוֹיִ֗ם זֵרִיתָֽנוּ׃ | 11 |
Watuwaayo okuliibwa ng’endiga; n’otusaasaanya mu mawanga.
תִּמְכֹּֽר־עַמְּךָ֥ בְלֹא־ה֑וֹן וְלֹ֥א־רִ֝בִּ֗יתָ בִּמְחִירֵיהֶֽם׃ | 12 |
Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo, n’otobaako ky’oganyulwa.
תְּשִׂימֵ֣נוּ חֶ֭רְפָּה לִשְׁכֵנֵ֑ינוּ לַ֥עַג וָ֝קֶ֗לֶס לִסְבִיבוֹתֵֽינוּ׃ | 13 |
Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe, ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
תְּשִׂימֵ֣נוּ מָ֭שָׁל בַּגּוֹיִ֑ם מְנֽוֹד־רֹ֝֗אשׁ בַּל־אֻמִּֽים׃ | 14 |
Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna; era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
כָּל־הַ֭יּוֹם כְּלִמָּתִ֣י נֶגְדִּ֑י וּבֹ֖שֶׁת פָּנַ֣י כִּסָּֽתְנִי׃ | 15 |
Nswazibwa obudde okuziba, amaaso gange ne gajjula ensonyi,
מִ֭קּוֹל מְחָרֵ֣ף וּמְגַדֵּ֑ף מִפְּנֵ֥י א֝וֹיֵ֗ב וּמִתְנַקֵּֽם׃ | 16 |
olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu, olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.
כָּל־זֹ֣את בָּ֭אַתְנוּ וְלֹ֣א שְׁכַחֲנ֑וּךָ וְלֹֽא־שִׁ֝קַּ֗רְנוּ בִּבְרִיתֶֽךָ׃ | 17 |
Ebyo byonna bitutuseeko, newaakubadde nga tetukwerabidde, wadde obutagondera ndagaano yo.
לֹא־נָס֣וֹג אָח֣וֹר לִבֵּ֑נוּ וַתֵּ֥ט אֲשֻׁרֵ֗ינוּ מִנִּ֥י אָרְחֶֽךָ׃ | 18 |
Omutima gwaffe tegukuvuddeeko, so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
כִּ֣י דִ֭כִּיתָנוּ בִּמְק֣וֹם תַּנִּ֑ים וַתְּכַ֖ס עָלֵ֣ינוּ בְצַלְמָֽוֶת׃ | 19 |
Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege, n’otuleka mu kizikiza ekikutte.
אִם־שָׁ֭כַחְנוּ שֵׁ֣ם אֱלֹהֵ֑ינוּ וַנִּפְרֹ֥שׂ כַּ֝פֵּ֗ינוּ לְאֵ֣ל זָֽר׃ | 20 |
Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe, ne tusinza katonda omulala,
הֲלֹ֣א אֱ֭לֹהִים יַֽחֲקָר־זֹ֑את כִּֽי־ה֥וּא יֹ֝דֵ֗עַ תַּעֲלֻמ֥וֹת לֵֽב׃ | 21 |
ekyo Katonda waffe teyandikizudde? Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
כִּֽי־עָ֭לֶיךָ הֹרַ֣גְנוּ כָל־הַיּ֑וֹם נֶ֝חְשַׁ֗בְנוּ כְּצֹ֣אן טִבְחָֽה׃ | 22 |
Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba, era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.
ע֤וּרָה ׀ לָ֖מָּה תִישַׁ֥ן ׀ אֲדֹנָ֑י הָ֝קִ֗יצָה אַל־תִּזְנַ֥ח לָנֶֽצַח׃ | 23 |
Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase? Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
לָֽמָּה־פָנֶ֥יךָ תַסְתִּ֑יר תִּשְׁכַּ֖ח עָנְיֵ֣נוּ וְֽלַחֲצֵֽנוּ׃ | 24 |
Lwaki otwekwese? Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?
כִּ֤י שָׁ֣חָה לֶעָפָ֣ר נַפְשֵׁ֑נוּ דָּבְקָ֖ה לָאָ֣רֶץ בִּטְנֵֽנוּ׃ | 25 |
Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu; tuli ku ttaka.
ק֭וּמָֽה עֶזְרָ֣תָה לָּ֑נוּ וּ֝פְדֵ֗נוּ לְמַ֣עַן חַסְדֶּֽךָ׃ | 26 |
Golokoka otuyambe; tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.