< תְהִלִּים 108 >
שִׁ֖יר מִזְמ֣וֹר לְדָוִֽד׃ נָכ֣וֹן לִבִּ֣י אֱלֹהִ֑ים אָשִׁ֥ירָה וַ֝אֲזַמְּרָ֗ה אַף־כְּבוֹדִֽי׃ | 1 |
Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi. Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda; nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
ע֭וּרָֽה הַנֵּ֥בֶל וְכִנּ֗וֹר אָעִ֥ירָה שָּֽׁחַר׃ | 2 |
Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba, nzija kuyimba okukeesa obudde.
אוֹדְךָ֖ בָעַמִּ֥ים ׀ יְהוָ֑ה וַ֝אֲזַמֶּרְךָ֗ בַּל־אֻמִּֽים׃ | 3 |
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna, nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
כִּֽי־גָד֣וֹל מֵֽעַל־שָׁמַ֣יִם חַסְדֶּ֑ךָ וְֽעַד־שְׁחָקִ֥ים אֲמִתֶּֽךָ׃ | 4 |
Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
ר֣וּמָה עַל־שָׁמַ֣יִם אֱלֹהִ֑ים וְעַ֖ל כָּל־הָאָ֣רֶץ כְּבוֹדֶֽךָ׃ | 5 |
Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
לְ֭מַעַן יֵחָלְצ֣וּן יְדִידֶ֑יךָ הוֹשִׁ֖יעָה יְמִֽינְךָ֣ וַעֲנֵֽנִי׃ | 6 |
Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo, abo booyagala banunulibwe.
אֱלֹהִ֤ים ׀ דִּבֶּ֥ר בְּקָדְשׁ֗וֹ אֶעְלֹ֥זָה אֲחַלְּקָ֥ה שְׁכֶ֑ם וְעֵ֖מֶק סֻכּ֣וֹת אֲמַדֵּֽד׃ | 7 |
Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti, “Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu, era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
לִ֤י גִלְעָ֨ד ׀ לִ֤י מְנַשֶּׁ֗ה וְ֭אֶפְרַיִם מָע֣וֹז רֹאשִׁ֑י יְ֝הוּדָ֗ה מְחֹקְקִֽי׃ | 8 |
Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange. Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira; ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
מוֹאָ֤ב ׀ סִ֬יר רַחְצִ֗י עַל־אֱ֭דוֹם אַשְׁלִ֣יךְ נַעֲלִ֑י עֲלֵֽי־פְ֝לֶ֗שֶׁת אֶתְרוֹעָֽע׃ | 9 |
Mowaabu be baweereza bange abawulize; ate Edomu be baddu bange; Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”
מִ֣י יֹ֭בִלֵנִי עִ֣יר מִבְצָ֑ר מִ֖י נָחַ֣נִי עַד־אֱדֽוֹם׃ | 10 |
Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
הֲלֹֽא־אֱלֹהִ֥ים זְנַחְתָּ֑נוּ וְֽלֹא־תֵצֵ֥א אֱ֝לֹהִ֗ים בְּצִבְאֹתֵֽינוּ׃ | 11 |
Si ggwe, ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala n’amaggye gaffe?
הָֽבָה־לָּ֣נוּ עֶזְרָ֣ת מִצָּ֑ר וְ֝שָׁ֗וְא תְּשׁוּעַ֥ת אָדָֽם׃ | 12 |
Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
בֵּֽאלֹהִ֥ים נַעֲשֶׂה־חָ֑יִל וְ֝ה֗וּא יָב֥וּס צָרֵֽינוּ׃ | 13 |
Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi; kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.