< יְשַׁעְיָהוּ 45 >

כֹּה־אָמַ֣ר יְהוָה֮ לִמְשִׁיחוֹ֮ לְכ֣וֹרֶשׁ אֲשֶׁר־הֶחֱזַ֣קְתִּי בִֽימִינ֗וֹ לְרַד־לְפָנָיו֙ גּוֹיִ֔ם וּמָתְנֵ֥י מְלָכִ֖ים אֲפַתֵּ֑חַ לִפְתֹּ֤חַ לְפָנָיו֙ דְּלָתַ֔יִם וּשְׁעָרִ֖ים לֹ֥א יִסָּגֵֽרוּ׃ 1
“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta, oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo okujeemulula amawanga mu maaso ge era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe, okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso, emiryango eminene gireme kuggalwawo.
אֲנִי֙ לְפָנֶ֣יךָ אֵלֵ֔ךְ וַהֲדוּרִ֖ים אֲיַשֵּׁ֑ר דַּלְת֤וֹת נְחוּשָׁה֙ אֲשַׁבֵּ֔ר וּבְרִיחֵ֥י בַרְזֶ֖ל אֲגַדֵּֽעַ׃ 2
Ndikukulembera ne ntereeza ebifo ebigulumivu. Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma.
וְנָתַתִּ֤י לְךָ֙ אוֹצְר֣וֹת חֹ֔שֶׁךְ וּמַטְמֻנֵ֖י מִסְתָּרִ֑ים לְמַ֣עַן תֵּדַ֗ע כִּֽי־אֲנִ֧י יְהוָ֛ה הַקּוֹרֵ֥א בְשִׁמְךָ֖ אֱלֹהֵ֥י יִשְׂרָאֵֽל׃ 3
Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama olyoke omanye nga nze Mukama, Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
לְמַ֙עַן֙ עַבְדִּ֣י יַעֲקֹ֔ב וְיִשְׂרָאֵ֖ל בְּחִירִ֑י וָאֶקְרָ֤א לְךָ֙ בִּשְׁמֶ֔ךָ אֲכַנְּךָ֖ וְלֹ֥א יְדַעְתָּֽנִי׃ 4
Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange kyenvudde nkuyita erinnya, ne nkuwa ekitiibwa wadde nga tonzisaako mwoyo.
אֲנִ֤י יְהוָה֙ וְאֵ֣ין ע֔וֹד זוּלָתִ֖י אֵ֣ין אֱלֹהִ֑ים אֲאַזֶּרְךָ֖ וְלֹ֥א יְדַעְתָּֽנִי׃ 5
Nze Mukama, tewali mulala. Tewali katonda mulala wabula nze. Ndikuwa amaanyi wadde nga tonzisaako mwoyo,
לְמַ֣עַן יֵדְע֗וּ מִמִּזְרַח־שֶׁ֙מֶשׁ֙ וּמִמַּ֣עֲרָבָ֔ה כִּי־אֶ֖פֶס בִּלְעָדָ֑י אֲנִ֥י יְהוָ֖ה וְאֵ֥ין עֽוֹד׃ 6
balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda tewali mulala wabula nze. Nze Mukama, tewali mulala.
יוֹצֵ֥ר אוֹר֙ וּבוֹרֵ֣א חֹ֔שֶׁךְ עֹשֶׂ֥ה שָׁל֖וֹם וּב֣וֹרֵא רָ֑ע אֲנִ֥י יְהוָ֖ה עֹשֶׂ֥ה כָל־אֵֽלֶּה׃ ס 7
Nze nteekawo ekitangaala ne ntonda ekizikiza. Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona. Nze Mukama akola ebyo byonna.
הַרְעִ֤יפוּ שָׁמַ֙יִם֙ מִמַּ֔עַל וּשְׁחָקִ֖ים יִזְּלוּ־צֶ֑דֶק תִּפְתַּח־אֶ֣רֶץ וְיִפְרוּ־יֶ֗שַׁע וּצְדָקָ֤ה תַצְמִ֙יחַ֙ יַ֔חַד אֲנִ֥י יְהוָ֖ה בְּרָאתִֽיו׃ ס 8
“Mmwe eggulu eriri waggulu, mutonnyese obutuukirivu. Ebire bitonnyese obutuukirivu. Ensi egguke n’obulokozi bumeruke, ereete obutuukirivu. Nze Mukama nze nagitonda.
ה֗וֹי רָ֚ב אֶת־יֹ֣צְר֔וֹ חֶ֖רֶשׂ אֶת־חַרְשֵׂ֣י אֲדָמָ֑ה הֲיֹאמַ֨ר חֹ֤מֶר לְיֹֽצְרוֹ֙ מַֽה־תַּעֲשֶׂ֔ה וּפָעָלְךָ֖ אֵין־יָדַ֥יִם לֽוֹ׃ ס 9
“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we! Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi. Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti, ‘Obumba ki?’ Oba omulimu gwo okukubuuza nti, ‘Aliko emikono?’
ה֛וֹי אֹמֵ֥ר לְאָ֖ב מַה־תּוֹלִ֑יד וּלְאִשָּׁ֖ה מַה־תְּחִילִֽין׃ ס 10
Zimusanze oyo agamba kitaawe nti, ‘Wazaala ki?’ Oba nnyina nti, ‘Kiki ky’ozadde?’
כֹּֽה־אָמַ֧ר יְהוָ֛ה קְד֥וֹשׁ יִשְׂרָאֵ֖ל וְיֹצְר֑וֹ הָאֹתִיּ֣וֹת שְׁאָל֔וּנִי עַל־בָּנַ֛י וְעַל־פֹּ֥עַל יָדַ֖י תְּצַוֻּֽנִי׃ 11
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri era Omutonzi we nti, ‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja, oba ebikwata ku baana bange, oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
אָֽנֹכִי֙ עָשִׂ֣יתִי אֶ֔רֶץ וְאָדָ֖ם עָלֶ֣יהָ בָרָ֑אתִי אֲנִ֗י יָדַי֙ נָט֣וּ שָׁמַ֔יִם וְכָל־צְבָאָ֖ם צִוֵּֽיתִי׃ 12
Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
אָנֹכִי֙ הַעִירֹתִ֣הֽוּ בְצֶ֔דֶק וְכָל־דְּרָכָ֖יו אֲיַשֵּׁ֑ר הֽוּא־יִבְנֶ֤ה עִירִי֙ וְגָלוּתִ֣י יְשַׁלֵּ֔חַ לֹ֤א בִמְחִיר֙ וְלֹ֣א בְשֹׁ֔חַד אָמַ֖ר יְהוָ֥ה צְבָאֽוֹת׃ פ 13
Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu era nditereeza amakubo ge gonna. Alizimba ekibuga kyange n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa; naye si lwa mpeera oba ekirabo,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
כֹּ֣ה ׀ אָמַ֣ר יְהוָ֗ה יְגִ֨יעַ מִצְרַ֥יִם וּֽסְחַר־כּוּשׁ֮ וּסְבָאִים֮ אַנְשֵׁ֣י מִדָּה֒ עָלַ֤יִךְ יַעֲבֹ֙רוּ֙ וְלָ֣ךְ יִֽהְי֔וּ אַחֲרַ֣יִךְ יֵלֵ֔כוּ בַּזִּקִּ֖ים יַעֲבֹ֑רוּ וְאֵלַ֤יִךְ יִֽשְׁתַּחֲוּוּ֙ אֵלַ֣יִךְ יִתְפַּלָּ֔לוּ אַ֣ךְ בָּ֥ךְ אֵ֛ל וְאֵ֥ין ע֖וֹד אֶ֥פֶס אֱלֹהִֽים׃ 14
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa, n’abo Abasabeya abawanvu balijja babeere abaddu bo, bajje nga bakugoberera nga basibiddwa mu njegere. Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti, ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’”
אָכֵ֕ן אַתָּ֖ה אֵ֣ל מִסְתַּתֵּ֑ר אֱלֹהֵ֥י יִשְׂרָאֵ֖ל מוֹשִֽׁיעַ׃ 15
Ddala oli Katonda eyeekweka, ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
בּ֥וֹשׁוּ וְגַֽם־נִכְלְמ֖וּ כֻּלָּ֑ם יַחְדָּו֙ הָלְכ֣וּ בַכְּלִמָּ֔ה חָרָשֵׁ֖י צִירִֽים׃ 16
Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa, balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
יִשְׂרָאֵל֙ נוֹשַׁ֣ע בַּיהוָ֔ה תְּשׁוּעַ֖ת עוֹלָמִ֑ים לֹא־תֵבֹ֥שׁוּ וְלֹא־תִכָּלְמ֖וּ עַד־ע֥וֹלְמֵי עַֽד׃ פ 17
Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama n’obulokozi obutaliggwaawo. Temuukwatibwenga nsonyi, temuuswalenga emirembe gyonna.
כִּ֣י כֹ֣ה אָֽמַר־יְ֠הוָה בּוֹרֵ֨א הַשָּׁמַ֜יִם ה֣וּא הָאֱלֹהִ֗ים יֹצֵ֨ר הָאָ֤רֶץ וְעֹשָׂהּ֙ ה֣וּא כֽוֹנְנָ֔הּ לֹא־תֹ֥הוּ בְרָאָ֖הּ לָשֶׁ֣בֶת יְצָרָ֑הּ אֲנִ֥י יְהוָ֖ה וְאֵ֥ין עֽוֹד׃ 18
Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda eyabumba ensi n’agikola. Ye yassaawo emisingi gyayo. Teyagitonda kubeera nkalu naye yagikola etuulwemu. Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
לֹ֧א בַסֵּ֣תֶר דִּבַּ֗רְתִּי בִּמְקוֹם֙ אֶ֣רֶץ חֹ֔שֶׁךְ לֹ֥א אָמַ֛רְתִּי לְזֶ֥רַע יַעֲקֹ֖ב תֹּ֣הוּ בַקְּשׁ֑וּנִי אֲנִ֤י יְהוָה֙ דֹּבֵ֣ר צֶ֔דֶק מַגִּ֖יד מֵישָׁרִֽים׃ 19
Soogereranga mu kyama, oba mu nsi eyeekizikiza. Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti, ‘Munoonyeze bwereere.’ Nze Mukama njogera mazima, mbuulira ebigambo eby’ensonga.
הִקָּבְצ֥וּ וָבֹ֛אוּ הִֽתְנַגְּשׁ֥וּ יַחְדָּ֖ו פְּלִיטֵ֣י הַגּוֹיִ֑ם לֹ֣א יָדְע֗וּ הַנֹּֽשְׂאִים֙ אֶת־עֵ֣ץ פִּסְלָ֔ם וּמִתְפַּלְלִ֔ים אֶל־אֵ֖ל לֹ֥א יוֹשִֽׁיעַ׃ 20
“Mwekuŋŋaanye mujje, mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga. Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje, abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
הַגִּ֣ידוּ וְהַגִּ֔ישׁוּ אַ֥ף יִֽוָּעֲצ֖וּ יַחְדָּ֑ו מִ֣י הִשְׁמִיעַ֩ זֹ֨את מִקֶּ֜דֶם מֵאָ֣ז הִגִּידָ֗הּ הֲל֨וֹא אֲנִ֤י יְהוָה֙ וְאֵֽין־ע֤וֹד אֱלֹהִים֙ מִבַּלְעָדַ֔י אֵֽל־צַדִּ֣יק וּמוֹשִׁ֔יעַ אַ֖יִן זוּלָתִֽי׃ 21
Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe. Muteese muyambagane. Ani eyayogera nti kino kiribaawo? Ani eyakyogerako edda? Si nze Mukama? Tewali Katonda mulala wabula nze, Katonda omutuukirivu era Omulokozi, tewali mulala wabula nze.
פְּנוּ־אֵלַ֥י וְהִוָּשְׁע֖וּ כָּל־אַפְסֵי־אָ֑רֶץ כִּ֥י אֲנִי־אֵ֖ל וְאֵ֥ין עֽוֹד׃ 22
“Mudde gye ndi, mulokoke, mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi, kubanga nze Katonda so tewali mulala.
בִּ֣י נִשְׁבַּ֔עְתִּי יָצָ֨א מִפִּ֧י צְדָקָ֛ה דָּבָ֖ר וְלֹ֣א יָשׁ֑וּב כִּי־לִי֙ תִּכְרַ֣ע כָּל־בֶּ֔רֶךְ תִּשָּׁבַ֖ע כָּל־לָשֽׁוֹן׃ 23
Neerayiridde, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima so tekiriggibwawo mu maaso gange. Buli vviivi lirifukamira, na buli lulimi lulirayira!
אַ֧ךְ בַּיהוָ֛ה לִ֥י אָמַ֖ר צְדָק֣וֹת וָעֹ֑ז עָדָיו֙ יָב֣וֹא וְיֵבֹ֔שׁוּ כֹּ֖ל הַנֶּחֱרִ֥ים בּֽוֹ׃ 24
Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’” Bonna abaamusunguwalira balijja gy’ali nga baswadde.
בַּיהוָ֛ה יִצְדְּק֥וּ וְיִֽתְהַלְל֖וּ כָּל־זֶ֥רַע יִשְׂרָאֵֽל׃ 25
Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu era mwe liryenyumiririza.

< יְשַׁעְיָהוּ 45 >