< יְשַׁעְיָהוּ 16 >

שִׁלְחוּ־כַ֥ר מֹשֵֽׁל־אֶ֖רֶץ מִסֶּ֣לַע מִדְבָּ֑רָה אֶל־הַ֖ר בַּת־צִיּֽוֹן׃ 1
“Muweereze abaana b’endiga eri oyo afuga ensi, okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu, okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
וְהָיָ֥ה כְעוֹף־נוֹדֵ֖ד קֵ֣ן מְשֻׁלָּ֑ח תִּֽהְיֶ֙ינָה֙ בְּנ֣וֹת מוֹאָ֔ב מַעְבָּרֹ֖ת לְאַרְנֽוֹן׃ 2
Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri, bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu awasomokerwa Alunooni.
הָבִ֤יאִי עֵצָה֙ עֲשׂ֣וּ פְלִילָ֔ה שִׁ֧יתִי כַלַּ֛יִל צִלֵּ֖ךְ בְּת֣וֹךְ צָהֳרָ֑יִם סַתְּרִי֙ נִדָּחִ֔ים נֹדֵ֖ד אַל־תְּגַלִּֽי׃ 3
“Tuwe ku magezi, tubuulire, tukole tutya? Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze wakati mu ttuntu, Abajja bagobebwa mubakweke, abajja badaaga temubalyamu lukwe.
יָג֤וּרוּ בָךְ֙ נִדָּחַ֔י מוֹאָ֛ב הֱוִי־סֵ֥תֶר לָ֖מוֹ מִפְּנֵ֣י שׁוֹדֵ֑ד כִּֽי־אָפֵ֤ס הַמֵּץ֙ כָּ֣לָה שֹׁ֔ד תַּ֥מּוּ רֹמֵ֖ס מִן־הָאָֽרֶץ׃ 4
Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe. Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.” Omujoozi bw’aweddewo, n’okubetentebwa ne kuggwaawo; omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
וְהוּכַ֤ן בַּחֶ֙סֶד֙ כִּסֵּ֔א וְיָשַׁ֥ב עָלָ֛יו בֶּאֱמֶ֖ת בְּאֹ֣הֶל דָּוִ֑ד שֹׁפֵ֛ט וְדֹרֵ֥שׁ מִשְׁפָּ֖ט וּמְהִ֥ר צֶֽדֶק׃ 5
Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala, era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi alamula mu bwesigwa era anoonya obwenkanya era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.
שָׁמַ֥עְנוּ גְאוֹן־מוֹאָ֖ב גֵּ֣א מְאֹ֑ד גַּאֲוָת֧וֹ וּגְאוֹנ֛וֹ וְעֶבְרָת֖וֹ לֹא־כֵ֥ן בַּדָּֽיו׃ ס 6
Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga bw’ajjudde okwemanya, n’amalala ge n’okuvuma; naye okwemanya kwe tekugasa.
לָכֵ֗ן יְיֵלִ֥יל מוֹאָ֛ב לְמוֹאָ֖ב כֻּלֹּ֣ה יְיֵלִ֑יל לַאֲשִׁישֵׁ֧י קִיר־חֲרֶ֛שֶׂת תֶּהְגּ֖וּ אַךְ־נְכָאִֽים׃ 7
Noolwekyo leka Mowaabu akaabe, leka buli muntu akaabire ku Mowaabu. Mukungubage, musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
כִּ֣י שַׁדְמוֹת֩ חֶשְׁבּ֨וֹן אֻמְלָ֜ל גֶּ֣פֶן שִׂבְמָ֗ה בַּעֲלֵ֤י גוֹיִם֙ הָלְמ֣וּ שְׂרוּקֶּ֔יהָ עַד־יַעְזֵ֥ר נָגָ֖עוּ תָּ֣עוּ מִדְבָּ֑ר שְׁלֻ֣חוֹתֶ֔יהָ נִטְּשׁ֖וּ עָ֥בְרוּ יָֽם׃ 8
Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze, n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo. Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala emiti gyabwe egyasinganga obulungi, egyabunanga ne gituuka e Yazeri nga giggukira mu ddungu n’emitunsi nga gibuna nga gituukira ddala mu nnyanja.
עַל־כֵּ֡ן אֶבְכֶּ֞ה בִּבְכִ֤י יַעְזֵר֙ גֶּ֣פֶן שִׂבְמָ֔ה אֲרַיָּ֙וֶךְ֙ דִּמְעָתִ֔י חֶשְׁבּ֖וֹן וְאֶלְעָלֵ֑ה כִּ֧י עַל־קֵיצֵ֛ךְ וְעַל־קְצִירֵ֖ךְ הֵידָ֥ד נָפָֽל׃ 9
Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma. Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange, ggwe Kesuboni ne Ereyale: kubanga essanyu ery’ebibala byo n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
וְנֶאֱסַ֨ף שִׂמְחָ֤ה וָגִיל֙ מִן־הַכַּרְמֶ֔ל וּבַכְּרָמִ֥ים לֹֽא־יְרֻנָּ֖ן לֹ֣א יְרֹעָ֑ע יַ֗יִן בַּיְקָבִ֛ים לֹֽא־יִדְרֹ֥ךְ הַדֹּרֵ֖ךְ הֵידָ֥ד הִשְׁבַּֽתִּי׃ 10
Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala; ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana; mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo; okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
עַל־כֵּן֙ מֵעַ֣י לְמוֹאָ֔ב כַּכִּנּ֖וֹר יֶֽהֱמ֑וּ וְקִרְבִּ֖י לְקִ֥יר חָֽרֶשׂ׃ 11
Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga, emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
וְהָיָ֧ה כִֽי־נִרְאָ֛ה כִּֽי־נִלְאָ֥ה מוֹאָ֖ב עַל־הַבָּמָ֑ה וּבָ֧א אֶל־מִקְדָּשׁ֛וֹ לְהִתְפַּלֵּ֖ל וְלֹ֥א יוּכָֽל׃ 12
Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu, alyekooya yekka; bw’aligenda okusamira, tekirimuyamba.
זֶ֣ה הַדָּבָ֗ר אֲשֶׁ֨ר דִּבֶּ֧ר יְהוָ֛ה אֶל־מוֹאָ֖ב מֵאָֽז׃ 13
Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda.
וְעַתָּ֗ה דִּבֶּ֣ר יְהוָה֮ לֵאמֹר֒ בְּשָׁלֹ֤שׁ שָׁנִים֙ כִּשְׁנֵ֣י שָׂכִ֔יר וְנִקְלָה֙ כְּב֣וֹד מוֹאָ֔ב בְּכֹ֖ל הֶהָמ֣וֹן הָרָ֑ב וּשְׁאָ֥ר מְעַ֛ט מִזְעָ֖ר ל֥וֹא כַבִּֽיר׃ ס 14
Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”

< יְשַׁעְיָהוּ 16 >