< חֲבַקּוּק 2 >
עַל־מִשְׁמַרְתִּ֣י אֶעֱמֹ֔דָה וְאֶֽתְיַצְּבָ֖ה עַל־מָצ֑וֹר וַאֲצַפֶּ֗ה לִרְאוֹת֙ מַה־יְדַבֶּר־בִּ֔י וּמָ֥ה אָשִׁ֖יב עַל־תּוֹכַחְתִּֽי׃ | 1 |
Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu nnindirire ky’aliŋŋamba, era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.
וַיַּעֲנֵ֤נִי יְהוָה֙ וַיֹּ֔אמֶר כְּת֣וֹב חָז֔וֹן וּבָאֵ֖ר עַל־הַלֻּח֑וֹת לְמַ֥עַן יָר֖וּץ ק֥וֹרֵא בֽוֹ׃ | 2 |
Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti, “Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande. Kuwandiike bulungi ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
כִּ֣י ע֤וֹד חָזוֹן֙ לַמּוֹעֵ֔ד וְיָפֵ֥חַ לַקֵּ֖ץ וְלֹ֣א יְכַזֵּ֑ב אִם־יִתְמַהְמָהּ֙ חַכֵּה־ל֔וֹ כִּֽי־בֹ֥א יָבֹ֖א לֹ֥א יְאַחֵֽר׃ | 3 |
Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere. Kwogera ku by’enkomerero ate si kwa bulimba. Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire, kujja kutuukirira, tekugya kulwa.
הִנֵּ֣ה עֻפְּלָ֔ה לֹא־יָשְׁרָ֥ה נַפְשׁ֖וֹ בּ֑וֹ וְצַדִּ֖יק בֶּאֱמוּנָת֥וֹ יִחְיֶֽה׃ | 4 |
“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa, naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”
וְאַף֙ כִּֽי־הַיַּ֣יִן בּוֹגֵ֔ד גֶּ֥בֶר יָהִ֖יר וְלֹ֣א יִנְוֶ֑ה אֲשֶׁר֩ הִרְחִ֨יב כִּשְׁא֜וֹל נַפְשׁ֗וֹ וְה֤וּא כַמָּ֙וֶת֙ וְלֹ֣א יִשְׂבָּ֔ע וַיֶּאֱסֹ֤ף אֵלָיו֙ כָּל־הַגּוֹיִ֔ם וַיִּקְבֹּ֥ץ אֵלָ֖יו כָּל־הָעַמִּֽים׃ (Sheol ) | 5 |
Weewaawo, omwenge mulimba guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako. Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa. Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta, amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako ne gugafuula abasibe. (Sheol )
הֲלוֹא־אֵ֣לֶּה כֻלָּ֗ם עָלָיו֙ מָשָׁ֣ל יִשָּׂ֔אוּ וּמְלִיצָ֖ה חִיד֣וֹת ל֑וֹ וְיֹאמַ֗ר ה֚וֹי הַמַּרְבֶּ֣ה לֹּא־ל֔וֹ עַד־מָתַ֕י וּמַכְבִּ֥יד עָלָ֖יו עַבְטִֽיט׃ | 6 |
“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti, “‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye! Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
הֲל֣וֹא פֶ֗תַע יָק֙וּמוּ֙ נֹשְׁכֶ֔יךָ וְיִקְצ֖וּ מְזַעְזְעֶ֑יךָ וְהָיִ֥יתָ לִמְשִׁסּ֖וֹת לָֽמוֹ׃ | 7 |
Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde, era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza? Oliba togudde mu mikono gyabwe?
כִּֽי אַתָּ֤ה שַׁלּ֙וֹתָ֙ גּוֹיִ֣ם רַבִּ֔ים יְשָׁלּ֖וּךָ כָּל־יֶ֣תֶר עַמִּ֑ים מִדְּמֵ֤י אָדָם֙ וַחֲמַס־אֶ֔רֶץ קִרְיָ֖ה וְכָל־יֹ֥שְׁבֵי בָֽהּ׃ פ | 8 |
Kubanga onyaze amawanga mangi, abantu abasigaddewo balikunyaga; Oyiye omusaayi gw’abantu, n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”
ה֗וֹי בֹּצֵ֛עַ בֶּ֥צַע רָ֖ע לְבֵית֑וֹ לָשׂ֤וּם בַּמָּרוֹם֙ קִנּ֔וֹ לְהִנָּצֵ֖ל מִכַּף־רָֽע׃ | 9 |
Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi, azimba ekisu kye waggulu, okwekuuma obutatuukwako kabi!
יָעַ֥צְתָּ בֹּ֖שֶׁת לְבֵיתֶ֑ךָ קְצוֹת־עַמִּ֥ים רַבִּ֖ים וְחוֹטֵ֥א נַפְשֶֽׁךָ׃ | 10 |
Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi, n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
כִּי־אֶ֖בֶן מִקִּ֣יר תִּזְעָ֑ק וְכָפִ֖יס מֵעֵ֥ץ יַעֲנֶֽנָּה׃ פ | 11 |
Amayinja g’oku bbugwe galikaaba, n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.
ה֛וֹי בֹּנֶ֥ה עִ֖יר בְּדָמִ֑ים וְכוֹנֵ֥ן קִרְיָ֖ה בְּעַוְלָֽה׃ | 12 |
Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi, atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
הֲל֣וֹא הִנֵּ֔ה מֵאֵ֖ת יְהוָ֣ה צְבָא֑וֹת וְיִֽיגְע֤וּ עַמִּים֙ בְּדֵי־אֵ֔שׁ וּלְאֻמִּ֖ים בְּדֵי־רִ֥יק יִעָֽפוּ׃ | 13 |
Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro, n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
כִּ֚י תִּמָּלֵ֣א הָאָ֔רֶץ לָדַ֖עַת אֶת־כְּב֣וֹד יְהוָ֑ה כַּמַּ֖יִם יְכַסּ֥וּ עַל־יָֽם׃ ס | 14 |
Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.
ה֚וֹי מַשְׁקֵ֣ה רֵעֵ֔הוּ מְסַפֵּ֥חַ חֲמָתְךָ֖ וְאַ֣ף שַׁכֵּ֑ר לְמַ֥עַן הַבִּ֖יט עַל־מְעוֹרֵיהֶֽם׃ | 15 |
Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
שָׂבַ֤עְתָּ קָלוֹן֙ מִכָּב֔וֹד שְׁתֵ֥ה גַם־אַ֖תָּה וְהֵֽעָרֵ֑ל תִּסּ֣וֹב עָלֶ֗יךָ כּ֚וֹס יְמִ֣ין יְהוָ֔ה וְקִיקָל֖וֹן עַל־כְּבוֹדֶֽךָ׃ | 16 |
Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa. Naawe olinywa n’oswala. Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli, n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
כִּ֣י חֲמַ֤ס לְבָנוֹן֙ יְכַסֶּ֔ךָּ וְשֹׁ֥ד בְּהֵמ֖וֹת יְחִיתַ֑ן מִדְּמֵ֤י אָדָם֙ וַחֲמַס־אֶ֔רֶץ קִרְיָ֖ה וְכָל־יֹ֥שְׁבֵי בָֽהּ׃ ס | 17 |
Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni, n’okutta ensolo, birikutiisa. Osse abantu n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.
מָֽה־הוֹעִ֣יל פֶּ֗סֶל כִּ֤י פְסָלוֹ֙ יֹֽצְר֔וֹ מַסֵּכָ֖ה וּמ֣וֹרֶה שָּׁ֑קֶר כִּ֣י בָטַ֞ח יֹצֵ֤ר יִצְרוֹ֙ עָלָ֔יו לַעֲשׂ֖וֹת אֱלִילִ֥ים אִלְּמִֽים׃ ס | 18 |
“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi. Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba? Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye nga akola ebifaananyi ebitayogera!
ה֣וֹי אֹמֵ֤ר לָעֵץ֙ הָקִ֔יצָה ע֖וּרִי לְאֶ֣בֶן דּוּמָ֑ם ה֣וּא יוֹרֶ֔ה הִנֵּה־ה֗וּא תָּפוּשׂ֙ זָהָ֣ב וָכֶ֔סֶף וְכָל־ר֖וּחַ אֵ֥ין בְּקִרְבּֽוֹ׃ | 19 |
Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’ agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’ Kino kisobola okuluŋŋamya? Kibikiddwa zaabu ne ffeeza, so tekiriimu bulamu n’akatono.
וַֽיהוָ֖ה בְּהֵיכַ֣ל קָדְשׁ֑וֹ הַ֥ס מִפָּנָ֖יו כָּל־הָאָֽרֶץ׃ פ | 20 |
Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”