< תְהִלִּים 92 >
מִזְמֹ֥ור שִׁ֗יר לְיֹ֣ום הַשַּׁבָּֽת׃ טֹ֗וב לְהֹדֹ֥ות לַיהוָ֑ה וּלְזַמֵּ֖ר לְשִׁמְךָ֣ עֶלְיֹֽון׃ | 1 |
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti. Kirungi okwebazanga Mukama, n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
לְהַגִּ֣יד בַּבֹּ֣קֶר חַסְֽדֶּ֑ךָ וֶ֝אֱמֽוּנָתְךָ֗ בַּלֵּילֹֽות׃ | 2 |
okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya, n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
עֲֽלֵי־עָ֭שֹׂור וַעֲלֵי־נָ֑בֶל עֲלֵ֖י הִגָּיֹ֣ון בְּכִנֹּֽור׃ | 3 |
Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga n’endere awamu n’entongooli.
כִּ֤י שִׂמַּחְתַּ֣נִי יְהוָ֣ה בְּפָעֳלֶ֑ךָ בְּֽמַעֲשֵׂ֖י יָדֶ֣יךָ אֲרַנֵּֽן׃ | 4 |
Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza; kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
מַה־גָּדְל֣וּ מַעֲשֶׂ֣יךָ יְהוָ֑ה מְ֝אֹ֗ד עָמְק֥וּ מַחְשְׁבֹתֶֽיךָ׃ | 5 |
Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama; ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
אִֽישׁ־בַּ֭עַר לֹ֣א יֵדָ֑ע וּ֝כְסִ֗יל לֹא־יָבִ֥ין אֶת־זֹֽאת׃ | 6 |
Omuntu atalina magezi tamanyi; n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
בִּפְרֹ֤חַ רְשָׁעִ֨ים ׀ כְּמֹ֥ו עֵ֗שֶׂב וַ֭יָּצִיצוּ כָּל־פֹּ֣עֲלֵי אָ֑וֶן לְהִשָּֽׁמְדָ֥ם עֲדֵי־עַֽד׃ | 7 |
newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo, n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi, boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
וְאַתָּ֥ה מָרֹ֗ום לְעֹלָ֥ם יְהוָֽה׃ | 8 |
Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.
כִּ֤י הִנֵּ֪ה אֹיְבֶ֡יךָ ׀ יְֽהוָ֗ה כִּֽי־הִנֵּ֣ה אֹיְבֶ֣יךָ יֹאבֵ֑דוּ יִ֝תְפָּרְד֗וּ כָּל־פֹּ֥עֲלֵי אָֽוֶן׃ | 9 |
Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama, abalabe bo balizikirira, abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
וַתָּ֣רֶם כִּרְאֵ֣ים קַרְנִ֑י בַּ֝לֹּתִ֗י בְּשֶׁ֣מֶן רַעֲנָֽן׃ | 10 |
Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo, n’onfukako amafuta amalungi.
וַתַּבֵּ֥ט עֵינִ֗י בְּשׁ֫וּרָ֥י בַּקָּמִ֖ים עָלַ֥י מְרֵעִ֗ים תִּשְׁמַ֥עְנָה אָזְנָֽי׃ | 11 |
Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange; n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.
צַ֭דִּיק כַּתָּמָ֣ר יִפְרָ֑ח כְּאֶ֖רֶז בַּלְּבָנֹ֣ון יִשְׂגֶּֽה׃ | 12 |
Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu, ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
שְׁ֭תוּלִים בְּבֵ֣ית יְהוָ֑ה בְּחַצְרֹ֖ות אֱלֹהֵ֣ינוּ יַפְרִֽיחוּ׃ | 13 |
Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama. Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
עֹ֖וד יְנוּב֣וּן בְּשֵׂיבָ֑ה דְּשֵׁנִ֖ים וְרַֽעֲנַנִּ֣ים יִהְיֽוּ׃ | 14 |
Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala; baliba balamu era abagimu,
לְ֭הַגִּיד כִּֽי־יָשָׁ֣ר יְהוָ֑ה צ֝וּרִ֗י וְֽלֹא־עֹלָתָה (עַוְלָ֥תָה) בֹּֽו׃ | 15 |
kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima, lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.