< תְהִלִּים 58 >
לַמְנַצֵּ֥חַ אַל־תַּשְׁחֵ֗ת לְדָוִ֥ד מִכְתָּֽם׃ הַֽאֻמְנָ֗ם אֵ֣לֶם צֶ֭דֶק תְּדַבֵּר֑וּן מֵישָׁרִ֥ים תִּ֝שְׁפְּט֗וּ בְּנֵ֣י אָדָֽם׃ | 1 |
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi. Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi? Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
אַף־בְּלֵב֮ עֹולֹ֪ת תִּפְעָ֫ל֥וּן בָּאָ֡רֶץ חֲמַ֥ס יְ֝דֵיכֶ֗ם תְּפַלֵּֽסֽוּן׃ | 2 |
Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe; era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.
זֹ֣רוּ רְשָׁעִ֣ים מֵרָ֑חֶם תָּע֥וּ מִ֝בֶּ֗טֶן דֹּבְרֵ֥י כָזָֽב׃ | 3 |
Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa, bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
חֲמַת־לָ֗מֹו כִּדְמ֥וּת חֲמַת־נָחָ֑שׁ כְּמֹו־פֶ֥תֶן חֵ֝רֵ֗שׁ יַאְטֵ֥ם אָזְנֹֽו׃ | 4 |
Balina obusagwa ng’obw’omusota; bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
אֲשֶׁ֣ר לֹא־יִ֭שְׁמַע לְקֹ֣ול מְלַחֲשִׁ֑ים חֹובֵ֖ר חֲבָרִ֣ים מְחֻכָּֽם׃ | 5 |
n’etawulira na luyimba lwa mukugu agisendasenda okugikwata.
אֱֽלֹהִ֗ים הֲרָס־שִׁנֵּ֥ימֹו בְּפִ֑ימֹו מַלְתְּעֹ֥ות כְּ֝פִירִ֗ים נְתֹ֣ץ ׀ יְהוָֽה׃ | 6 |
Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe; owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
יִמָּאֲס֣וּ כְמֹו־מַ֭יִם יִתְהַלְּכוּ־לָ֑מֹו יִדְרֹ֥ךְ חִצֹּו (חִ֝צָּ֗יו) כְּמֹ֣ו יִתְמֹלָֽלוּ׃ | 7 |
Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda. Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
כְּמֹ֣ו שַׁ֭בְּלוּל תֶּ֣מֶס יַהֲלֹ֑ךְ נֵ֥פֶל אֵ֝֗שֶׁת בַּל־חָ֥זוּ שָֽׁמֶשׁ׃ | 8 |
Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo. Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!
בְּטֶ֤רֶם יָבִ֣ינוּ סִּֽירֹתֵיכֶ֣ם אָטָ֑ד כְּמֹו־חַ֥י כְּמֹו־חָ֝רֹ֗ון יִשְׂעָרֶֽנּוּ׃ | 9 |
Nga n’entamu tennabuguma, alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
יִשְׂמַ֣ח צַ֭דִּיק כִּי־חָזָ֣ה נָקָ֑ם פְּעָמָ֥יו יִ֝רְחַ֗ץ בְּדַ֣ם הָרָשָֽׁע׃ | 10 |
Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga, olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
וְיֹאמַ֣ר אָ֭דָם אַךְ־פְּרִ֣י לַצַּדִּ֑יק אַ֥ךְ יֵשׁ־אֱ֝לֹהִ֗ים שֹׁפְטִ֥ים בָּאָֽרֶץ׃ | 11 |
Awo abantu bonna balyogera nti, “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa. Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”