< מִשְׁלֵי 18 >
לְֽ֭תַאֲוָה יְבַקֵּ֣שׁ נִפְרָ֑ד בְּכָל־תּ֝וּשִׁיָּ֗ה יִתְגַּלָּֽע׃ | 1 |
Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka, era tawuliriza magezi gamuweebwa.
לֹֽא־יַחְפֹּ֣ץ כְּ֭סִיל בִּתְבוּנָ֑ה כִּ֝֗י אִֽם־בְּהִתְגַּלֹּ֥ות לִבֹּֽו׃ | 2 |
Omusirusiru tasanyukira kutegeera, ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.
בְּֽבֹוא־רָ֭שָׁע בָּ֣א גַם־בּ֑וּז וְֽעִם־קָלֹ֥ון חֶרְפָּֽה׃ | 3 |
Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako, era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.
מַ֣יִם עֲ֭מֻקִּים דִּבְרֵ֣י פִי־אִ֑ישׁ נַ֥חַל נֹ֝בֵ֗עַ מְקֹ֣ור חָכְמָֽה׃ | 4 |
Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba, naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.
שְׂאֵ֣ת פְּנֵי־רָשָׁ֣ע לֹא־טֹ֑וב לְהַטֹּ֥ות צַ֝דִּ֗יק בַּמִּשְׁפָּֽט׃ | 5 |
Si kirungi kuttira mubi ku liiso, oba okusaliriza omutuukirivu.
שִׂפְתֵ֣י כְ֭סִיל יָבֹ֣אֽוּ בְרִ֑יב וּ֝פִ֗יו לְֽמַהֲלֻמֹ֥ות יִקְרָֽא׃ | 6 |
Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.
פִּֽי־כְ֭סִיל מְחִתָּה־לֹ֑ו וּ֝שְׂפָתָ֗יו מֹוקֵ֥שׁ נַפְשֹֽׁו׃ | 7 |
Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira, era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.
דִּבְרֵ֣י נִ֭רְגָּן כְּמִֽתְלַהֲמִ֑ים וְ֝הֵ֗ם יָרְד֥וּ חַדְרֵי־בָֽטֶן׃ | 8 |
Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera, bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
גַּ֭ם מִתְרַפֶּ֣ה בִמְלַאכְתֹּ֑ו אָ֥ח ה֝֗וּא לְבַ֣עַל מַשְׁחִֽית׃ | 9 |
Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola, waluganda n’oyo azikiriza.
מִגְדַּל־עֹ֭ז שֵׁ֣ם יְהוָ֑ה בֹּֽו־יָר֖וּץ צַדִּ֣יק וְנִשְׂגָּֽב׃ | 10 |
Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi, omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.
הֹ֣ון עָ֭שִׁיר קִרְיַ֣ת עֻזֹּ֑ו וּכְחֹומָ֥ה נִ֝שְׂגָּבָ֗ה בְּמַשְׂכִּיתֹֽו׃ | 11 |
Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi, era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.
לִפְנֵי־שֶׁ֭בֶר יִגְבַּ֣הּ לֵב־אִ֑ישׁ וְלִפְנֵ֖י כָבֹ֣וד עֲנָוֽ͏ָה׃ | 12 |
Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
מֵשִׁ֣יב דָּ֭בָר בְּטֶ֣רֶם יִשְׁמָ֑ע אִוֶּ֥לֶת הִיא־לֹ֝֗ו וּכְלִמָּֽה׃ | 13 |
Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza, buba busirusiru bwe era buswavu.
רֽוּחַ־אִ֭ישׁ יְכַלְכֵּ֣ל מַחֲלֵ֑הוּ וְר֥וּחַ נְ֝כֵאָ֗ה מִ֣י יִשָּׂאֶֽנָּה׃ | 14 |
Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde, naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?
לֵ֣ב נָ֭בֹון יִקְנֶה־דָּ֑עַת וְאֹ֥זֶן חֲ֝כָמִ֗ים תְּבַקֶּשׁ־דָּֽעַת׃ | 15 |
Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya, amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.
מַתָּ֣ן אָ֭דָם יַרְחִ֣יב לֹ֑ו וְלִפְנֵ֖י גְדֹלִ֣ים יַנְחֶֽנּוּ׃ | 16 |
Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza, era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.
צַדִּ֣יק הָרִאשֹׁ֣ון בְּרִיבֹ֑ו יָבֹא־ (וּבָֽא)־רֵ֝עֵ֗הוּ וַחֲקָרֹֽו׃ | 17 |
Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu, okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.
מִ֭דְיָנִים יַשְׁבִּ֣ית הַגֹּורָ֑ל וּבֵ֖ין עֲצוּמִ֣ים יַפְרִֽיד׃ | 18 |
Okukuba akalulu kimalawo empaka, era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.
אָ֗ח נִפְשָׁ֥ע מִקִּרְיַת־עֹ֑ז וּמְדֹונִים (וּ֝מִדְיָנִ֗ים) כִּבְרִ֥יחַ אַרְמֹֽון׃ | 19 |
Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize, era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.
מִפְּרִ֣י פִי־אִ֭ישׁ תִּשְׂבַּ֣ע בִּטְנֹ֑ו תְּבוּאַ֖ת שְׂפָתָ֣יו יִשְׂבָּֽע׃ | 20 |
Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke; ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.
מָ֣וֶת וְ֭חַיִּים בְּיַד־לָשֹׁ֑ון וְ֝אֹהֲבֶ֗יהָ יֹאכַ֥ל פִּרְיָֽהּ׃ | 21 |
Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
מָצָ֣א אִ֭שָּׁה מָ֣צָא טֹ֑וב וַיָּ֥פֶק רָ֝צֹ֗ון מֵיְהוָֽה׃ | 22 |
Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi, era aganja eri Mukama.
תַּחֲנוּנִ֥ים יְדַבֶּר־רָ֑שׁ וְ֝עָשִׁ֗יר יַעֲנֶ֥ה עַזֹּֽות׃ | 23 |
Omwavu yeegayirira, naye omugagga addamu na bbogo.
אִ֣ישׁ רֵ֭עִים לְהִתְרֹעֵ֑עַ וְיֵ֥שׁ אֹ֝הֵ֗ב דָּבֵ֥ק מֵאָֽח׃ | 24 |
Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira, naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.