< זכריה 10 >
שַׁאֲלוּ מֵיְהֹוָה מָטָר בְּעֵת מַלְקוֹשׁ יְהֹוָה עֹשֶׂה חֲזִיזִים וּמְטַר־גֶּשֶׁם יִתֵּן לָהֶם לְאִישׁ עֵשֶׂב בַּשָּׂדֶֽה׃ | 1 |
Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo; kubanga Mukama y’akola ebire enkuba n’etonnya, olwo buli muntu n’afuna ebirime.
כִּי הַתְּרָפִים דִּבְּרוּ־אָוֶן וְהַקּֽוֹסְמִים חָזוּ שֶׁקֶר וַֽחֲלֹמוֹת הַשָּׁוְא יְדַבֵּרוּ הֶבֶל יְנַחֵמוּן עַל־כֵּן נָסְעוּ כְמוֹ־צֹאן יַעֲנוּ כִּי־אֵין רֹעֶֽה׃ | 2 |
Kubanga bakatonda abalala n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba; ne baloota ebirooto eby’obulimba, ne bagumya abantu eby’obulimba. Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga, nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.
עַל־הָֽרֹעִים חָרָה אַפִּי וְעַל־הָעַתּוּדִים אֶפְקוֹד כִּֽי־פָקַד יְהֹוָה צְבָאוֹת אֶת־עֶדְרוֹ אֶת־בֵּית יְהוּדָה וְשָׂם אוֹתָם כְּסוּס הוֹדוֹ בַּמִּלְחָמָֽה׃ | 3 |
“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda, kubanga Mukama ow’Eggye ajja kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda, era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.
מִמֶּנּוּ פִנָּה מִמֶּנּוּ יָתֵד מִמֶּנּוּ קֶשֶׁת מִלְחָמָה מִמֶּנּוּ יֵצֵא כׇל־נוֹגֵשׂ יַחְדָּֽו׃ | 4 |
Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda, muveemu n’enkondo enyweza weema, muveemu n’omutego ogw’akasaale era muveemu na buli mufuzi yenna.
וְהָיוּ כְגִבֹּרִים בּוֹסִים בְּטִיט חוּצוֹת בַּמִּלְחָמָה וְנִלְחֲמוּ כִּי יְהֹוָה עִמָּם וְהֹבִישׁוּ רֹכְבֵי סוּסִֽים׃ | 5 |
Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo. Kubanga Mukama ali nabo, balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.
וְגִבַּרְתִּי ׀ אֶת־בֵּית יְהוּדָה וְאֶת־בֵּית יוֹסֵף אוֹשִׁיעַ וְהֽוֹשְׁבוֹתִים כִּי רִֽחַמְתִּים וְהָיוּ כַּאֲשֶׁר לֹא־זְנַחְתִּים כִּי אֲנִי יְהֹוָה אֱלֹהֵיהֶם וְאֶעֱנֵֽם׃ | 6 |
“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi era ndiwonya ennyumba ya Yusufu, ndibakomyawo kubanga mbakwatiddwa ekisa. Balibeera nga be sseegaanangako era ndibawulira kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
וְהָיוּ כְגִבּוֹר אֶפְרַיִם וְשָׂמַח לִבָּם כְּמוֹ־יָיִן וּבְנֵיהֶם יִרְאוּ וְשָׂמֵחוּ יָגֵל לִבָּם בַּיהֹוָֽה׃ | 7 |
Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi, emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini. Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka, omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.
אֶשְׁרְקָה לָהֶם וַאֲקַבְּצֵם כִּי פְדִיתִים וְרָבוּ כְּמוֹ רָבֽוּ׃ | 8 |
Ddala ndibawonya ne mbakuŋŋaanya. Ddala ndibanunula, baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.
וְאֶזְרָעֵם בָּעַמִּים וּבַמֶּרְחַקִּים יִזְכְּרוּנִי וְחָיוּ אֶת־בְּנֵיהֶם וָשָֽׁבוּ׃ | 9 |
Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga, naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira. Bo n’abaana baabwe baliba balamu era ne bakomawo gye ndi.
וַהֲשִֽׁבוֹתִים מֵאֶרֶץ מִצְרַיִם וּמֵאַשּׁוּר אֲקַבְּצֵם וְאֶל־אֶרֶץ גִּלְעָד וּלְבָנוֹן אֲבִיאֵם וְלֹא יִמָּצֵא לָהֶֽם׃ | 10 |
Ndibakomyawo okuva mu Misiri, mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli. Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.
וְעָבַר בַּיָּם צָרָה וְהִכָּה בַיָּם גַּלִּים וְהֹבִישׁוּ כֹּל מְצוּלוֹת יְאֹר וְהוּרַד גְּאוֹן אַשּׁוּר וְשֵׁבֶט מִצְרַיִם יָסֽוּר׃ | 11 |
Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona; ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa, n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala. Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.
וְגִבַּרְתִּים בַּיהֹוָה וּבִשְׁמוֹ יִתְהַלָּכוּ נְאֻם יְהֹוָֽה׃ | 12 |
Ndibafuula ba maanyi mu Mukama era nabo balitambulira mu linnya lyange,” bw’ayogera Mukama.