< תהילים 62 >

לַמְנַצֵּחַ עַֽל־יְדוּתוּן מִזְמוֹר לְדָוִֽד׃ אַךְ אֶל־אֱלֹהִים דּֽוּמִיָּה נַפְשִׁי מִמֶּנּוּ יְשׁוּעָתִֽי׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi. Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka; oyo obulokozi bwange mwe buva.
אַךְ־הוּא צוּרִי וִישׁוּעָתִי מִשְׂגַּבִּי לֹא־אֶמּוֹט רַבָּֽה׃ 2
Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange; ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.
עַד־אָנָה ׀ תְּהוֹתְתוּ עַל־אִישׁ תְּרָצְּחוּ כֻלְּכֶם כְּקִיר נָטוּי גָּדֵר הַדְּחוּיָֽה׃ 3
Mulituusa ddi nga mulumba omuntu, mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
אַךְ מִשְּׂאֵתוֹ ׀ יָעֲצוּ לְהַדִּיחַ יִרְצוּ כָזָב בְּפִיו יְבָרֵכוּ וּבְקִרְבָּם יְקַֽלְלוּ־סֶֽלָה׃ 4
Bateesa okumuggya mu kifo kye ekinywevu, basanyukira eby’obulimba. Basaba omukisa n’emimwa gyabwe so nga munda bakolima.
אַךְ לֵאלֹהִים דּוֹמִּי נַפְשִׁי כִּֽי־מִמֶּנּוּ תִּקְוָתִֽי׃ 5
Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka; kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
אַךְ־הוּא צוּרִי וִישׁוּעָתִי מִשְׂגַּבִּי לֹא אֶמּֽוֹט׃ 6
Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
עַל־אֱלֹהִים יִשְׁעִי וּכְבוֹדִי צוּר־עֻזִּי מַחְסִי בֵּאלֹהִֽים׃ 7
Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka; ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
בִּטְחוּ בוֹ בְכׇל־עֵת ׀ עָם שִׁפְכֽוּ־לְפָנָיו לְבַבְכֶם אֱלֹהִים מַֽחֲסֶה־לָּנוּ סֶֽלָה׃ 8
Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu, mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe, kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
אַךְ ׀ הֶבֶל בְּנֵֽי־אָדָם כָּזָב בְּנֵי ־ אִישׁ בְּמֹאזְנַיִם לַעֲלוֹת הֵמָּה מֵהֶבֶל יָֽחַד׃ 9
Abaana b’abantu mukka bukka, abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere; ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani, n’omukka gubasinga okuzitowa.
אַל־תִּבְטְחוּ בְעֹשֶׁק וּבְגָזֵל אַל־תֶּהְבָּלוּ חַיִל ׀ כִּֽי־יָנוּב אַל־תָּשִׁיתוּ לֵֽב׃ 10
Temwesigamanga ku bujoozi wadde ku bintu ebibbe. Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga, era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
אַחַת ׀ דִּבֶּר אֱלֹהִים שְׁתַּֽיִם־זוּ שָׁמָעְתִּי כִּי עֹז לֵֽאלֹהִֽים׃ 11
Katonda ayogedde ekintu kimu, kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti: Katonda, oli w’amaanyi,
וּלְךָֽ־אֲדֹנָי חָסֶד כִּֽי־אַתָּה תְשַׁלֵּם לְאִישׁ כְּֽמַעֲשֵֽׂהוּ׃ 12
era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala. Ddala olisasula buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri.

< תהילים 62 >