< תהילים 5 >
לַמְנַצֵּחַ אֶֽל־הַנְּחִילוֹת מִזְמוֹר לְדָוִֽד׃ אֲמָרַי הַאֲזִינָה ׀ יְהֹוָה בִּינָה הֲגִיגִֽי׃ | 1 |
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi. Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama; olowooze ku kunyolwa kwange.
הַקְשִׁיבָה ׀ לְקוֹל שַׁוְעִי מַלְכִּי וֵאלֹהָי כִּֽי־אֵלֶיךָ אֶתְפַּלָּֽל׃ | 2 |
Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange, Ayi Kabaka wange era Katonda wange: kubanga ggwe gwe nsaba.
יְֽהֹוָה בֹּקֶר תִּשְׁמַע קוֹלִי בֹּקֶר אֶעֱרׇךְ־לְךָ וַאֲצַפֶּֽה׃ | 3 |
Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu.
כִּי ׀ לֹא אֵֽל־חָפֵץ רֶשַׁע ׀ אָתָּה לֹא יְגֻרְךָ רָֽע׃ | 4 |
Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi: n’ebitasaana tobigumiikiriza.
לֹֽא־יִתְיַצְּבוּ הוֹלְלִים לְנֶגֶד עֵינֶיךָ שָׂנֵאתָ כׇּל־פֹּעֲלֵי אָֽוֶן׃ | 5 |
Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go: kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
תְּאַבֵּד דֹּבְרֵי כָזָב אִישׁ־דָּמִים וּמִרְמָה יְתָעֵב ׀ יְהֹוָֽה׃ | 6 |
Abalimba bonna obazikiriza; Mukama akyawa abatemu era n’abalimba.
וַאֲנִי בְּרֹב חַסְדְּךָ אָבוֹא בֵיתֶךָ אֶשְׁתַּחֲוֶה אֶל־הֵֽיכַל־קׇדְשְׁךָ בְּיִרְאָתֶֽךָ׃ | 7 |
Naye olw’ekisa kyo ekingi, nze nnaayingiranga mu nnyumba yo: ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu n’okutya okungi.
יְהֹוָה ׀ נְחֵנִי בְצִדְקָתֶךָ לְמַעַן שׁוֹרְרָי (הושר) [הַיְשַׁר] לְפָנַי דַּרְכֶּֽךָ׃ | 8 |
Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo, olw’abalabe bange, ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
כִּי אֵין בְּפִיהוּ נְכוֹנָה קִרְבָּם הַוּוֹת קֶֽבֶר־פָּתוּחַ גְּרֹנָם לְשׁוֹנָם יַחֲלִיקֽוּן׃ | 9 |
Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa; emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere. Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde: akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
הַאֲשִׁימֵם ׀ אֱֽלֹהִים יִפְּלוּ מִֽמֹּעֲצוֹתֵיהֶם בְּרֹב פִּשְׁעֵיהֶם הַדִּיחֵמוֹ כִּי־מָרוּ בָֽךְ׃ | 10 |
Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda; baleke bagwe mu mitego gyabwe. Bagobe kubanga baakujeemera.
וְיִשְׂמְחוּ כׇל־חוֹסֵי בָךְ לְעוֹלָם יְרַנֵּנוּ וְתָסֵךְ עָלֵימוֹ וְֽיַעְלְצוּ בְךָ אֹהֲבֵי שְׁמֶֽךָ׃ | 11 |
Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga; ennaku zonna bayimbenga n’essanyu, obakuumenga, abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
כִּֽי־אַתָּה תְּבָרֵךְ צַדִּיק יְהֹוָה כַּצִּנָּה רָצוֹן תַּעְטְרֶֽנּוּ׃ | 12 |
Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa; era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.