< תהילים 46 >

לַמְנַצֵּחַ לִבְנֵי־קֹרַח עַֽל־עֲלָמוֹת שִֽׁיר׃ אֱלֹהִים לָנוּ מַחֲסֶה וָעֹז עֶזְרָה בְצָרוֹת נִמְצָא מְאֹֽד׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola. Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
עַל־כֵּן לֹֽא־נִירָא בְּהָמִיר אָרֶץ וּבְמוֹט הָרִים בְּלֵב יַמִּֽים׃ 2
Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga, ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
יֶהֱמוּ יֶחְמְרוּ מֵימָיו יִרְעֲשֽׁוּ הָרִים בְּגַאֲוָתוֹ סֶֽלָה׃ 3
amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
נָהָר פְּלָגָיו יְשַׂמְּחוּ עִיר־אֱלֹהִים קְדֹשׁ מִשְׁכְּנֵי עֶלְיֽוֹן׃ 4
Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
אֱלֹהִים בְּקִרְבָּהּ בַּל־תִּמּוֹט יַעְזְרֶהָ אֱלֹהִים לִפְנוֹת בֹּֽקֶר׃ 5
Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera. Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
הָמוּ גוֹיִם מָטוּ מַמְלָכוֹת נָתַן בְּקוֹלוֹ תָּמוּג אָֽרֶץ׃ 6
Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa; ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.
יְהֹוָה צְבָאוֹת עִמָּנוּ מִשְׂגָּֽב־לָנוּ אֱלֹהֵי יַֽעֲקֹב סֶֽלָה׃ 7
Mukama ow’Eggye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
לְֽכוּ־חֲזוּ מִפְעֲלוֹת יְהֹוָה אֲשֶׁר־שָׂם שַׁמּוֹת בָּאָֽרֶץ׃ 8
Mujje, mulabe Mukama by’akola, mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
מַשְׁבִּית מִלְחָמוֹת עַד־קְצֵה הָאָרֶץ קֶשֶׁת יְשַׁבֵּר וְקִצֵּץ חֲנִית עֲגָלוֹת יִשְׂרֹף בָּאֵֽשׁ׃ 9
Y’akomya entalo mu nsi yonna; akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya; amagaali n’engabo abyokya omuliro.
הַרְפּוּ וּדְעוּ כִּֽי־אָנֹכִי אֱלֹהִים אָרוּם בַּגּוֹיִם אָרוּם בָּאָֽרֶץ׃ 10
Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi.
יְהֹוָה צְבָאוֹת עִמָּנוּ מִשְׂגָּֽב־לָנוּ אֱלֹהֵי יַעֲקֹב סֶֽלָה׃ 11
Katonda ow’Eggye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

< תהילים 46 >