< תהילים 28 >
לְדָוִד אֵלֶיךָ יְהֹוָה ׀ אֶקְרָא צוּרִי אַֽל־תֶּחֱרַשׁ מִמֶּנִּי פֶּן־תֶּחֱשֶׁה מִמֶּנִּי וְנִמְשַׁלְתִּי עִם־יוֹרְדֵי בֽוֹר׃ | 1 |
Zabbuli ya Dawudi. Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange, tolema kumpuliriza; kubanga bw’onoonsiriikirira nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
שְׁמַע קוֹל תַּחֲנוּנַי בְּשַׁוְּעִי אֵלֶיךָ בְּנׇשְׂאִי יָדַי אֶל־דְּבִיר קׇדְשֶֽׁךָ׃ | 2 |
Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange, nga mpanise emikono gyange okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu, nga nkukaabirira okunnyamba.
אַל־תִּמְשְׁכֵנִי עִם־רְשָׁעִים וְעִם־פֹּעֲלֵי אָוֶן דֹּבְרֵי שָׁלוֹם עִם־רֵעֵיהֶם וְרָעָה בִּלְבָבָֽם׃ | 3 |
Tontwalira mu boonoonyi, abakola ebibi; abanyumya obulungi ne bannaabwe, so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
תֶּן־לָהֶם כְּפׇעֳלָם וּכְרֹעַ מַעַלְלֵיהֶם כְּמַעֲשֵׂה יְדֵיהֶם תֵּן לָהֶם הָשֵׁב גְּמוּלָם לָהֶֽם׃ | 4 |
Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri, n’olw’ebyambyone bye bakoze. Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza, obabonereze nga bwe basaanidde.
כִּי לֹא יָבִינוּ אֶל־פְּעֻלֹּת יְהֹוָה וְאֶל־מַעֲשֵׂה יָדָיו יֶהֶרְסֵם וְלֹא יִבְנֵֽם׃ | 5 |
Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama, oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye, alibazikiririza ddala, era talibaddiramu.
בָּרוּךְ יְהֹוָה כִּי־שָׁמַע קוֹל תַּחֲנוּנָֽי׃ | 6 |
Atenderezebwe Mukama, kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
יְהֹוָה ׀ עֻזִּי וּמָגִנִּי בּוֹ בָטַח לִבִּי וְֽנֶעֱזָרְתִּי וַיַּעֲלֹז לִבִּי וּֽמִשִּׁירִי אֲהוֹדֶֽנּוּ׃ | 7 |
Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
יְהֹוָה עֹֽז־לָמוֹ וּמָעוֹז יְשׁוּעוֹת מְשִׁיחוֹ הֽוּא׃ | 8 |
Mukama y’awa abantu be amaanyi, era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
הוֹשִׁיעָה ׀ אֶת־עַמֶּךָ וּבָרֵךְ אֶת־נַחֲלָתֶךָ וּֽרְעֵם וְנַשְּׂאֵם עַד־הָעוֹלָֽם׃ | 9 |
Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo. Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.