< תהילים 23 >
מִזְמוֹר לְדָוִד יְהֹוָה רֹעִי לֹא אֶחְסָֽר׃ | 1 |
Zabbuli ya Dawudi. Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
בִּנְאוֹת דֶּשֶׁא יַרְבִּיצֵנִי עַל־מֵי מְנֻחוֹת יְנַהֲלֵֽנִי׃ | 2 |
Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto. Antwala awali amazzi amateefu.
נַפְשִׁי יְשׁוֹבֵב יַֽנְחֵנִי בְמַעְגְּלֵי־צֶדֶק לְמַעַן שְׁמֽוֹ׃ | 3 |
Akomyawo emmeeme yange. Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu olw’erinnya lye.
גַּם כִּֽי־אֵלֵךְ בְּגֵיא צַלְמָוֶת לֹא־אִירָא רָע כִּי־אַתָּה עִמָּדִי שִׁבְטְךָ וּמִשְׁעַנְתֶּךָ הֵמָּה יְנַֽחֲמֻֽנִי׃ | 4 |
Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n’omuggo gwo bye binsanyusa.
תַּעֲרֹךְ לְפָנַי ׀ שֻׁלְחָן נֶגֶד צֹרְרָי דִּשַּׁנְתָּ בַשֶּׁמֶן רֹאשִׁי כּוֹסִי רְוָיָֽה׃ | 5 |
Onsosootolera emmere abalabe bange nga balaba; onsiize amafuta ku mutwe, ekikompe kyange kiyiwa.
אַךְ ׀ טוֹב וָחֶסֶד יִרְדְּפוּנִי כׇּל־יְמֵי חַיָּי וְשַׁבְתִּי בְּבֵית־יְהֹוָה לְאֹרֶךְ יָמִֽים׃ | 6 |
Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ez’obulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna.