< תהילים 138 >

לְדָוִד ׀ אוֹדְךָ בְכׇל־לִבִּי נֶגֶד אֱלֹהִים אֲזַמְּרֶֽךָּ׃ 1
Zabbuli Ya Dawudi. Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna; ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
אֶשְׁתַּחֲוֶה אֶל־הֵיכַל קׇדְשְׁךָ וְאוֹדֶה אֶת־שְׁמֶךָ עַל־חַסְדְּךָ וְעַל־אֲמִתֶּךָ כִּֽי־הִגְדַּלְתָּ עַל־כׇּל־שִׁמְךָ אִמְרָתֶֽךָ׃ 2
Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu, ne ntendereza erinnya lyo olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo; kubanga wagulumiza ekigambo kyo n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
בְּיוֹם קָרָֽאתִי וַֽתַּעֲנֵנִי תַּרְהִבֵנִי בְנַפְשִׁי עֹֽז׃ 3
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula; n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
יוֹדוּךָ יְהֹוָה כׇּל־מַלְכֵי־אָרֶץ כִּי שָׁמְעוּ אִמְרֵי־פִֽיךָ׃ 4
Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama, nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
וְיָשִׁירוּ בְּדַרְכֵי יְהֹוָה כִּֽי־גָדוֹל כְּבוֹד יְהֹוָֽה׃ 5
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama; kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
כִּי־רָם יְהֹוָה וְשָׁפָל יִרְאֶה וְגָבֹהַּ מִמֶּרְחָק יְיֵדָֽע׃ 6
Newaakubadde nga Mukama asukkulumye, naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
אִם־אֵלֵךְ ׀ בְּקֶרֶב צָרָה תְּחַיֵּנִי עַל אַף אֹיְבַי תִּשְׁלַח יָדֶךָ וְתוֹשִׁיעֵנִי יְמִינֶֽךָ׃ 7
Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu, naye ggwe okuuma obulamu bwange; ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe, era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
יְהֹוָה יִגְמֹר בַּעֲדִי יְהֹוָה חַסְדְּךָ לְעוֹלָם מַעֲשֵׂי יָדֶיךָ אַל־תֶּֽרֶף׃ 8
Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde; kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna. Tolekulira ebyo bye watonda.

< תהילים 138 >