< תהילים 137 >
עַל נַהֲרוֹת ׀ בָּבֶל שָׁם יָשַׁבְנוּ גַּם־בָּכִינוּ בְּזׇכְרֵנוּ אֶת־צִיּֽוֹן׃ | 1 |
Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni, ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
עַֽל־עֲרָבִים בְּתוֹכָהּ תָּלִינוּ כִּנֹּרוֹתֵֽינוּ׃ | 2 |
Ne tuwanika ennanga zaffe ku miti egyali awo.
כִּי שָׁם שְֽׁאֵלוּנוּ שׁוֹבֵינוּ דִּבְרֵי־שִׁיר וְתוֹלָלֵינוּ שִׂמְחָה שִׁירוּ לָנוּ מִשִּׁיר צִיּֽוֹן׃ | 3 |
Abaatunyaga ne batulagira okuyimba, abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka; nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”
אֵיךְ נָשִׁיר אֶת־שִׁיר־יְהֹוָה עַל אַדְמַת נֵכָֽר׃ | 4 |
Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama mu nsi eteri yaffe?
אִֽם־אֶשְׁכָּחֵךְ יְֽרוּשָׁלָ͏ִם תִּשְׁכַּח יְמִינִֽי׃ | 5 |
Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, omukono gwange ogwa ddyo gukale!
תִּדְבַּֽק־לְשׁוֹנִי ׀ לְחִכִּי אִם־לֹא אֶזְכְּרֵכִי אִם־לֹא אַעֲלֶה אֶת־יְרוּשָׁלַ͏ִם עַל רֹאשׁ שִׂמְחָתִֽי׃ | 6 |
Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange singa nkwerabira, ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako okusinga ebintu ebirala byonna.
זְכֹר יְהֹוָה ׀ לִבְנֵי אֱדוֹם אֵת יוֹם יְֽרוּשָׁלָ͏ִם הָאֹמְרִים עָרוּ ׀ עָרוּ עַד הַיְסוֹד בָּֽהּ׃ | 7 |
Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola, ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa; ne baleekaana nti, “Kisuule, kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
בַּת־בָּבֶל הַשְּׁדוּדָה אַשְׁרֵי שֶׁיְשַׁלֶּם־לָךְ אֶת־גְּמוּלֵךְ שֶׁגָּמַלְתְּ לָֽנוּ׃ | 8 |
Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa, yeesiimye oyo alikusasula ebyo nga naawe bye watukola.
אַשְׁרֵי ׀ שֶׁיֹּאחֵז וְנִפֵּץ אֶֽת־עֹלָלַיִךְ אֶל־הַסָּֽלַע׃ | 9 |
Yeesiimye oyo aliddira abaana bo n’ababetentera ku lwazi.