< במדבר 26 >

וַיְהִי אַחֲרֵי הַמַּגֵּפָה וַיֹּאמֶר יְהֹוָה אֶל־מֹשֶׁה וְאֶל אֶלְעָזָר בֶּן־אַהֲרֹן הַכֹּהֵן לֵאמֹֽר׃ 1
Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti,
שְׂאוּ אֶת־רֹאשׁ ׀ כׇּל־עֲדַת בְּנֵי־יִשְׂרָאֵל מִבֶּן עֶשְׂרִים שָׁנָה וָמַעְלָה לְבֵית אֲבֹתָם כׇּל־יֹצֵא צָבָא בְּיִשְׂרָאֵֽל׃ 2
“Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.”
וַיְדַבֵּר מֹשֶׁה וְאֶלְעָזָר הַכֹּהֵן אֹתָם בְּעַֽרְבֹת מוֹאָב עַל־יַרְדֵּן יְרֵחוֹ לֵאמֹֽר׃ 3
Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti,
מִבֶּן עֶשְׂרִים שָׁנָה וָמָעְלָה כַּאֲשֶׁר צִוָּה יְהֹוָה אֶת־מֹשֶׁה וּבְנֵי יִשְׂרָאֵל הַיֹּצְאִים מֵאֶרֶץ מִצְרָֽיִם׃ 4
“Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.” Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri:
רְאוּבֵן בְּכוֹר יִשְׂרָאֵל בְּנֵי רְאוּבֵן חֲנוֹךְ מִשְׁפַּחַת הַחֲנֹכִי לְפַלּוּא מִשְׁפַּחַת הַפַּלֻּאִֽי׃ 5
Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano: abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki; abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;
לְחֶצְרֹן מִשְׁפַּחַת הַֽחֶצְרוֹנִי לְכַרְמִי מִשְׁפַּחַת הַכַּרְמִֽי׃ 6
abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni; abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת הָראוּבֵנִי וַיִּהְיוּ פְקֻדֵיהֶם שְׁלֹשָׁה וְאַרְבָּעִים אֶלֶף וּשְׁבַע מֵאוֹת וּשְׁלֹשִֽׁים׃ 7
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu.
וּבְנֵי פַלּוּא אֱלִיאָֽב׃ 8
Mutabani wa Palu yali Eriyaabu,
וּבְנֵי אֱלִיאָב נְמוּאֵל וְדָתָן וַאֲבִירָם הֽוּא־דָתָן וַאֲבִירָם (קרואי) [קְרִיאֵי] הָעֵדָה אֲשֶׁר הִצּוּ עַל־מֹשֶׁה וְעַֽל־אַהֲרֹן בַּעֲדַת־קֹרַח בְּהַצֹּתָם עַל־יְהֹוָֽה׃ 9
ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda.
וַתִּפְתַּח הָאָרֶץ אֶת־פִּיהָ וַתִּבְלַע אֹתָם וְאֶת־קֹרַח בְּמוֹת הָעֵדָה בַּאֲכֹל הָאֵשׁ אֵת חֲמִשִּׁים וּמָאתַיִם אִישׁ וַיִּהְיוּ לְנֵֽס׃ 10
Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu.
וּבְנֵי־קֹרַח לֹא־מֵֽתוּ׃ 11
Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.
בְּנֵי שִׁמְעוֹן לְמִשְׁפְּחֹתָם לִנְמוּאֵל מִשְׁפַּחַת הַנְּמוּאֵלִי לְיָמִין מִשְׁפַּחַת הַיָּמִינִי לְיָכִין מִשְׁפַּחַת הַיָּכִינִֽי׃ 12
Ab’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Nemweri, lwe lunyiriri lw’Abanemweri; abaava mu Yamini, lwe lunyiriri lw’Abayamini; abaava mu Yakini, lwe lunyiriri lw’Abayakini;
לְזֶרַח מִשְׁפַּחַת הַזַּרְחִי לְשָׁאוּל מִשְׁפַּחַת הַשָּׁאוּלִֽי׃ 13
abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera; abaava mu Sawuli, lwe lunyiriri lw’Abasawuli.
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת הַשִּׁמְעֹנִי שְׁנַיִם וְעֶשְׂרִים אֶלֶף וּמָאתָֽיִם׃ 14
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri.
בְּנֵי גָד לְמִשְׁפְּחֹתָם לִצְפוֹן מִשְׁפַּחַת הַצְּפוֹנִי לְחַגִּי מִשְׁפַּחַת הַֽחַגִּי לְשׁוּנִי מִשְׁפַּחַת הַשּׁוּנִֽי׃ 15
Ab’omu kika kya Gaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Zefoni, lwe lunyiriri lw’Abazefoni; abaava mu Kagi, lwe lunyiriri lw’Abakagi; abaava mu Suni, lwe lunyiriri lw’Abasuni;
לְאׇזְנִי מִשְׁפַּחַת הָאׇזְנִי לְעֵרִי מִשְׁפַּחַת הָעֵרִֽי׃ 16
abaava mu Ozeni, lwe lunyiriri lw’Abaozeni; abaava mu Eri, lwe lunyiriri lw’Abaeri;
לַאֲרוֹד מִשְׁפַּחַת הָאֲרוֹדִי לְאַרְאֵלִי מִשְׁפַּחַת הָאַרְאֵלִֽי׃ 17
abaava mu Alodi, lwe lunyiriri lw’Abaalodi; abaava mu Aleri, lwe lunyiriri lw’Abaaleri.
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת בְּנֵֽי־גָד לִפְקֻדֵיהֶם אַרְבָּעִים אֶלֶף וַחֲמֵשׁ מֵאֽוֹת׃ 18
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano.
בְּנֵי יְהוּדָה עֵר וְאוֹנָן וַיָּמׇת עֵר וְאוֹנָן בְּאֶרֶץ כְּנָֽעַן׃ 19
Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.
וַיִּהְיוּ בְנֵי־יְהוּדָה לְמִשְׁפְּחֹתָם לְשֵׁלָה מִשְׁפַּחַת הַשֵּׁלָנִי לְפֶרֶץ מִשְׁפַּחַת הַפַּרְצִי לְזֶרַח מִשְׁפַּחַת הַזַּרְחִֽי׃ 20
Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera; abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi; abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera.
וַיִּהְיוּ בְנֵי־פֶרֶץ לְחֶצְרֹן מִשְׁפַּחַת הַֽחֶצְרֹנִי לְחָמוּל מִשְׁפַּחַת הֶחָמוּלִֽי׃ 21
Bazzukulu ba Pereezi be bano: abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli.
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת יְהוּדָה לִפְקֻדֵיהֶם שִׁשָּׁה וְשִׁבְעִים אֶלֶף וַחֲמֵשׁ מֵאֽוֹת׃ 22
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano.
בְּנֵי יִשָּׂשכָר לְמִשְׁפְּחֹתָם תּוֹלָע מִשְׁפַּחַת הַתּוֹלָעִי לְפֻוָה מִשְׁפַּחַת הַפּוּנִֽי׃ 23
Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola; abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva;
לְיָשׁוּב מִשְׁפַּחַת הַיָּשֻׁבִי לְשִׁמְרֹן מִשְׁפַּחַת הַשִּׁמְרֹנִֽי׃ 24
abaava mu Yasubu, lwe lunyiriri lw’Abayasubu; abaava mu Simuloni, lwe lunyiriri lw’Abasimuloni
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת יִשָּׂשכָר לִפְקֻדֵיהֶם אַרְבָּעָה וְשִׁשִּׁים אֶלֶף וּשְׁלֹשׁ מֵאֽוֹת׃ 25
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu.
בְּנֵי זְבוּלֻן לְמִשְׁפְּחֹתָם לְסֶרֶד מִשְׁפַּחַת הַסַּרְדִּי לְאֵלוֹן מִשְׁפַּחַת הָאֵלֹנִי לְיַחְלְאֵל מִשְׁפַּחַת הַיַּחְלְאֵלִֽי׃ 26
Ab’omu kika kya Zebbulooni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Seredi, lwe lunyiriri lw’Abaseredi; abaava mu Eroni, lwe lunyiriri lw’Abaeroni; abaava mu Yaleeri, lwe lunyiriri lw’Abayaleeri.
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת הַזְּבוּלֹנִי לִפְקֻדֵיהֶם שִׁשִּׁים אֶלֶף וַחֲמֵשׁ מֵאֽוֹת׃ 27
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano.
בְּנֵי יוֹסֵף לְמִשְׁפְּחֹתָם מְנַשֶּׁה וְאֶפְרָֽיִם׃ 28
Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.
בְּנֵי מְנַשֶּׁה לְמָכִיר מִשְׁפַּחַת הַמָּכִירִי וּמָכִיר הוֹלִיד אֶת־גִּלְעָד לְגִלְעָד מִשְׁפַּחַת הַגִּלְעָדִֽי׃ 29
Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi. Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.
אֵלֶּה בְּנֵי גִלְעָד אִיעֶזֶר מִשְׁפַּחַת הָאִֽיעֶזְרִי לְחֵלֶק מִשְׁפַּחַת הַֽחֶלְקִֽי׃ 30
Ab’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri, abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki;
וְאַשְׂרִיאֵל מִשְׁפַּחַת הָאַשְׂרִֽאֵלִי וְשֶׁכֶם מִשְׁפַּחַת הַשִּׁכְמִֽי׃ 31
abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri, abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu:
וּשְׁמִידָע מִשְׁפַּחַת הַשְּׁמִידָעִי וְחֵפֶר מִשְׁפַּחַת הַֽחֶפְרִֽי׃ 32
abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida; abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi.
וּצְלׇפְחָד בֶּן־חֵפֶר לֹא־הָיוּ לוֹ בָּנִים כִּי אִם־בָּנוֹת וְשֵׁם בְּנוֹת צְלׇפְחָד מַחְלָה וְנֹעָה חׇגְלָה מִלְכָּה וְתִרְצָֽה׃ 33
Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת מְנַשֶּׁה וּפְקֻדֵיהֶם שְׁנַיִם וַחֲמִשִּׁים אֶלֶף וּשְׁבַע מֵאֽוֹת׃ 34
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu.
אֵלֶּה בְנֵי־אֶפְרַיִם לְמִשְׁפְּחֹתָם לְשׁוּתֶלַח מִשְׁפַּחַת הַשֻּׁתַלְחִי לְבֶכֶר מִשְׁפַּחַת הַבַּכְרִי לְתַחַן מִשְׁפַּחַת הַֽתַּחֲנִֽי׃ 35
Ab’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Susera, lwe lunyiriri lw’Abasusera; abaava mu Bekeri, lwe lunyiriri lw’Ababekeri; abaava mu Takani, lwe lunyiriri lw’Abatakani.
וְאֵלֶּה בְּנֵי שׁוּתָלַח לְעֵרָן מִשְׁפַּחַת הָעֵרָנִֽי׃ 36
Bano be bazzukulu ba Susera: abaava mu Erani, lwe lunyiriri lw’Abaerani.
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת בְּנֵי־אֶפְרַיִם לִפְקֻדֵיהֶם שְׁנַיִם וּשְׁלֹשִׁים אֶלֶף וַחֲמֵשׁ מֵאוֹת אֵלֶּה בְנֵי־יוֹסֵף לְמִשְׁפְּחֹתָֽם׃ 37
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano. Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.
בְּנֵי בִנְיָמִן לְמִשְׁפְּחֹתָם לְבֶלַע מִשְׁפַּחַת הַבַּלְעִי לְאַשְׁבֵּל מִשְׁפַּחַת הָֽאַשְׁבֵּלִי לַאֲחִירָם מִשְׁפַּחַת הָאֲחִירָמִֽי׃ 38
Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera; abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu
לִשְׁפוּפָם מִשְׁפַּחַת הַשּׁוּפָמִי לְחוּפָם מִשְׁפַּחַת הַחוּפָמִֽי׃ 39
abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu; abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu.
וַיִּהְיוּ בְנֵי־בֶלַע אַרְדְּ וְנַעֲמָן מִשְׁפַּחַת הָֽאַרְדִּי לְנַֽעֲמָן מִשְׁפַּחַת הַֽנַּעֲמִֽי׃ 40
Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda; abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani.
אֵלֶּה בְנֵי־בִנְיָמִן לְמִשְׁפְּחֹתָם וּפְקֻדֵיהֶם חֲמִשָּׁה וְאַרְבָּעִים אֶלֶף וְשֵׁשׁ מֵאֽוֹת׃ 41
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga.
אֵלֶּה בְנֵי־דָן לְמִשְׁפְּחֹתָם לְשׁוּחָם מִשְׁפַּחַת הַשּׁוּחָמִי אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת דָּן לְמִשְׁפְּחֹתָֽם׃ 42
Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu. Abo be baava mu Ddaani.
כׇּל־מִשְׁפְּחֹת הַשּׁוּחָמִי לִפְקֻדֵיהֶם אַרְבָּעָה וְשִׁשִּׁים אֶלֶף וְאַרְבַּע מֵאֽוֹת׃ 43
Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina.
בְּנֵי אָשֵׁר לְמִשְׁפְּחֹתָם לְיִמְנָה מִשְׁפַּחַת הַיִּמְנָה לְיִשְׁוִי מִשְׁפַּחַת הַיִּשְׁוִי לִבְרִיעָה מִשְׁפַּחַת הַבְּרִיעִֽי׃ 44
Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna; abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi; abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya.
לִבְנֵי בְרִיעָה לְחֶבֶר מִשְׁפַּחַת הַֽחֶבְרִי לְמַלְכִּיאֵל מִשְׁפַּחַת הַמַּלְכִּיאֵלִֽי׃ 45
Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino: abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi; abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri.
וְשֵׁם בַּת־אָשֵׁר שָֽׂרַח׃ 46
Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת בְּנֵי־אָשֵׁר לִפְקֻדֵיהֶם שְׁלֹשָׁה וַחֲמִשִּׁים אֶלֶף וְאַרְבַּע מֵאֽוֹת׃ 47
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina.
בְּנֵי נַפְתָּלִי לְמִשְׁפְּחֹתָם לְיַחְצְאֵל מִשְׁפַּחַת הַיַּחְצְאֵלִי לְגוּנִי מִשְׁפַּחַת הַגּוּנִֽי׃ 48
Ab’omu kika kya Nafutaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Yazeeri, lwe lunyiriri lw’Abayazeeri, abaava mu Guni, lwe lunyiriri lw’Abaguni
לְיֵצֶר מִשְׁפַּחַת הַיִּצְרִי לְשִׁלֵּם מִשְׁפַּחַת הַשִּׁלֵּמִֽי׃ 49
abaava mu Yezeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri; abaava mu Siremu, lwe lunyiriri lw’Abasiremu.
אֵלֶּה מִשְׁפְּחֹת נַפְתָּלִי לְמִשְׁפְּחֹתָם וּפְקֻדֵיהֶם חֲמִשָּׁה וְאַרְבָּעִים אֶלֶף וְאַרְבַּע מֵאֽוֹת׃ 50
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina.
אֵלֶּה פְּקוּדֵי בְּנֵי יִשְׂרָאֵל שֵׁשׁ־מֵאוֹת אֶלֶף וָאָלֶף שְׁבַע מֵאוֹת וּשְׁלֹשִֽׁים׃ 51
Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu.
וַיְדַבֵּר יְהֹוָה אֶל־מֹשֶׁה לֵּאמֹֽר׃ 52
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
לָאֵלֶּה תֵּחָלֵק הָאָרֶץ בְּנַחֲלָה בְּמִסְפַּר שֵׁמֽוֹת׃ 53
“Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli.
לָרַב תַּרְבֶּה נַחֲלָתוֹ וְלַמְעַט תַּמְעִיט נַחֲלָתוֹ אִישׁ לְפִי פְקֻדָיו יֻתַּן נַחֲלָתֽוֹ׃ 54
Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi.
אַךְ־בְּגוֹרָל יֵחָלֵק אֶת־הָאָרֶץ לִשְׁמוֹת מַטּוֹת־אֲבֹתָם יִנְחָֽלוּ׃ 55
Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo.
עַל־פִּי הַגּוֹרָל תֵּחָלֵק נַחֲלָתוֹ בֵּין רַב לִמְעָֽט׃ 56
Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”
וְאֵלֶּה פְקוּדֵי הַלֵּוִי לְמִשְׁפְּחֹתָם לְגֵרְשׁוֹן מִשְׁפַּחַת הַגֵּרְשֻׁנִּי לִקְהָת מִשְׁפַּחַת הַקְּהָתִי לִמְרָרִי מִשְׁפַּחַת הַמְּרָרִֽי׃ 57
Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali: abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni; abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi; abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.
אֵלֶּה ׀ מִשְׁפְּחֹת לֵוִי מִשְׁפַּחַת הַלִּבְנִי מִשְׁפַּחַת הַֽחֶבְרֹנִי מִשְׁפַּחַת הַמַּחְלִי מִשְׁפַּחַת הַמּוּשִׁי מִשְׁפַּחַת הַקׇּרְחִי וּקְהָת הוֹלִד אֶת־עַמְרָֽם׃ 58
Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi: olunyiriri lw’Ababalibuni, olunyiriri lw’Abakebbulooni, olunyiriri lw’Abamakuli, olunyiriri lw’Abamusi, n’olunyiriri lw’Abakoola. Kokasi yazaala Amulaamu.
וְשֵׁם ׀ אֵשֶׁת עַמְרָם יוֹכֶבֶד בַּת־לֵוִי אֲשֶׁר יָלְדָה אֹתָהּ לְלֵוִי בְּמִצְרָיִם וַתֵּלֶד לְעַמְרָם אֶֽת־אַהֲרֹן וְאֶת־מֹשֶׁה וְאֵת מִרְיָם אֲחֹתָֽם׃ 59
Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu.
וַיִּוָּלֵד לְאַהֲרֹן אֶת־נָדָב וְאֶת־אֲבִיהוּא אֶת־אֶלְעָזָר וְאֶת־אִיתָמָֽר׃ 60
Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
וַיָּמׇת נָדָב וַאֲבִיהוּא בְּהַקְרִיבָם אֵשׁ־זָרָה לִפְנֵי יְהֹוָֽה׃ 61
Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.
וַיִּהְיוּ פְקֻדֵיהֶם שְׁלֹשָׁה וְעֶשְׂרִים אֶלֶף כׇּל־זָכָר מִבֶּן־חֹדֶשׁ וָמָעְלָה כִּי ׀ לֹא הׇתְפָּקְדוּ בְּתוֹךְ בְּנֵי יִשְׂרָאֵל כִּי לֹא־נִתַּן לָהֶם נַחֲלָה בְּתוֹךְ בְּנֵי יִשְׂרָאֵֽל׃ 62
Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu. Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.
אֵלֶּה פְּקוּדֵי מֹשֶׁה וְאֶלְעָזָר הַכֹּהֵן אֲשֶׁר פָּֽקְדוּ אֶת־בְּנֵי יִשְׂרָאֵל בְּעַֽרְבֹת מוֹאָב עַל יַרְדֵּן יְרֵחֽוֹ׃ 63
Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
וּבְאֵלֶּה לֹא־הָיָה אִישׁ מִפְּקוּדֵי מֹשֶׁה וְאַהֲרֹן הַכֹּהֵן אֲשֶׁר פָּקְדוּ אֶת־בְּנֵי יִשְׂרָאֵל בְּמִדְבַּר סִינָֽי׃ 64
Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi.
כִּֽי־אָמַר יְהֹוָה לָהֶם מוֹת יָמֻתוּ בַּמִּדְבָּר וְלֹא־נוֹתַר מֵהֶם אִישׁ כִּי אִם־כָּלֵב בֶּן־יְפֻנֶּה וִיהוֹשֻׁעַ בִּן־נֽוּן׃ 65
Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.

< במדבר 26 >