< מיכה 6 >

שִׁמְעוּ־נָא אֵת אֲשֶׁר־יְהֹוָה אֹמֵר קוּם רִיב אֶת־הֶהָרִים וְתִשְׁמַעְנָה הַגְּבָעוֹת קוֹלֶֽךָ׃ 1
Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti, “Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi, n’obusozi buwulire bye mugamba.
שִׁמְעוּ הָרִים אֶת־רִיב יְהֹוָה וְהָאֵתָנִים מוֹסְדֵי אָרֶץ כִּי רִיב לַֽיהֹוָה עִם־עַמּוֹ וְעִם־יִשְׂרָאֵל יִתְוַכָּֽח׃ 2
“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana; nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire. Mukama alina ensonga ku bantu be era agenda kuwawabira Isirayiri.
עַמִּי מֶה־עָשִׂיתִי לְךָ וּמָה הֶלְאֵתִיךָ עֲנֵה בִֽי׃ 3
“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze? Nnali mbazitooweredde? Munziremu.
כִּי הֶעֱלִתִיךָ מֵאֶרֶץ מִצְרַיִם וּמִבֵּית עֲבָדִים פְּדִיתִיךָ וָאֶשְׁלַח לְפָנֶיךָ אֶת־מֹשֶׁה אַהֲרֹן וּמִרְיָֽם׃ 4
Nabaggya mu nsi ye Misiri ne mbanunula mu nsi ey’obuddu, ne mbawa Musa, ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.
עַמִּי זְכׇר־נָא מַה־יָּעַץ בָּלָק מֶלֶךְ מוֹאָב וּמֶה־עָנָה אֹתוֹ בִּלְעָם בֶּן־בְּעוֹר מִן־הַשִּׁטִּים עַד־הַגִּלְגָּל לְמַעַן דַּעַת צִדְקוֹת יְהֹוָֽה׃ 5
Mmwe abantu bange mujjukire ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera. Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”
בַּמָּה אֲקַדֵּם יְהֹוָה אִכַּף לֵאלֹהֵי מָרוֹם הַאֲקַדְּמֶנּוּ בְעוֹלוֹת בַּעֲגָלִים בְּנֵי שָׁנָֽה׃ 6
Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa? Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
הֲיִרְצֶה יְהֹוָה בְּאַלְפֵי אֵילִים בְּרִֽבְבוֹת נַחֲלֵי־שָׁמֶן הַאֶתֵּן בְּכוֹרִי פִּשְׁעִי פְּרִי בִטְנִי חַטַּאת נַפְשִֽׁי׃ 7
Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi, oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta? Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange, nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
הִגִּיד לְךָ אָדָם מַה־טּוֹב וּמָֽה־יְהֹוָה דּוֹרֵשׁ מִמְּךָ כִּי אִם־עֲשׂוֹת מִשְׁפָּט וְאַהֲבַת חֶסֶד וְהַצְנֵעַ לֶכֶת עִם־אֱלֹהֶֽיךָ׃ 8
Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
קוֹל יְהֹוָה לָעִיר יִקְרָא וְתוּשִׁיָּה יִרְאֶה שְׁמֶךָ שִׁמְעוּ מַטֶּה וּמִי יְעָדָֽהּ׃ 9
Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka. “Kya magezi ddala okutya erinnya lye, n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.
עוֹד הַאִשׁ בֵּית רָשָׁע אֹצְרוֹת רֶשַׁע וְאֵיפַת רָזוֹן זְעוּמָֽה׃ 10
Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira, mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu, erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?
הַאֶזְכֶּה בְּמֹאזְנֵי רֶשַׁע וּבְכִיס אַבְנֵי מִרְמָֽה׃ 11
Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse, alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?
אֲשֶׁר עֲשִׁירֶיהָ מָלְאוּ חָמָס וְיֹשְׁבֶיהָ דִּבְּרוּ־שָׁקֶר וּלְשׁוֹנָם רְמִיָּה בְּפִיהֶֽם׃ 12
Abagagga baakyo bakambwe n’abatuuze baamu balimba n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.
וְגַם־אֲנִי הֶֽחֱלֵיתִי הַכּוֹתֶךָ הַשְׁמֵם עַל־חַטֹּאתֶֽךָ׃ 13
Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza, nkumalewo olw’ebibi byo.
אַתָּה תֹאכַל וְלֹא תִשְׂבָּע וְיֶשְׁחֲךָ בְּקִרְבֶּךָ וְתַסֵּג וְלֹא תַפְלִיט וַאֲשֶׁר תְּפַלֵּט לַחֶרֶב אֶתֵּֽן׃ 14
Onoolyanga, naye n’otokutta, era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja. Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.
אַתָּה תִזְרַע וְלֹא תִקְצוֹר אַתָּה תִדְרֹֽךְ־זַיִת וְלֹא־תָסוּךְ שֶׁמֶן וְתִירוֹשׁ וְלֹא תִשְׁתֶּה־יָּֽיִן׃ 15
Olisiga naye tolikungula, oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako, olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.
וְיִשְׁתַּמֵּר חֻקּוֹת עׇמְרִי וְכֹל מַעֲשֵׂה בֵית־אַחְאָב וַתֵּלְכוּ בְּמֹעֲצוֹתָם לְמַעַן תִּתִּי אֹתְךָ לְשַׁמָּה וְיֹשְׁבֶיהָ לִשְׁרֵקָה וְחֶרְפַּת עַמִּי תִּשָּֽׂאוּ׃ 16
Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu n’ogoberera n’emizizo gyabwe, kyendiva nkufuula ekifulukwa, n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa era olibaako ekivume ky’amawanga.”

< מיכה 6 >