< ישעה 9 >

כִּי לֹא מוּעָף לַאֲשֶׁר מוּצָק לָהּ כָּעֵת הָרִאשׁוֹן הֵקַל אַרְצָה זְבֻלוּן וְאַרְצָה נַפְתָּלִי וְהָאַחֲרוֹן הִכְבִּיד דֶּרֶךְ הַיָּם עֵבֶר הַיַּרְדֵּן גְּלִיל הַגּוֹיִֽם׃ 1
Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.
הָעָם הַהֹלְכִים בַּחֹשֶׁךְ רָאוּ אוֹר גָּדוֹל יֹֽשְׁבֵי בְּאֶרֶץ צַלְמָוֶת אוֹר נָגַהּ עֲלֵיהֶֽם׃ 2
Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye ekitangaala eky’amaanyi, abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.
הִרְבִּיתָ הַגּוֹי (לא) [לוֹ] הִגְדַּלְתָּ הַשִּׂמְחָה שָׂמְחוּ לְפָנֶיךָ כְּשִׂמְחַת בַּקָּצִיר כַּאֲשֶׁר יָגִילוּ בְּחַלְּקָם שָׁלָֽל׃ 3
Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula, ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.
כִּי ׀ אֶת־עֹל סֻבֳּלוֹ וְאֵת מַטֵּה שִׁכְמוֹ שֵׁבֶט הַנֹּגֵשׂ בּוֹ הַחִתֹּתָ כְּיוֹם מִדְיָֽן׃ 4
Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa, omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga, n’ekiti eky’oku kibegabega kye, n’oluga lw’oyo amunyigiriza.
כִּי כׇל־סְאוֹן סֹאֵן בְּרַעַשׁ וְשִׂמְלָה מְגוֹלָלָה בְדָמִים וְהָיְתָה לִשְׂרֵפָה מַאֲכֹלֶת אֵֽשׁ׃ 5
Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo na buli kyambalo ekibunye omusaayi, biriba bya kwokebwa, bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.
כִּי־יֶלֶד יֻלַּד־לָנוּ בֵּן נִתַּן־לָנוּ וַתְּהִי הַמִּשְׂרָה עַל־שִׁכְמוֹ וַיִּקְרָא שְׁמוֹ פֶּלֶא יוֹעֵץ אֵל גִּבּוֹר אֲבִי־עַד שַׂר־שָׁלֽוֹם׃ 6
Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye. N’erinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
(לם רבה) [לְמַרְבֵּה] הַמִּשְׂרָה וּלְשָׁלוֹם אֵֽין־קֵץ עַל־כִּסֵּא דָוִד וְעַל־מַמְלַכְתּוֹ לְהָכִין אֹתָהּ וּֽלְסַעֲדָהּ בְּמִשְׁפָּט וּבִצְדָקָה מֵעַתָּה וְעַד־עוֹלָם קִנְאַת יְהֹוָה צְבָאוֹת תַּעֲשֶׂה־זֹּֽאת׃ 7
Okufuga kwe n’emirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye bulikituukiriza ekyo.
דָּבָר שָׁלַח אֲדֹנָי בְּיַעֲקֹב וְנָפַל בְּיִשְׂרָאֵֽל׃ 8
Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo, ku birituuka ku Isirayiri.
וְיָֽדְעוּ הָעָם כֻּלּוֹ אֶפְרַיִם וְיוֹשֵׁב שֹׁמְרוֹן בְּגַאֲוָה וּבְגֹדֶל לֵבָב לֵאמֹֽר׃ 9
Era abantu bonna balibumanya, Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya aboogera n’amalala n’omutima omukakanyavu,
לְבֵנִים נָפָלוּ וְגָזִית נִבְנֶה שִׁקְמִים גֻּדָּעוּ וַאֲרָזִים נַחֲלִֽיף׃ 10
nti, “Amatoffaali gagudde wansi naye tulizimbya amayinja amateme, emisukamooli gitemeddwawo naye tulizzaawo emivule.”
וַיְשַׂגֵּב יְהֹוָה אֶת־צָרֵי רְצִין עָלָיו וְאֶת־אֹיְבָיו יְסַכְסֵֽךְ׃ 11
Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe; alibakumaakuma bamulumbe.
אֲרָם מִקֶּדֶם וּפְלִשְׁתִּים מֵאָחוֹר וַיֹּאכְלוּ אֶת־יִשְׂרָאֵל בְּכׇל־פֶּה בְּכׇל־זֹאת לֹא־שָׁב אַפּוֹ וְעוֹד יָדוֹ נְטוּיָֽה׃ 12
Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba, balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye. Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
וְהָעָם לֹא־שָׁב עַד־הַמַּכֵּהוּ וְאֶת־יְהֹוָה צְבָאוֹת לֹא דָרָֽשׁוּ׃ 13
Kubanga abantu tebakyuse kudda wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.
וַיַּכְרֵת יְהֹוָה מִיִּשְׂרָאֵל רֹאשׁ וְזָנָב כִּפָּה וְאַגְמוֹן יוֹם אֶחָֽד׃ 14
Bw’atyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira, ettabi n’olukindu mu lunaku lumu.
זָקֵן וּנְשֽׂוּא־פָנִים הוּא הָרֹאשׁ וְנָבִיא מֽוֹרֶה־שֶּׁקֶר הוּא הַזָּנָֽב׃ 15
Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa, n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.
וַיִּֽהְיוּ מְאַשְּׁרֵי הָֽעָם־הַזֶּה מַתְעִים וּמְאֻשָּׁרָיו מְבֻלָּעִֽים׃ 16
Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza, n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.
עַל־כֵּן עַל־בַּחוּרָיו לֹא־יִשְׂמַח ׀ אֲדֹנָי וְאֶת־יְתֹמָיו וְאֶת־אַלְמְנוֹתָיו לֹא יְרַחֵם כִּי כֻלּוֹ חָנֵף וּמֵרַע וְכׇל־פֶּה דֹּבֵר נְבָלָה בְּכׇל־זֹאת לֹא־שָׁב אַפּוֹ וְעוֹד יָדוֹ נְטוּיָֽה׃ 17
Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka, wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu; kubanga buli omu mukozi wa bibi, era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu. Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako, era omukono gwe gukyagoloddwa.
כִּֽי־בָעֲרָה כָאֵשׁ רִשְׁעָה שָׁמִיר וָשַׁיִת תֹּאכֵל וַתִּצַּת בְּסִֽבְכֵי הַיַּעַר וַיִּֽתְאַבְּכוּ גֵּאוּת עָשָֽׁן׃ 18
Ddala ekibi kyokya ng’omuliro; gumalawo emyeramannyo n’obusaana. Era gukoleeza eby’omu kibira, omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
בְּעֶבְרַת יְהֹוָה צְבָאוֹת נֶעְתַּם אָרֶץ וַיְהִי הָעָם כְּמַאֲכֹלֶת אֵשׁ אִישׁ אֶל־אָחִיו לֹא יַחְמֹֽלוּ׃ 19
Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye ensi eggiiridde ddala, era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro, tewali muntu alekawo muganda we.
וַיִּגְזֹר עַל־יָמִין וְרָעֵב וַיֹּאכַל עַל־שְׂמֹאול וְלֹא שָׂבֵעוּ אִישׁ בְּשַׂר־זְרֹעוֹ יֹאכֵֽלוּ׃ 20
Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo, naye balisigala bayala; balirya n’eby’oku kkono, naye tebalikkuta. Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
מְנַשֶּׁה אֶת־אֶפְרַיִם וְאֶפְרַיִם אֶת־מְנַשֶּׁה יַחְדָּו הֵמָּה עַל־יְהוּדָה בְּכׇל־זֹאת לֹא־שָׁב אַפּוֹ וְעוֹד יָדוֹ נְטוּיָֽה׃ 21
Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase ate bombi ne balya Yuda. Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo, era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

< ישעה 9 >