< ישעה 64 >
שָׁמַיִם יָרַדְתָּ מִפָּנֶיךָ הָרִים נָזֹֽלּוּ׃ | 1 |
Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi, ensozi ne zikankana mu maaso go!
כִּקְדֹחַ אֵשׁ הֲמָסִים מַיִם תִּבְעֶה־אֵשׁ לְהוֹדִיעַ שִׁמְךָ לְצָרֶיךָ מִפָּנֶיךָ גּוֹיִם יִרְגָּֽזוּ׃ | 2 |
Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku, oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera, ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo, n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
בַּעֲשׂוֹתְךָ נוֹרָאוֹת לֹא נְקַוֶּה יָרַדְתָּ מִפָּנֶיךָ הָרִים נָזֹֽלּוּ׃ | 3 |
Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira, wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
וּמֵעוֹלָם לֹֽא־שָׁמְעוּ לֹא הֶאֱזִינוּ עַיִן לֹֽא־רָאָתָה אֱלֹהִים זוּלָתְךָ יַעֲשֶׂה לִמְחַכֵּה־לֽוֹ׃ | 4 |
Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde oba kutu kwali kutegedde, oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe, alwanirira abo abamulindirira.
פָּגַעְתָּ אֶת־שָׂשׂ וְעֹשֵׂה צֶדֶק בִּדְרָכֶיךָ יִזְכְּרוּךָ הֵן־אַתָּה קָצַפְתָּ וַֽנֶּחֱטָא בָּהֶם עוֹלָם וְנִוָּשֵֽׁעַ׃ | 5 |
Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu, abo abajjukira amakubo go. Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu. Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe, ddala tulirokolebwa?
וַנְּהִי כַטָּמֵא כֻּלָּנוּ וּכְבֶגֶד עִדִּים כׇּל־צִדְקֹתֵינוּ וַנָּבֶל כֶּֽעָלֶה כֻּלָּנוּ וַעֲוֺנֵנוּ כָּרוּחַ יִשָּׂאֻֽנוּ׃ | 6 |
Ffenna twafuuka batali balongoofu era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu. Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola, era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
וְאֵין־קוֹרֵא בְשִׁמְךָ מִתְעוֹרֵר לְהַחֲזִיק בָּךְ כִּֽי־הִסְתַּרְתָּ פָנֶיךָ מִמֶּנּוּ וַתְּמוּגֵנוּ בְּיַד־עֲוֺנֵֽנוּ׃ | 7 |
Tewali n’omu akoowoola linnya lyo oba eyewaliriza okukukwatako, kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go, era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.
וְעַתָּה יְהֹוָה אָבִינוּ אָתָּה אֲנַחְנוּ הַחֹמֶר וְאַתָּה יֹצְרֵנוּ וּמַעֲשֵׂה יָדְךָ כֻּלָּֽנוּ׃ | 8 |
Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
אַל־תִּקְצֹף יְהֹוָה עַד־מְאֹד וְאַל־לָעַד תִּזְכֹּר עָוֺן הֵן הַבֶּט־נָא עַמְּךָ כֻלָּֽנוּ׃ | 9 |
Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda, tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna. Weewaawo, tutunuulire, tusaba, kubanga tuli bantu bo.
עָרֵי קׇדְשְׁךָ הָיוּ מִדְבָּר צִיּוֹן מִדְבָּר הָיָתָה יְרוּשָׁלַ͏ִם שְׁמָמָֽה׃ | 10 |
Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu, ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
בֵּית קׇדְשֵׁנוּ וְתִפְאַרְתֵּנוּ אֲשֶׁר הִֽלְלוּךָ אֲבֹתֵינוּ הָיָה לִשְׂרֵפַת אֵשׁ וְכׇל־מַחֲמַדֵּינוּ הָיָה לְחׇרְבָּֽה׃ | 11 |
Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro, era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.
הַעַל־אֵלֶּה תִתְאַפַּק יְהֹוָה תֶּחֱשֶׁה וּתְעַנֵּנוּ עַד־מְאֹֽד׃ | 12 |
Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo? Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?