< ישעה 53 >

מִי הֶאֱמִין לִשְׁמֻעָתֵנוּ וּזְרוֹעַ יְהֹוָה עַל־מִי נִגְלָֽתָה׃ 1
Ani akkiriza ebigambo byaffe, era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
וַיַּעַל כַּיּוֹנֵק לְפָנָיו וְכַשֹּׁרֶשׁ מֵאֶרֶץ צִיָּה לֹא־תֹאַר לוֹ וְלֹא הָדָר וְנִרְאֵהוּ וְלֹֽא־מַרְאֶה וְנֶחְמְדֵֽהוּ׃ 2
Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu. Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali; tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
נִבְזֶה וַחֲדַל אִישִׁים אִישׁ מַכְאֹבוֹת וִידוּעַ חֹלִי וּכְמַסְתֵּר פָּנִים מִמֶּנּוּ נִבְזֶה וְלֹא חֲשַׁבְנֻֽהוּ׃ 3
Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.
אָכֵן חֳלָיֵנוּ הוּא נָשָׂא וּמַכְאֹבֵינוּ סְבָלָם וַאֲנַחְנוּ חֲשַׁבְנֻהוּ נָגוּעַ מֻכֵּה אֱלֹהִים וּמְעֻנֶּֽה׃ 4
Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe, obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga. Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
וְהוּא מְחֹלָל מִפְּשָׁעֵנוּ מְדֻכָּא מֵעֲוֺנֹתֵינוּ מוּסַר שְׁלוֹמֵנוּ עָלָיו וּבַחֲבֻרָתוֹ נִרְפָּא־לָֽנוּ׃ 5
Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe. Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya.
כֻּלָּנוּ כַּצֹּאן תָּעִינוּ אִישׁ לְדַרְכּוֹ פָּנִינוּ וַיהֹוָה הִפְגִּיעַ בּוֹ אֵת עֲוֺן כֻּלָּֽנוּ׃ 6
Ffenna twawaba ng’endiga; buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye; Mukama n’amuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna.
נִגַּשׂ וְהוּא נַעֲנֶה וְלֹא יִפְתַּח־פִּיו כַּשֶּׂה לַטֶּבַח יוּבָל וּכְרָחֵל לִפְנֵי גֹזְזֶיהָ נֶאֱלָמָה וְלֹא יִפְתַּח פִּֽיו׃ 7
Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa naye talina kye yanyega, yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika, bw’atyo bwe yasirika.
מֵעֹצֶר וּמִמִּשְׁפָּט לֻקָּח וְאֶת־דּוֹרוֹ מִי יְשׂוֹחֵחַ כִּי נִגְזַר מֵאֶרֶץ חַיִּים מִפֶּשַׁע עַמִּי נֶגַע לָֽמוֹ׃ 8
Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa. Ani amanyi ku bye zadde lye? Yaggyibwa mu nsi y’abalamu, ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
וַיִּתֵּן אֶת־רְשָׁעִים קִבְרוֹ וְאֶת־עָשִׁיר בְּמֹתָיו עַל לֹא־חָמָס עָשָׂה וְלֹא מִרְמָה בְּפִֽיו׃ 9
Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi, n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe, newaakubadde nga teyazza musango wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.
וַיהֹוָה חָפֵץ דַּכְּאוֹ הֶחֱלִי אִם־תָּשִׂים אָשָׁם נַפְשׁוֹ יִרְאֶה זֶרַע יַאֲרִיךְ יָמִים וְחֵפֶץ יְהֹוָה בְּיָדוֹ יִצְלָֽח׃ 10
Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta, era n’okumuleetera okubonaabona. Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde, era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
מֵעֲמַל נַפְשׁוֹ יִרְאֶה יִשְׂבָּע בְּדַעְתּוֹ יַצְדִּיק צַדִּיק עַבְדִּי לָֽרַבִּים וַעֲוֺנֹתָם הוּא יִסְבֹּֽל׃ 11
Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe, bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera. Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
לָכֵן אֲחַלֶּק־לוֹ בָרַבִּים וְאֶת־עֲצוּמִים יְחַלֵּק שָׁלָל תַּחַת אֲשֶׁר הֶעֱרָה לַמָּוֶת נַפְשׁוֹ וְאֶת־פֹּשְׁעִים נִמְנָה וְהוּא חֵטְא־רַבִּים נָשָׂא וְלַפֹּשְׁעִים יַפְגִּֽיעַ׃ 12
Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi, era aligabira bangi omunyago kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa, n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi. Era yeetikka ebibi by’abangi era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.

< ישעה 53 >