< ישעה 48 >
שִׁמְעוּ־זֹאת בֵּֽית־יַעֲקֹב הַנִּקְרָאִים בְּשֵׁם יִשְׂרָאֵל וּמִמֵּי יְהוּדָה יָצָאוּ הַֽנִּשְׁבָּעִים ׀ בְּשֵׁם יְהֹוָה וּבֵאלֹהֵי יִשְׂרָאֵל יַזְכִּירוּ לֹא בֶאֱמֶת וְלֹא בִצְדָקָֽה׃ | 1 |
“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abayitibwa erinnya lya Isirayiri, era abaava mu nda ya Yuda. Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama, era abaatula Katonda wa Isirayiri, naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
כִּֽי־מֵעִיר הַקֹּדֶשׁ נִקְרָאוּ וְעַל־אֱלֹהֵי יִשְׂרָאֵל נִסְמָכוּ יְהֹוָה צְבָאוֹת שְׁמֽוֹ׃ | 2 |
Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu, abeesiga Katonda wa Isirayiri, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
הָרִֽאשֹׁנוֹת מֵאָז הִגַּדְתִּי וּמִפִּי יָצְאוּ וְאַשְׁמִיעֵם פִּתְאֹם עָשִׂיתִי וַתָּבֹֽאנָה׃ | 3 |
Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo; byava mu kamwa kange ne mbyogera. Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
מִדַּעְתִּי כִּי קָשֶׁה אָתָּה וְגִיד בַּרְזֶל עׇרְפֶּךָ וּמִצְחֲךָ נְחוּשָֽׁה׃ | 4 |
Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe; ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma; ekyenyi ng’ekikomo.
וָאַגִּיד לְךָ מֵאָז בְּטֶרֶם תָּבוֹא הִשְׁמַעְתִּיךָ פֶּן־תֹּאמַר עׇצְבִּי עָשָׂם וּפִסְלִי וְנִסְכִּי צִוָּֽם׃ | 5 |
Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo, muleme kugamba nti, “Bakatonda bange be baabikola: Ekifaananyi kyange ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
שָׁמַעְתָּֽ חֲזֵה כֻּלָּהּ וְאַתֶּם הֲלוֹא תַגִּידוּ הִשְׁמַעְתִּיךָ חֲדָשׁוֹת מֵעַתָּה וּנְצֻרוֹת וְלֹא יְדַעְתָּֽם׃ | 6 |
Mulabe ebintu bino nabibagamba dda, era temubikkirize? “Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja, eby’ekyama bye mutawulirangako.
עַתָּה נִבְרְאוּ וְלֹא מֵאָז וְלִפְנֵי־יוֹם וְלֹא שְׁמַעְתָּם פֶּן־תֹּאמַר הִנֵּה יְדַעְתִּֽין׃ | 7 |
Mbikola kaakano, so si ekiseera ekyayita: mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
גַּם לֹֽא־שָׁמַעְתָּ גַּם לֹא יָדַעְתָּ גַּם מֵאָז לֹא־פִתְּחָה אׇזְנֶךָ כִּי יָדַעְתִּי בָּגוֹד תִּבְגּוֹד וּפֹשֵׁעַ מִבֶּטֶן קֹרָא לָֽךְ׃ | 8 |
Towulirangako wadde okutegeera. Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga. Kubanga namanya nti wali kyewaggula, okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
לְמַעַן שְׁמִי אַאֲרִיךְ אַפִּי וּתְהִלָּתִי אֶחֱטׇם־לָךְ לְבִלְתִּי הַכְרִיתֶֽךָ׃ | 9 |
Olw’erinnya lyange ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
הִנֵּה צְרַפְתִּיךָ וְלֹא בְכָסֶף בְּחַרְתִּיךָ בְּכוּר עֹֽנִי׃ | 10 |
Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza. Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
לְמַעֲנִי לְמַעֲנִי אֶעֱשֶׂה כִּי אֵיךְ יֵחָל וּכְבוֹדִי לְאַחֵר לֹֽא־אֶתֵּֽן׃ | 11 |
Ku lwange nze, ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa. Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.
שְׁמַע אֵלַי יַֽעֲקֹב וְיִשְׂרָאֵל מְקֹרָאִי אֲנִי־הוּא אֲנִי רִאשׁוֹן אַף אֲנִי אַחֲרֽוֹן׃ | 12 |
“Mpuliriza ggwe Yakobo. Isirayiri gwe nalonda. Nze Nzuuyo. Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
אַף־יָדִי יָסְדָה אֶרֶץ וִימִינִי טִפְּחָה שָׁמָיִם קֹרֵא אֲנִי אֲלֵיהֶם יַעַמְדוּ יַחְדָּֽו׃ | 13 |
Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi, era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu. Bwe mbiyita byombi bijja.
הִקָּבְצוּ כֻלְּכֶם וּֽשְׁמָעוּ מִי בָהֶם הִגִּיד אֶת־אֵלֶּה יְהֹוָה אֲהֵבוֹ יַעֲשֶׂה חֶפְצוֹ בְּבָבֶל וּזְרֹעוֹ כַּשְׂדִּֽים׃ | 14 |
“Mwekuŋŋaanye mwenna mujje muwulire! Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino? Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni, era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.
אֲנִי אֲנִי דִּבַּרְתִּי אַף־קְרָאתִיו הֲבִֽאֹתִיו וְהִצְלִיחַ דַּרְכּֽוֹ׃ | 15 |
Nze; Nze nzennyini nze njogedde. Nze namuyita. Ndimuleeta era alituukiriza omulimu gwe.
קִרְבוּ אֵלַי שִׁמְעוּ־זֹאת לֹא מֵרֹאשׁ בַּסֵּתֶר דִּבַּרְתִּי מֵעֵת הֱיוֹתָהּ שָׁם אָנִי וְעַתָּה אֲדֹנָי יֱהֹוִה שְׁלָחַנִי וְרוּחֽוֹ׃ | 16 |
“Munsemberere muwulirize bino. “Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama. Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.” Era kaakano Mukama Ayinzabyonna n’Omwoyo we antumye.
כֹּה־אָמַר יְהֹוָה גֹּאַלְךָ קְדוֹשׁ יִשְׂרָאֵל אֲנִי יְהֹוָה אֱלֹהֶיךָ מְלַמֶּדְךָ לְהוֹעִיל מַדְרִֽיכְךָ בְּדֶרֶךְ תֵּלֵֽךְ׃ | 17 |
Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Nze Mukama Katonda wo akuyigiriza okukulaakulana, akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
לוּא הִקְשַׁבְתָּ לְמִצְוֺתָי וַיְהִי כַנָּהָר שְׁלוֹמֶךָ וְצִדְקָתְךָ כְּגַלֵּי הַיָּֽם׃ | 18 |
Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange! Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga! Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
וַיְהִי כַחוֹל זַרְעֶךָ וְצֶאֱצָאֵי מֵעֶיךָ כִּמְעֹתָיו לֹא־יִכָּרֵת וְֽלֹא־יִשָּׁמֵד שְׁמוֹ מִלְּפָנָֽי׃ | 19 |
ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu abaana bo ng’obuweke bwagwo. Erinnya lyabwe teryandivuddewo wadde okuzikirira nga wendi.”
צְאוּ מִבָּבֶל בִּרְחוּ מִכַּשְׂדִּים בְּקוֹל רִנָּה הַגִּידוּ הַשְׁמִיעוּ זֹאת הוֹצִיאוּהָ עַד־קְצֵה הָאָרֶץ אִמְרוּ גָּאַל יְהֹוָה עַבְדּוֹ יַעֲקֹֽב׃ | 20 |
Muve mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya. Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu. Mugalangirire wonna wonna n’okutuusa ku nkomerero y’ensi. Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
וְלֹא צָמְאוּ בׇּֽחֳרָבוֹת הוֹלִיכָם מַיִם מִצּוּר הִזִּיל לָמוֹ וַיִּבְקַע־צוּר וַיָּזֻבוּ מָֽיִם׃ | 21 |
So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu. Yabakulukusiza amazzi mu lwazi: yayasa olwazi amazzi ne gavaamu.
אֵין שָׁלוֹם אָמַר יְהֹוָה לָרְשָׁעִֽים׃ | 22 |
“Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.