< ישעה 38 >

בַּיָּמִים הָהֵם חָלָה חִזְקִיָּהוּ לָמוּת וַיָּבוֹא אֵלָיו יְשַֽׁעְיָהוּ בֶן־אָמוֹץ הַנָּבִיא וַיֹּאמֶר אֵלָיו כֹּֽה־אָמַר יְהֹוָה צַו לְבֵיתֶךָ כִּי מֵת אַתָּה וְלֹא תִֽחְיֶֽה׃ 1
Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”
וַיַּסֵּב חִזְקִיָּהוּ פָּנָיו אֶל־הַקִּיר וַיִּתְפַּלֵּל אֶל־יְהֹוָֽה׃ 2
Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira Mukama
וַיֹּאמַר אָנָּה יְהֹוָה זְכׇר־נָא אֵת אֲשֶׁר הִתְהַלַּכְתִּי לְפָנֶיךָ בֶּֽאֱמֶת וּבְלֵב שָׁלֵם וְהַטּוֹב בְּעֵינֶיךָ עָשִׂיתִי וַיֵּבְךְּ חִזְקִיָּהוּ בְּכִי גָדֽוֹל׃ 3
ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.
וַֽיְהִי דְּבַר־יְהֹוָה אֶֽל־יְשַֽׁעְיָהוּ לֵאמֹֽר׃ 4
Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya,
הָלוֹךְ וְאָמַרְתָּ אֶל־חִזְקִיָּהוּ כֹּֽה־אָמַר יְהֹוָה אֱלֹהֵי דָּוִד אָבִיךָ שָׁמַעְתִּי אֶת־תְּפִלָּתֶךָ רָאִיתִי אֶת־דִּמְעָתֶךָ הִנְנִי יוֹסִף עַל־יָמֶיךָ חֲמֵשׁ עֶשְׂרֵה שָׁנָֽה׃ 5
nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano.
וּמִכַּף מֶֽלֶךְ־אַשּׁוּר אַצִּילְךָ וְאֵת הָעִיר הַזֹּאת וְגַנּוֹתִי עַל־הָעִיר הַזֹּֽאת׃ 6
Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.
וְזֶה־לְּךָ הָאוֹת מֵאֵת יְהֹוָה אֲשֶׁר יַעֲשֶׂה יְהֹוָה אֶת־הַדָּבָר הַזֶּה אֲשֶׁר דִּבֵּֽר׃ 7
“‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo ky’ayogedde.
הִנְנִי מֵשִׁיב אֶת־צֵל הַֽמַּעֲלוֹת אֲשֶׁר יָרְדָה בְמַעֲלוֹת אָחָז בַּשֶּׁמֶשׁ אֲחֹרַנִּית עֶשֶׂר מַעֲלוֹת וַתָּשׇׁב הַשֶּׁמֶשׁ עֶשֶׂר מַעֲלוֹת בַּֽמַּעֲלוֹת אֲשֶׁר יָרָֽדָה׃ 8
Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.
מִכְתָּב לְחִזְקִיָּהוּ מֶלֶךְ־יְהוּדָה בַּחֲלֹתוֹ וַיְחִי מֵחׇלְיֽוֹ׃ 9
Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, n’awandiika ebigambo bino;
אֲנִי אָמַרְתִּי בִּדְמִי יָמַי אֵלֵכָה בְּשַׁעֲרֵי שְׁאוֹל פֻּקַּדְתִּי יֶתֶר שְׁנוֹתָֽי׃ (Sheol h7585) 10
nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe, nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.” (Sheol h7585)
אָמַרְתִּי לֹא־אֶרְאֶה יָהּ יָהּ בְּאֶרֶץ הַחַיִּים לֹא־אַבִּיט אָדָם עוֹד עִם־יוֹשְׁבֵי חָֽדֶל׃ 11
Ne ndyoka njogera nti, “Sigenda kuddayo kulaba Mukama, mu nsi y’abalamu. Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera.
דּוֹרִי נִסַּע וְנִגְלָה מִנִּי כְּאֹהֶל רֹעִי קִפַּדְתִּי כָאֹרֵג חַיַּי מִדַּלָּה יְבַצְּעֵנִי מִיּוֹם עַד־לַיְלָה תַּשְׁלִימֵֽנִי׃ 12
Obulamu bwange buzingiddwako ng’eweema y’omusumba w’endiga bw’enzigibwako. Ng’olugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira, bwe ntyo bwe nawuliranga emisana n’ekiro nga obulamu bwange obumalirawo ddala.
שִׁוִּיתִי עַד־בֹּקֶר כָּאֲרִי כֵּן יְשַׁבֵּר כׇּל־עַצְמוֹתָי מִיּוֹם עַד־לַיְלָה תַּשְׁלִימֵֽנִי׃ 13
Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi nga ndi ng’empologoma gw’emmenyaamenya amagumba, ekiro n’emisana nga ndowooza nga Mukama yali amalawo obulamu bwange.
כְּסוּס עָגוּר כֵּן אֲצַפְצֵף אֶהְגֶּה כַּיּוֹנָה דַּלּוּ עֵינַי לַמָּרוֹם אֲדֹנָי עָֽשְׁקָה־לִּי עׇרְבֵֽנִי׃ 14
Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi, n’empuubaala ng’enjiibwa, amaaso gange ne ganfuyirira olw’okutunula mu bbanga eri eggulu. Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.”
מָֽה־אֲדַבֵּר וְאָֽמַר־לִי וְהוּא עָשָׂה אֶדַּדֶּה כׇל־שְׁנוֹתַי עַל־מַר נַפְשִֽׁי׃ 15
Naye ate nga naagamba ki? Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze. N’atambulanga n’obwegendereza mu bulumi buno obw’obulamu bwange.
אֲדֹנָי עֲלֵיהֶם יִֽחְיוּ וּלְכׇל־בָּהֶן חַיֵּי רוּחִי וְתַחֲלִימֵנִי וְהַחֲיֵֽנִי׃ 16
Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu, era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu. Omponye, mbeere mulamu.
הִנֵּה לְשָׁלוֹם מַר־לִי מָר וְאַתָּה חָשַׁקְתָּ נַפְשִׁי מִשַּׁחַת בְּלִי כִּי הִשְׁלַכְתָּ אַחֲרֵי גֵוְךָ כׇּל־חֲטָאָֽי׃ 17
Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange, naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira. Kubanga otadde ebibi byange byonna emabega wo.
כִּי לֹא שְׁאוֹל תּוֹדֶךָּ מָוֶת יְהַלְלֶךָּ לֹא־יְשַׂבְּרוּ יוֹרְדֵי־בוֹר אֶל־אֲמִתֶּֽךָ׃ (Sheol h7585) 18
Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza, abafu tebayinza kukusuuta; tebaba na ssuubi mu bwesigwa bwo. (Sheol h7585)
חַי חַי הוּא יוֹדֶךָ כָּמוֹנִי הַיּוֹם אָב לְבָנִים יוֹדִיעַ אֶל־אֲמִתֶּֽךָ׃ 19
Akyali omulamu, y’akutendereza nga nze bwe nkola leero; bakitaabwe b’abaana babategeeza nga bw’oli omwesigwa ennyo.
יְהֹוָה לְהוֹשִׁיעֵנִי וּנְגִנוֹתַי נְנַגֵּן כׇּל־יְמֵי חַיֵּינוּ עַל־בֵּית יְהֹוָֽה׃ 20
Mukama alindokola, kyetunaavanga tuyimba ne tukuba n’ebivuga eby’enkoba ennaku zonna ez’obulamu bwaffe, mu nnyumba ya Mukama.
וַיֹּאמֶר יְשַֽׁעְיָהוּ יִשְׂאוּ דְּבֶלֶת תְּאֵנִים וְיִמְרְחוּ עַֽל־הַשְּׁחִין וְיֶֽחִי׃ 21
Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, liwone.”
וַיֹּאמֶר חִזְקִיָּהוּ מָה אוֹת כִּי אֶעֱלֶה בֵּית יְהֹוָֽה׃ 22
Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”

< ישעה 38 >