< ישעה 19 >
מַשָּׂא מִצְרָיִם הִנֵּה יְהֹוָה רֹכֵב עַל־עָב קַל וּבָא מִצְרַיִם וְנָעוּ אֱלִילֵי מִצְרַיִם מִפָּנָיו וּלְבַב מִצְרַיִם יִמַּס בְּקִרְבּֽוֹ׃ | 1 |
Obunnabbi obukwata ku Misiri: Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo ajja mu Misiri. Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge, n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.
וְסִכְסַכְתִּי מִצְרַיִם בְּמִצְרַיִם וְנִלְחֲמוּ אִישׁ־בְּאָחִיו וְאִישׁ בְּרֵעֵהוּ עִיר בְּעִיר מַמְלָכָה בְּמַמְלָכָֽה׃ | 2 |
Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri, balwane buli muntu ne muganda we, na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga n’ekibuga, obwakabaka n’obwakabaka.
וְנָבְקָה רוּחַ־מִצְרַיִם בְּקִרְבּוֹ וַעֲצָתוֹ אֲבַלֵּעַ וְדָרְשׁוּ אֶל־הָֽאֱלִילִים וְאֶל־הָאִטִּים וְאֶל־הָאֹבוֹת וְאֶל־הַיִּדְּעֹנִֽים׃ | 3 |
Abamisiri baliggwaamu omwoyo era entegeka zaabwe zonna ndizitta; era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize, n’abaliko emizimu n’abalogo.
וְסִכַּרְתִּי אֶת־מִצְרַיִם בְּיַד אֲדֹנִים קָשֶׁה וּמֶלֶךְ עַז יִמְשׇׁל־בָּם נְאֻם הָאָדוֹן יְהֹוָה צְבָאֽוֹת׃ | 4 |
Era ndigabula Abamisiri mu mukono gw’omufuzi omukambwe, era kabaka ow’entiisa alibafuga, bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
וְנִשְּׁתוּ־מַיִם מֵֽהַיָּם וְנָהָר יֶחֱרַב וְיָבֵֽשׁ׃ | 5 |
Omugga gulikalira n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
וְהֶאֶזְנִיחוּ נְהָרוֹת דָּלְלוּ וְחָרְבוּ יְאֹרֵי מָצוֹר קָנֶה וָסוּף קָמֵֽלוּ׃ | 6 |
N’emikutu giriwunya ekivundu, n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale; ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
עָרוֹת עַל־יְאוֹר עַל־פִּי יְאוֹר וְכֹל מִזְרַע יְאוֹר יִיבַשׁ נִדַּף וְאֵינֶֽנּוּ׃ | 7 |
Ebimera ebiri ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira kwennyini, ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira, birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
וְאָנוּ הַדַּיָּגִים וְאָבְלוּ כׇּל־מַשְׁלִיכֵי בַיְאוֹר חַכָּה וּפֹרְשֵׂי מִכְמֹרֶת עַל־פְּנֵי־מַיִם אֻמְלָֽלוּ׃ | 8 |
Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga, n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
וּבֹשׁוּ עֹבְדֵי פִשְׁתִּים שְׂרִיקוֹת וְאֹרְגִים חוֹרָֽי׃ | 9 |
Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa, n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
וְהָיוּ שָׁתֹתֶיהָ מְדֻכָּאִים כׇּל־עֹשֵׂי שֶׂכֶר אַגְמֵי־נָֽפֶשׁ׃ | 10 |
Abakozi balikwatibwa ennaku, bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
אַךְ־אֱוִלִים שָׂרֵי צֹעַן חַכְמֵי יֹעֲצֵי פַרְעֹה עֵצָה נִבְעָרָה אֵיךְ תֹּאמְרוּ אֶל־פַּרְעֹה בֶּן־חֲכָמִים אֲנִי בֶּן־מַלְכֵי־קֶֽדֶם׃ | 11 |
Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala, n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa. Mugamba mutya Falaawo nti, “Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
אַיָּם אֵפוֹא חֲכָמֶיךָ וְיַגִּידוּ נָא לָךְ וְיֵדְעוּ מַה־יָּעַץ יְהֹוָה צְבָאוֹת עַל־מִצְרָֽיִם׃ | 12 |
Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa? Leka bakubuulire bakutegeeze Mukama Katonda ow’Eggye ky’ategese okutuusa ku Misiri.
נֽוֹאֲלוּ שָׂרֵי צֹעַן נִשְּׁאוּ שָׂרֵי נֹף הִתְעוּ אֶת־מִצְרַיִם פִּנַּת שְׁבָטֶֽיהָ׃ | 13 |
Abakungu ab’e Zowani basiriwadde, abakungu ab’e Noofu balimbiddwa, abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga bakyamizza Misiri.
יְהֹוָה מָסַךְ בְּקִרְבָּהּ רוּחַ עִוְעִים וְהִתְעוּ אֶת־מִצְרַיִם בְּכׇֽל־מַעֲשֵׂהוּ כְּהִתָּעוֹת שִׁכּוֹר בְּקִיאֽוֹ׃ | 14 |
Mukama abataddemu omwoyo omubambaavu era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola, ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
וְלֹא־יִהְיֶה לְמִצְרַיִם מַעֲשֶׂה אֲשֶׁר יַעֲשֶׂה רֹאשׁ וְזָנָב כִּפָּה וְאַגְמֽוֹן׃ | 15 |
Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa, agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
בַּיּוֹם הַהוּא יִהְיֶה מִצְרַיִם כַּנָּשִׁים וְחָרַד ׀ וּפָחַד מִפְּנֵי תְּנוּפַת יַד־יְהֹוָה צְבָאוֹת אֲשֶׁר־הוּא מֵנִיף עָלָֽיו׃ | 16 |
Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali.
וְהָיְתָה אַדְמַת יְהוּדָה לְמִצְרַיִם לְחׇגָּא כֹּל אֲשֶׁר יַזְכִּיר אֹתָהּ אֵלָיו יִפְחָד מִפְּנֵי עֲצַת יְהֹוָה צְבָאוֹת אֲשֶׁר־הוּא יוֹעֵץ עָלָֽיו׃ | 17 |
N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.
בַּיּוֹם הַהוּא יִהְיוּ חָמֵשׁ עָרִים בְּאֶרֶץ מִצְרַיִם מְדַבְּרוֹת שְׂפַת כְּנַעַן וְנִשְׁבָּעוֹת לַיהֹוָה צְבָאוֹת עִיר הַהֶרֶס יֵאָמֵר לְאֶחָֽת׃ | 18 |
Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira.
בַּיּוֹם הַהוּא יִֽהְיֶה מִזְבֵּחַ לַֽיהֹוָה בְּתוֹךְ אֶרֶץ מִצְרָיִם וּמַצֵּבָה אֵצֶל־גְּבוּלָהּ לַֽיהֹוָֽה׃ | 19 |
Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo.
וְהָיָה לְאוֹת וּלְעֵד לַיהֹוָה צְבָאוֹת בְּאֶרֶץ מִצְרָיִם כִּֽי־יִצְעֲקוּ אֶל־יְהֹוָה מִפְּנֵי לֹחֲצִים וְיִשְׁלַח לָהֶם מוֹשִׁיעַ וָרָב וְהִצִּילָֽם׃ | 20 |
Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola.
וְנוֹדַע יְהֹוָה לְמִצְרַיִם וְיָדְעוּ מִצְרַיִם אֶת־יְהֹוָה בַּיּוֹם הַהוּא וְעָֽבְדוּ זֶבַח וּמִנְחָה וְנָדְרוּ־נֵדֶר לַיהֹוָה וְשִׁלֵּֽמוּ׃ | 21 |
Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza.
וְנָגַף יְהֹוָה אֶת־מִצְרַיִם נָגֹף וְרָפוֹא וְשָׁבוּ עַד־יְהֹוָה וְנֶעְתַּר לָהֶם וּרְפָאָֽם׃ | 22 |
Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.
בַּיּוֹם הַהוּא תִּהְיֶה מְסִלָּה מִמִּצְרַיִם אַשּׁוּרָה וּבָא־אַשּׁוּר בְּמִצְרַיִם וּמִצְרַיִם בְּאַשּׁוּר וְעָבְדוּ מִצְרַיִם אֶת־אַשּֽׁוּר׃ | 23 |
Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli.
בַּיּוֹם הַהוּא יִהְיֶה יִשְׂרָאֵל שְׁלִישִׁיָּה לְמִצְרַיִם וּלְאַשּׁוּר בְּרָכָה בְּקֶרֶב הָאָֽרֶץ׃ | 24 |
Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa.
אֲשֶׁר בֵּרְכוֹ יְהֹוָה צְבָאוֹת לֵאמֹר בָּרוּךְ עַמִּי מִצְרַיִם וּמַעֲשֵׂה יָדַי אַשּׁוּר וְנַחֲלָתִי יִשְׂרָאֵֽל׃ | 25 |
Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”